Enteekateeka y’Enkuŋŋaana z’Obuweereza
Wiiki Etandika Ddesemba 8
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Mu bufunze yogera ku nnyanjula eziri ku lupapula 8 ezikwata ku ngeri y’okugabamu Watchtower eya Noovemba 1 ne Awake! eya Noovemba. Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye basobodde okugabamu magazini zino. Bakozesezza kitundu ki, kibuuzo ki na kyawandiikibwa ki?
Ddak. 15: Essomero ly’Omulimu gwa Katonda erya 2009. Kwogera kw’omulabirizi akubiriza essomero. Ssa essira ku nsonga enkulu ezikwata ku kibiina kyammwe eziri ku lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Okitobba 2008. Bategeeze obuvunaanyizibwa bw’oyo akola ng’omuyambi w’akubiriza essomero. Kubiriza bonna okufuba okuwa emboozi zaabwe eziba zibaweereddwa, okubaako bye baddamu mu kitundu eky’okunokolayo ebimu ku ebyo ebibadde mu kusoma Baibuli okwa wiiki, era n’okussa mu nkola amagezi agaweebwa buli wiiki okuva mu kitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.
Ddak. 20: “Okozesa Akatabo Reasoning?”a Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, saba payoniya oba omubuulizi omulala omulungi alageyo ekyokulabirako mu bufunze ku ngeri gy’ayinza okuddamu ekibuuzo, ‘Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa tebakuza Ssekukkulu?’ ng’akozesa akatabo Reasoning mu buweereza obwa nnyumba ku nnyumba.
Oluyimba 13
Wiiki Etandika Ddesemba 15
Oluyimba 41
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka n’Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 10: Okuggumiza Ensonga ng’Oziddiŋŋana mu Buweereza bw’Ennimiro. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitabo Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, olupapula 207. Mu bufunze lagayo ekyokulabirako kimu oba bibiri ku ngeri y’okuggumizaamu ensonga enkulu.
Ddak. 25: “‘Wa Obujulirwa mu Bujjuvu’—Ng’Obuulira mu Bizimbe Ebibaamu Abantu Abangi.”b Kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Ebiri mu kitundu kino bituukanye n’ekitundu kyammwe.
Oluyimba 68
Wiiki Etandika Ddesemba 22
Oluyimba 23
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Bategeeze ebitabo eby’okugaba mu Jjanwali, era osabe omukadde alageyo ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okugabamu ebitabo bino.
Ddak. 15: Weeteekereteekere Okugaba Watchtower eya Ddesemba 1 ne Awake! eya Ddesemba. Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Ng’omaze okwogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu magazini ezo, saba abawuliriza banokoleyo ebimu ku bitundu ebizirimu ebiyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe era bawe n’ensonga lwaki balowooza bwe batyo. Ng’okozesa ebimu ku bitundu ebyo, saba abawuliriza boogere ekibuuzo kye bayinza okukozesa okutandika okunyumya n’abantu n’ekyawandiikibwa kye bayinza okusoma okuva mu kitundu ekyo nga bagaba magazini ezo. Ng’okozesa ennyanjula eziri ku lupapula 8 oba endala ezituukana n’ekitundu kyammwe, fundikira ng’olaga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu buli emu ku magazini ezo.
Ddak. 20: “Olunaku olw’Enjawulo olw’Okutandika Okuyiga n’Abantu Baibuli.”c Bategeeze wiikendi mu mwezi gwa Jjanwali ekibiina kyammwe lwe kinaateeka essira ku kutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Yogera ku magezi agaweereddwa mu katundu 3 era olageyo ekyokulabirako kimu oba bibiri.
Oluyimba 55
Wiiki Etandika Ddesemba 29
Oluyimba 62
Olukuŋŋaana lw’Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Okubikkulirwa 15-22
Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 34
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: “Okubuulira Kwetaagisa Obugumiikiriza.”d Ebiseera bwe bibaawo, saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiweereddwa.
Oluyimba 66
Wiiki Etandika Jjanwali 5
Oluyimba 15
Olukuŋŋaana lw’Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: Olubereberye 1-5
Na. 1: Olubereberye 3:1-15
Na. 2: Ensonga Lwaki Yesu Yali Muyigiriza Mulungi (lr sul. 1)
Na. 3: Kiki Ekitali kya Bwereere? (1 Kol. 15:58)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Oluyimba 43
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 10: Koppa Endowooza Yesu gye Yalina ku Buweereza. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo “Come Be My Follower,” olupapula 84-86, akatundu 16-21.
Ddak. 20: “Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa mu 2009.”e Kya kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina. Nga temunnakubaganya birowoozo ku kitundu kino, soma ebbaluwa eya Ddesemba 15, 2008, ekwata ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Kiggumize nti kikulu nnyo okwoleka ebibala by’omwoyo ekiseera kyonna.—Bag. 5:22, 23.
Oluyimba 61
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
d By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
e By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.