Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 30
WIIKI ETANDIKA MAAKI 30
Oluyimba 97
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 3 ¶8-15, n’akasanduuko akali lup. 30
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Okuva 1-6
Na. 1: Okuva 1:1-19
Na. 2: Yesu Atuyigiriza Okusaba (lr sul. 12)
Na. 3: Ddala Abo Abakola Ebyamagero eby’Okuwonya Leero Bakozesa Mwoyo gwa Katonda? (rs lup. 156-157 ¶3)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 21
Ddak. 5: Ebirango. Bategeeza enteekateeka endala yonna ekoleddwa ekwata ku mukolo gw’Ekijjukizo.
Ddak. 15: Beera Mwetegefu Okuyamba Abo Abanajja ku Mukolo gw’Ekijjukizo. Kwogera kw’omulabirizi w’obuweereza ng’ajjukiza ababuulizi okuyamba abayizi ba Baibuli, ababuulizi abatakyabuulira, awamu n’abalala abanaabeerawo ku mukolo gw’Ekijjukizo, gamba nga ab’emikwano n’ab’eŋŋanda zaabwe. (Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maaki 2008, olupapula 4.) Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okutandika okusoma Baibuli n’omuntu eyajja ku Kijjukizo. Jjukiza bonna okusoma ebyawandiikibwa ebikwata ku Kijjukizo, ebirina okusomebwa okuva ku Ssande nga Apuli 5. Bawe amagezi ku ngeri kino gye kiyinza okukolebwamu.
Ddak. 15: “Baibuli—Ekitabo eky’Amazima era eky’Obunnabbi.” By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
Oluyimba 95