LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 1/09 lup. 4
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 1/09 lup. 4

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjanwali: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Abantu bwe baba bakalina, tusobola okubawa akatabo konna ak’empapula 192 ezimyukiridde oba ako akaakubibwa ng’omwaka 1992 tegunnatuuka. Febwali: Musobola okugaba ebimu ku bitabo bino bwe muba mubirina, Is There a Creator Who Cares About You?, The Bible​—God’s Word or Man’s?, oba akatabo Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka. Maaki: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza era tufube nnyo okufuna Abayizi ba Baibuli. Apuli ne Maayi: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bwe muddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo oba ku nkuŋŋaana ennene naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mubawe akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Twandibadde n’ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli nga tukozesa akatabo ako.

◼ Okutandika ne wiiki esooka mu Maaki, okwogera kwa bonna okunaaweebwa abalabirizi b’ebitundu kujja kuba n’omutwe: “Weewale Endowooza z’Ensi, Luubirira eby’Obwakabaka.”

◼ Ebibiina bisaanidde okukola enteekateeka ennungi ez’okukwata Ekijjukizo eky’omwaka guno ku Lwokuna, nga Apuli 9, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Kyandibadde kirungi buli kibiina okukwata omukolo gw’Ekijjukizo nga kiri kyokka. Ebibiina ebiwerako bwe biba bikozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka kimu, oboolyawo ekibiina ekimu oba n’okusingawo biyinza okufuna ekifo ekirala eky’okukozesa akawungeezi ako. Tuwa ekirowoozo nti, bwe kiba kisoboka, wandiyiseewo ekiseera ekitakka wansi w’eddakiika 40 ng’ekibiina ekirala tekinnatandika mukolo ogwo, kisobozese ab’oluganda okunyumyako ne bannaabwe ng’omukolo guwedde.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza