Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maaki 23
WIIKI ETANDIKA MAAKI 23
Oluyimba 34
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
lv-LU sul. 3 ¶1-7, n’akasanduuko akali lup. 29
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Olubereberye 47-50
Na. 1: Olubereberye 48:1-16
Na. 2: Ddala Tusaanidde Okutya Omulyolyomi?
Na. 3: Obuyambi bwa Bamalayika ba Katonda (lr sul. 11)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 57
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Weeteekereteekere Okugaba Watchtower eya Apuli 1 ne Awake! eya Apuli. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Ng’omaze okwogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu magazini ezo, saba abawuliriza banokoleyo ebimu ku bitundu ebizirimu ebiyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe era bawe n’ensonga lwaki balowooza bwe batyo. Bibuuzo ki na byawandiikibwa ki bye bayinza okukozesa nga bagaba magazini ezo? Lagayo ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo. Mu kimu ku byokulabirako, laga engeri y’okutandika okuyiga n’omuntu Baibuli ng’ozzeeyo okumukyalira. Bwe muba temunnafuna magazini zino, muyinza okukola enkyukakyuka mu lukuŋŋaana lwammwe olw’obuweereza ekitundu kino ne kikubaganyizibwako ebirowoozo nga muzifunye.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Laga nti Ossa Ekitiibwa mu Nnyinimu ng’Omuwuliriza Bulungi era ng’Ofaayo ku Ndowooza Ye. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 186-187. Laga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okukolera ku magezi gano agatuweereddwa. Oluvannyuma, saba abawuliriza boogere ensonga lwaki ekyokulabirako ekyo kibadde kirungi.
Oluyimba 41