Ebyatuukibwako mu Buweereza bw’Ennimiro
Kenya: Yafuna entikko empya eya bapayoniya aba bulijjo 2,410 mu mwezi gwa Okitobba 2008.
Sudan: Alipoota y’obuweereza eya Okitobba yalaga nti waaliyo okweyongerayongera kwa bitundu munaana ku buli kikumi ku muwendo gw’ababuulizi.
Tanzania: Ab’oluganda abawerera ddala 2,043 baaweereza nga bapayoniya mu Okitobba 2008, era ababuulizi 12,849 baalina abayizi ba Baibuli 21,092.