Osobola Okugaziya ku Buweereza Bwo?
1. Lwaki kikulu nnyo kati okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro?
1 Yesu bwe yalaba ekibiina ky’abantu nga baagala okuwulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, yakubiriza abayigirizwa be ‘okusaba Nnannyini makungula aweereze abakozi mu makungula ge.’ (Mat. 9:37, 38) Okuva bwe kiri nti tuli mu kiseera ekisembayo eky’amakungula, kikulu nnyo kati okwenyigira mu mulimu guno n’okusinga bwe kyali kibadde. Kino kitegeeza nti tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okulowooza ku ngeri y’okugaziya ku buweereza bwaffe.—Yok. 14:13, 14.
2. Abamu baanukudde batya omulanga ogw’okusaba okuweereza abakozi abalala mu nnimiro?
2 Engeri y’Okugaziya ku Buweereza: Olw’obulagirizi bwa Yakuwa n’obuyambi bwe, bangi basobodde okutandika okuweereza nga bapayoniya. (Zab. 26:2, 3; Baf. 4:6) Abamu bafubye nnyo okuweereza nga bapayoniya abawagizi okumala omwezi gumu oba n’okusingawo mu mwaka. Eno ebadde ngeri nnungi ey’okugaziyaamu obuweereza bwabwe. Essanyu lye bafunye mu buweereza buno liviiriddeko bangi ku bo okufuuka bapayoniya aba bulijjo.—Bik. 20:35.
3. Bw’oba nga wali oweerezzaako nga payoniya, kiki kati ky’osaanidde okulowoozaako?
3 Osobola Okuddamu Okuweereza nga Payoniya?: Bw’oba nga wali oweerezzaako nga payoniya, awatali kubuusabuusa waliwo ebirungi by’ojjukira mu buweereza bwo. Olowoozezza ku ky’okuddamu okuweereza nga payoniya era osabye Yakuwa akuyambe? Ebyo ebyakuleetera okulekera awo okuweereza nga payoniya biyinza okuba nga tebikyakulemesa. Oyinza okuba nga kati osobola okuddamu okuweereza nga payoniya.—1 Yok. 5:14, 15.
4. Nkizo ki ey’enjawulo ffenna gye tusobola okufuna?
4 Omulimu gw’amakungula gugenda mu maaso era gunaatera okumalirizibwa. (Yok. 4:35, 36) Ka ffenna twekenneenye embeera zaffe tulabe oba nga tusobola okukola enkyukakyuka mu ebyo bye tukola, kitusobozese okugaziya ku buweereza bwaffe. Singa kiba nti tetusobola kugaziya ku buweereza bwaffe, tusobola okulowooza ku ngeri y’okubulongoosaamu. (Mak. 12:41-44) Nga nkizo ya maanyi nnyo eri abo bonna abali mu mbeera ezibasobozesa okukozesebwa Yakuwa mu buweereza buno obw’enjawulo!—Zab. 110:3.