Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 2
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 2
Oluyimba 57
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
cl-LU sul. 13 ¶9-16
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Olubereberye 21-24
Na. 1: Olubereberye 22:1-18
Na. 2: “Ono Ye Mwana Wange” (lr sul. 5)
Na. 3: Engeri Gye Tuyinza Okugaziwa mu Kwagala Kwaffe eri Abalala (2 Kol. 6:11-13)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 98
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Jjanwali.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Abataagala Bubaka Bwaffe. Oluvannyuma lw’ennyanjula ennyimpimpi, kozesa ebyo ebiri mu katabo Reasoning, olupapula 15-20, olageyo ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okuddamu abo abatayagala kuwuliriza bubaka bwaffe mu buweereza bw’ennimiro.
Ddak. 10: Yamba Abo Abatakkiririza mu Baibuli. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, olupapula 64-68. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri gye muyinza okukwatamu abantu ab’enjawulo abatakkiririza mu Baibuli, era olageyo ekyokulabirako kimu ekituukana n’ekitundu kyammwe.
Oluyimba 21