LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/09 lup. 6-7
  • Enkuŋŋaana z’Obuweereza bw’Ennimiro

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enkuŋŋaana z’Obuweereza bw’Ennimiro
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Laba Ebirala
  • Enkuŋŋaana z’Okugenda Okubuulira Zituganyula Nnyo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Ganyulwa mu Nkuŋŋaana z’Okugenda mu Nnimiro
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Engeri y’Okuganyulwa mu Kibinja Kyo eky’Obuweereza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Ganyulwa mu Nteekateeka y’Ekibinja ky’Obuweereza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 8/09 lup. 6-7

Enkuŋŋaana z’Obuweereza bw’Ennimiro

1. Lwaki tusaanidde okugenda mu buweereza bw’ennimiro nga tutegekeddwa bulungi?

1 Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kukola omulimu gw’Obwakabaka mu ngeri ennungi era entegeke obulungi. Mu ngeri y’emu leero, abo abalina obuvunaanyizibwa obw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna baagala nnyo okulaba ng’omulimu guno gukolebwa mu ngeri eyo. Okusobola okukola ekyo, ebibiina okwetooloola ensi yonna biba n’enkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro ezisobozesa ab’oluganda okutegekebwa obulungi nga bagenda okubuulira.​—Mat. 24:45-47; 25:21; Luk. 10:1-7.

2. Biki ebisuubirwa mu nkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro?

2 Entegeka Ennungi: Ekigendererwa ky’enkuŋŋaana z’obuweereza kwe kuzzaamu amaanyi era n’okuwa obulagirizi abo ababa bagenda mu buweereza bw’ennimiro. Ekyawandiikibwa eky’olunaku kiyinza okukubaganyizibwako ebirowoozo mu bufunze bwe kiba kituukagana n’obuweereza bw’ennimiro. Oluusi, ebyo ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, mu katabo Reasoning, oba ebyo ebiri mu kitabo Essomero ly’Omulimu biyinza okukubaganyizibwako ebirowoozo nga mweteekerateekera obuweereza bw’ennimiro. Ekyokulabirako kiyinza okulagibwa mu bufunze ku ngeri y’okugabamu ekitabo ekirina okugabibwa mu mwezi ogwo. Ng’olukuŋŋaana terunnafundikirwa n’okusaba, bonna basaanidde okuba nga bamanyi abo be bagenda okubuulira nabo era n’ekitundu kye bagenda okubuuliramu. Amangu ddala ng’olukuŋŋaana luno olutalina kusussa ddakiika 15 luwedde, bonna basaanidde okugenderawo mu kitundu kye bagenda okubuuliramu.

3. Baani abalina obuvunaanyizibwa obw’okuteekateeka enkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro?

3 Zitegekebwa Zitya? Omulabirizi w’obuweereza y’avunaanyizibwa ku kuteekateeka enkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro. Abalabirizi b’ebibinja n’abayambi baabwe, bateekeddwa okubuulirako awamu n’ebibinja byabwe ku wiikendi. Abalabirizi abamu oba abaweereza bayinza okukolako awamu n’ebibinja byabwe mu nnaku ezitali za wiikendi. Abalabirizi b’ebibinja bakolera wamu n’omulabirizi w’obuweereza okusobola okufuna ekitundu ekimala eky’okubuuliramu nnyumba ku nnyumba ku wiikendi. Omulabirizi w’obuweereza ajja kukakasa nti wabaawo ab’oluganda abajja okukubiriza enkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro mu nnaku ezitali za wiikendi.

4-6. (a) Kigendererwa ki ekiri mu kuba n’enkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro mu kitundu kye tubuuliramu? (b) Biki bye tuyinza okulowoozaako nga tusalawo ebikwata ku nkuŋŋaana z’obuweereza?

4 Enkuŋŋaana Zino Zisaanidde Kubaawo Ddi era Ludda Wa? Mu kifo ky’ekibiina kyonna okukuŋŋaanira awamu, kiba kirungi okuteekateeka enkuŋŋaana zino mu bifo eby’enjawulo ebyanguyira ababuulizi, gamba nga mu maka g’ab’oluganda, kisobozese ekibiina okumalako ekitundu kyonna kye kirina okubuuliramu. Enkuŋŋaana ezo ziyinza n’okubeera mu Bizimbe by’Obwakabaka. Ebibiina bingi biba n’enkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro mu Bizimbe by’Obwakabaka amangu ddala ng’emboozi ya bonna n’olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi biwedde. Musaanidde okufuba okuteekateeka enkuŋŋaana zino mu bifo ebiri okumpi n’ekitundu ekiba kigenda okubuulirwamu. N’olwekyo, enteekateeka zino zisaanidde okwekenneenyezebwa buli luvannyuma lw’ekiseera okusobola okukakasa nti ebifo bino bikyasobozesa ab’oluganda okubuulira obulungi mu kitundu ekyo.

5 Ekiseera ekituufu enkuŋŋaana zino lwe zirina okubeerawo era n’emirundi lwe zirina okukubirizibwa mu wiiki oba ku lunaku oluba lulondeddwa, kijja kusinziira ku mbeera y’ekitundu. Ebibuuzo bino wammanga biyinza okutuyamba okusalawo ekifo n’ekiseera ekituufu enkuŋŋaana zino lwe zirina okubeerawo.

