Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 6
WIIKI ETANDIKA APULI 6
Oluyimba 16
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 3 ¶16-21
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Okuva 7-10
Na. 1: Okuva 9:1-19
Na. 2: Abo Abaafuuka Abayigirizwa ba Yesu (lr sul. 13)
Na. 3: Tusobola Tutya Okukwataganya Abaggalatiya 6:2 Ne Abaggalatiya 6:5?
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Okuwa Obukakafu Obumatiza. Okwogera okw’ebbugumu n’okukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitabo Essomero ly’Omulimu, olupapula 255-257.
Ddak. 20: Abavubuka—Munaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe? Omukadde akubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’akozesa tulakiti eyitibwa Obulamu Bwammwe. Weebaze n’ebbugumu abavubuka ababatize abafuba ennyo okukulembeza eby’Obwakabaka. Mu bufunze, buuza ebibuuzo omubuulizi eyayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna ng’akyali muvubuka. ‘Kiki ekyakuleetera okusalawo bw’otyo? Mikisa ki gy’ofunye?’
Oluyimba 33