Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maaki: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? era tufube nnyo okufuna abayizi ba Baibuli. Apuli ne Maayi: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’oddayo eri abo abaalaga okusiima nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo ku Kijjukizo oba mu nkuŋŋaana ennene naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, bawe akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Ekiruubirirwa kyaffe kwe kutandika okubayigiriza Baibuli nga tukozesa akatabo ako. Jjuuni: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Omuntu bw’aba ng’alina akatabo kano, muwe akatabo Sinza Katonda Omu ow’Amazima, Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo, oba brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki?
◼ Ababuulizi basaanidde okuweebwa Watchtower ne Awake! amangu ddala nga zaakatuuka. Ekyo kijja kubayamba okumanya ebizirimu nga tebannaba kuzigaba mu buweereza bw’ennimiro.