6 Kitundu ki ekyetaagisa okuteekako ennyo essira? Kiseera ki ekituufu eky’okubuuliramu nnyumba ku nnyumba? Kyetaagisa okubuulira nnyumba ku nnyumba oba okuddiŋŋana abantu mu kiseera eky’akawungeezi? Enteekateeka zonna ez’obuweereza bw’ennimiro zisaanidde okuteekebwa mu kifo awatimbibwa amabaluwa g’ekibiina. Ababuulizi b’Obwakabaka bonna baagala nnyo okumalako ekitundu kyonna kye babuuliramu kibasobozese okwogera ng’omutume Pawulo eyagamba nti: “Sikyalina kifo kye sibuulirangamu mu bitundu bino.”​—Bar. 15:23.

7. Oyo aba alondeddwa okukubiriza olukuŋŋaana lw’obuweereza bw’ennimiro, alina buvunaanyizibwa ki?

7 Okukubiriza Enkuŋŋaana z’Obuweereza bw’Ennimiro: Oyo aba olondeddwa okukubiriza olukuŋŋaana luno alaga nti assa ekitiibwa mu nteekateeka eno ng’ategeka bulungi. Enkuŋŋaana zino zisaanidde okutandikira mu kiseera, nga zizimba ab’oluganda era zisaanidde okumala eddakiika 10 oba 15. Akubiriza asaanidde okuba ng’amanyi ekitundu ekigenda okubuulirwamu ng’olukuŋŋaana terunnatandika. Wadde nga tekyetaagisa kulinda abo abajja ng’olukuŋŋaana luwedde, kiba kirungi okubalekerawo endagiriro eraga ekitundu kye muba mugenze okubuuliramu. Bonna basaanidde okugenda mu kitundu ekiba kigenda okubuulirwamu amangu ddala ng’olukuŋŋaana luwedde. Awatali kubuusabuusa, olukuŋŋaana lw’obuweereza bw’ennimiro bwe lutegekebwa obulungi lujja kusobozesa bonna okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe ku lunaku olwo.​—Nge. 11:14.

8. Mu ngeri ki abo ababaawo mu nkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro gye bayinza okukolaganira awamu n’abo abazikubiriza?

8 Okubaawo mu Nkuŋŋaana z’Obuweereza bw’Ennimiro: Kikulu nnyo okukolaganira awamu. (Beb. 13:17) Bwe kiba kisoboka, oyo akubiriza ekibinja ajja kuyamba ow’oluganda yenna eyeetaaga omuntu ow’okukola naye. Kiba kirungi ababuulizi abalina obumanyirivu okubaawo ne bayambako abo abakyali abapya era abatalina bumanyirivu bumala. Abo ababa abeetegefu okukolako n’omuntu omulala, bayinza okuba ab’omuganyulo ennyo. (Nge. 27:17; Bar. 15:1, 2) Bonna basaanidde okufuba okukwata obudde. Okussa ekitiibwa mu nteekateeka eno eya teyokulase era n’okufaayo ku bakozi bannaffe, kijja kutuleetera okukola enkyukakyuka ezeetaagisa.​—2 Kol. 6:3, 4; Baf. 2:4.

9. Mu ngeri ki bapayoniya gye bayinza okuwagiramu enteekateeka eno?

9 Obuwagizi bwa Bapayoniya: Bapayoniya bwe babeerawo mu nkuŋŋaana z’obuweereza bwe nnimiro kizzaamu bonna amaanyi. Kyo kituufu nti bapayoniya balina obuvunaanyizibwa bungi. Ng’oggyeko okuyigiriza abayizi ba Baibuli n’okuddiŋŋana abantu, balina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ab’omu maka gaabwe era n’okukola emirimu egibayimirizaawo. N’olwekyo, bapayoniya tebasaanidde kuwulira nti kibeetaagisa okubaawo ku buli lukuŋŋaana lw’obuweereza bw’ennimiro oluba lutegekeddwa ekibiina, naddala singa zibaawo buli lunaku. Wadde kiri kityo, bapayoniya bandiba nga basobola okuwagira ezimu ku nkuŋŋaana z’obuweereza ezibaawo buli wiiki. Ate era, enkuŋŋaana z’obuweereza ziyamba mu kutendeka ab’oluganda mu kibiina, era okumanya okukwata ku Baibuli bapayoniya kwe balina n’obumanyirivu bwabwe, biganyula nnyo abalala. Okwenyigira ennyo mu buweereza bw’ennimiro kibayambye okufuna obumanyirivu era basobola okubukozesa okuyamba abalala. Obunyiikivu bwabwe mu buweereza era n’okubaawo mu nkuŋŋaana z’obuweereza bw’ennimiro kiviiriddeko abalala okukoppa ekyokulabirako kyabwe. Basiimibwa nnyo olw’okwenyigira mu nkuŋŋaana zino.

10. Lwaki kisaanira ababuulizi b’Obwakabaka bonna okuwagira ennyo enteekateeka eno?

10 Nga bwe kyali eri Yesu n’abayigirizwa be, omulimu gwaffe ogw’okubuulira Obwakabaka ogusinga obunene tugukola nga tubuulira nnyumba ku nnyumba. Ekigendererwa ky’olukuŋŋaana lw’obuweereza bw’ennimiro kwe kuzzaamu ab’oluganda amaanyi era n’okubayamba okukola obulungi omulimu guno. Ababuulizi bonna ab’amawulire amalungi basaanidde okukola kyonna ekisoboka okuwagira enteekateeka nga zino eza teyokulase. (Bik. 5:42; 20:20) Ka ffenna tufube nnyo okuwagira enteekateeka eno n’omutima gwaffe gwonna. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kuba bakakafu okufuna emikisa gya Yakuwa era tujja kusanyusa omutima gw’omukulembeze waffe Yesu Kristo, nga tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.​—Mat. 25:34-40; 28:19, 20.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza