Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaaya 20
WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 20
Oluyimba 9
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 7 ¶20-28
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Eby’Abaleevi 25-27
Na. 1: Eby’Abaleevi 25:39-54
Na. 2: Ensonga Lwaki Kizibu Okukola Ekirungi (lr sul. 26)
Na. 3: Singa Adamu Teyayonoona, Oluvannyuma Yandigenze mu Ggulu? (rs lup. 162 ¶4-5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 21
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Okussaawo Kristo ng’Omusingi. Kwogera okwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 278, akatundu 1-4.
Ddak. 10: Weeteekereteekere Okugaba Watchtower eya Jjulaayi 1 ne Awake! eya Jjulaayi. Ng’omaze okuzoogerako mu bufunze, saba abawuliriza banokoleyo ebitundu bye bateekateeka okukozesa nga bazigaba era bawe n’ensonga lwaki. Basabe boogere ekibuuzo kye bayinza okukozesa okutandika okunyumya n’omuntu n’ekyawandiikibwa kye bayinza okusoma nga bagaba magazini ezo. Fundikira ng’olaga engeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.
Ddak. 10: “Olukuŋŋaana lw’Ekitundu Olunaatuyamba Okweyongera Okwenyweza mu by’Omwoyo.” Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
Oluyimba 51