Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjulaayi 6
WIIKI ETANDIKA JJULAAYI 6
Oluyimba 100
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 7 ¶1-9, obusanduuko obuli ku lup. 76, 78
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Eby’Abaleevi 17-20
Na. 1: Eby’Abaleevi 19:1-18
Na. 2: Ddala Ffenna Twali mu Ttwale ery’Emyoyo nga Tetunnazaalibwa? (rs lup. 161 ¶2–lup. 162 ¶3)
Na. 3: Tobbanga! (lr sul. 24)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 5: Buuza ebibuuzo omukadde omu oba babiri oba abaweereza. Kiki ekyabakubiriza okuluubirira omulimu ogwo omulungi? (1 Tim. 3:1-9) Abalala baabakubiriza batya era buyambi ki bwe baabawa? Baganyuddwa batya?
Ddak. 25: “Weetegekedde Embaga ey’eby’Omwoyo?” Kya kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina. Bategeeze olukuŋŋaana lwa disitulikiti ekibiina kyammwe lwe kirina okugendamu. Yogera ku ebyo ebiri mu kasanduuko “Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti.” Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 7, yogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu bbaluwa oba mu katabo Organised, ku lupapula 138 akatunda 2 ne 3, okuva bwe kiri nti emisingi egikalimu gikwata ne ku abo abagenda mu nkuŋŋaana za disitulikiti.
Oluyimba 19