Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjuuni: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Omuntu bw’aba ng’alina akatabo kano, muwe akatabo Sinza Katonda Omu ow’Amazima, Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, oba brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki? Jjulaayi ne Agusito: Ababuulizi bayinza okugaba brocuwa yonna ku zino wammanga ez’empapula-32: A Book for All People, A Satisfying Life—How to Attain It, Beera Bulindaala!, Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, “Look! I Am Making All Things New,” Nnyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Omwagalwa Wo bw’Afa, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, ne Will There Ever Be a World Without War?, era ne brocuwa endala zonna eziri mu nnimi ezoogerwa mu kitundu kyammwe. Ssebutemba: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Ababuulizi bajja kussa essira ku kutandika okuyigiriza abantu Baibuli ku mulundi gwe baba basoose okubakyalira. Nnyonnyola engeri akatabo gye kayinza okubaganyulamu ng’obalaga mu bufunze ngeri gye tukakozesaamu okuyigiriza abantu Baibuli.
◼ Wajja kubaawo kaweefube ow’okuyita abantu mu nkuŋŋaana za disitulikiti ezinaabaawo mu 2009 ne mu nkuŋŋaana ennene ez’ensi yonna. Ababuulizi bajja kugaba obupapula obuyita abantu ku nkuŋŋaana ezo. Kaweefube ono ajja kutandika ng’ebulayo wiiki ssatu olukuŋŋaana lutandike.
◼ Ababuulizi bajja kuweebwa bbaagi z’olukuŋŋaana lwa disitulikiti okuyitira mu bibiina byabwe. Abanaagenda mu nkuŋŋaana ez’ensi yonna bajja kukozesa bbaagi ze zimu.
◼ Enkuŋŋaana z’ekibiina ziyinza okukyusibwakyusibwamu nga bwe kiba kyetaagisizza kisobozese bonna okubeerawo mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olulina omutwe: “Beera Bulindaala!” Mu lukuŋŋaana lw’obuweereza olunaasembayo nga temunnagenda mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti, mwekenneenye okujjukizibwa okukwata ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Oluvannyuma lw’omwezi gumu oba ebiri ng’olukuŋŋaana luwedde, ekitundu ky’ebyetaago by’ekibiina kiyinza okukozesebwa okwejjukanya ensonga enkulu ezaali mu lukuŋŋaana ababuulizi ze basanze nga za muganyulo mu buweereza.
◼ Buli lw’oteekateeka okugenda mu nsi etalagiddwa mu alipoota y’omwaka gw’obuweereza oba ng’endagiriro yaayo teri ku lupapula olusembayo olw’akatabo Yearbook akaakafulumizibwa, osabibwa okwebuuza ku ofiisi y’ettabi ey’omu nsi yo okusobola okumanya obulagirizi bw’olina okugoberera. Omulimu gw’Obwakabaka mu nsi eyo guyinza okuba nga gukugirwa. (Mat. 10:16) Mu nsi ezimu, kiyinza obutaba kirungi okubuuliriza Abajulirwa ba Yakuwa we bali. Oyinza okuweebwa obulagirizi obukwata ku kubuulira embagirawo oba okutambula n’ebitabo. Singa okolera ku bulagirizi obukuweereddwa, kijja kukuyamba okwewala ebizibu oba okubireetera omulimu gw’Obwakabaka.