LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 2/09 lup. 3
  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 23

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 23
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Emitwe emitono
  • WIIKI ETANDIKA FEBWALI 23
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 2/09 lup. 3

Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 23

WIIKI ETANDIKA FEBWALI 23

Oluyimba 14

□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:

lv-LU sul. 1 ¶1-9, ennyanjula

□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:

Okusoma Baibuli: Olubereberye 32-35

Okwejjukanya

□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:

Oluyimba 35

Ddak. 5: Ebirango. Yogera ku bitabo eby’okugaba mu Maaki.

Ddak. 10: Weeteekereteekere Okugaba Watchtower eya Febwali 1 ne Awake! eya Febwali. Ng’omaze okwogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu magazini ezo, saba abawuliriza banokoleyo ebimu ku bitundu ebizirimu ebiyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe era bawe n’ensonga lwaki balowooza bwe batyo. Saba abawuliriza boogere ekibuuzo kye bayinza okukozesa okutandika okunyumya n’abantu n’ekyawandiikibwa kye bayinza okusoma nga bagaba magazini ezo. Fundikira ng’olaga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.

Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina. Omukadde ayinza okwogera ku ngeri gye tusaanidde okutwalamu abo ababa bagobeddwa mu kibiina oba abo ababa bakyeyawuddeko ng’asinziira ku ebyo ebiri mu lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Agusito 2002.

Ddak. 10: Okozesa Akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku? Kwogera na kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku nnyanjula y’akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2009. Yogera ku miganyulo egiri mu kuwaayo ekiseera buli lunaku okwekenneenya Ekyawandiikibwa eky’olunaku awamu n’ebyo ebikyogerako. Saba abawuliriza boogere ku nteekateeka gye balina ey’okusoma ekyawandiikibwa eky’olunaku era n’engeri gye baganyuddwamu. Bwe muba temulina katabo kano, kozesa ennyanjula y’akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku—2008.

Oluyimba 69

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza