LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/09 lup. 4
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 7/09 lup. 4

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjulaayi ne Agusito: Ababuulizi bayinza okugaba brocuwa yonna ku zino wammanga ez’empapula-32: A Book for All People, A Satisfying Life​—How to Attain It, Beera Bulindaala!, Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo​—Olizudde?, Emyoyo gy’Abafu​—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, “Look! I Am Making All Things New,” Nnyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Omwagalwa Wo bw’Afa, Our Problems​—Who Will Help Us Solve Them?, Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, What Is the Purpose of Life​—How Can You Find It?, ne Will There Ever Be a World Without War?, era ne brocuwa endala zonna eziri mu nnimi ezoogerwa mu kitundu kyammwe. Ssebutemba: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Ababuulizi bajja kufuba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli ku olwo lwennyini lwe baba babawadde akatabo kano. Nnyonnyola engeri akatabo gye kayinza okubaganyulamu ng’obalaga mu bufunze ngeri gye tukakozesaamu okuyigiriza abantu Baibuli. Okitobba: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’osanga omuntu ayagala okumanya ebisingawo, mukubaganye ebirowoozo ku tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? Bw’aba ng’agirina, oyinza okutandika okusoma naye Baibuli.

◼ Okuva bwe kiri nti omwezi gwa Agusito gulimu wiikendi ttaano, gwandibadde mulungi okukoleramu nga payoniya omuwagizi.

◼ Buli lw’oteekateeka okugenda mu nsi etalagiddwa mu alipoota y’omwaka gw’obuweereza oba ng’endagiriro yaayo teri ku lupapula olusembayo olw’akatabo Yearbook akaakafulumizibwa, osabibwa okwebuuza ku ofiisi y’ettabi ey’omu nsi yo okusobola okumanya obulagirizi bw’olina okugoberera. Omulimu gw’Obwakabaka mu nsi eyo guyinza okuba nga gukugirwa. (Mat. 10:16) Mu nsi ezimu, kiyinza obutaba kirungi okubuuliriza Abajulirwa ba Yakuwa we bali. Oyinza okuweebwa obulagirizi obulala obukwata ku kubuulira embagirawo oba okutambula n’ebitabo. Singa okolera ku bulagirizi obukuweereddwa, kijja kukuyamba okwewala ebizibu oba okussa omulimu gw’Obwakabaka mu kabi.​—1 Kol. 14:33, 40.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza