Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 3
WIIKI ETANDIKA AGUSITO 3
Oluyimba 97
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 8 ¶1-10
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Okubala 4-6
Na. 1: Okubala 4:1-16
Na. 2: Engeri y’Okumanyaamu Oyo Gwe Tusaanidde Okugondera (lr sul. 28)
Na. 3: Ddala Omuntu Kimwetaagisa Kugenda mu Ggulu Okusobola Okufuna Essanyu Erya Nnamaddala? (rs lup. 163 ¶1-3)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 73
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Buuza ebibuuzo ababuulizi babiri oba basatu abaaweerezaako mu kitundu awali obwetaavu obusingako oba ekitatera kubuulirwamu. Bweraliikirivu ki bwe baalina era baasobola batya okubuvvuunuka? Yakuwa yawa atya okufuba kwabwe omukisa? Basabe boogere oba balage mu bufunze ekyokulabirako kimu oba bibiri ebikwata ku ebyo ebyabasanyusa mu buweereza bw’ennimiro.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Weesige Yakuwa Akuyambe Okukulaakulanya Obusobozi Bwo obw’Okuyigiriza. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 56, akatundu 1 okutuuka ku lupapula 57, akatundu 2.
Oluyimba 63