Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 13
WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 13
Oluyimba 85
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 7 ¶10-19, akasanduuko ku lup. 81
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Eby’Abaleevi 21-24
Na. 1: Eby’Abaleevi 22:17-33
Na. 2: Ddala Abo Abakola Ebintu Ebibi Basobola Okukyuka? (lr sul. 25)
Na. 3: Engeri Abakristaayo ab’Amazima gye Balaga Okufaayo eri Abaavu
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 74
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Kozesa Baibuli mu Buweereza Bwo. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 145. Mu bufunze, laga ekyokulabirako ekiraga omuganyulo oguli mu kukozesa Baibuli erimu erinnya lya Katonda, Yakuwa.
Ddak. 10: Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli. Waayo ebyokulabirako oba saba ababuulizi boogere ku birungi ebyavaamu bwe baali mu kaweefube ow’okutandika okuyiga n’abantu Baibuli ku lunaku olw’enjawulo.
Ddak. 10: “Osobola Okugaziya ku Buweereza Bwo?” Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
Oluyimba 27