Okubuulira Kwetaagisa Obugumiikiriza
1 Okumala emyaka egisoba mu 30, omutume Pawulo yafuna essanyu lingi mu mulimu gw’okubuulira. Ng’omulimu gwonna omulungi bwe guba, waaliwo ebizibu bye yayolekagana nabyo mu buweereza bwe. (2 Kol. 11:23-29) Kyokka, Pawulo teyalekera awo kubuulira. (2 Kol. 4:1) Yali akimanyi bulungi nti Yakuwa ye yandimuwadde amaanyi agandimusobozesezza okugumiikiriza ng’atuukiriza obuweereza bwe. (Baf. 4:13) Ng’asinziira ku kyokulabirako kye eky’obugumiikiriza, Pawulo yagamba nti: “Munkoppe, nga nange bwe nkoppa Kristo.”—1 Kol. 11:1, NW.
2 Okugumira Ebigezo Ebiriwo Leero: Buli lunaku, baganda baffe bangi basekererwa era baziyizibwa ab’omu maka gaabwe, bakozi bannaabwe, oba bayizi bannaabwe. (Mat. 10:35; Yok 15:20) Oboolyawo, oli mu mbeera efaananako bw’etyo. Ku luuyi olulala, oyinza okuba ng’olina obulwadde obukuluma, oba ng’ofuba nnyo okuziyiza ebintu ebiwugula awamu n’ebikemo ebigezesa okukkiriza kwo era n’obugumiikiriza bwo. Tusobola okufuna amaanyi bwe twekenneenya ebyokulabirako by’abaweereza ba Katonda ab’edda awamu n’eby’Abakristaayo bannaffe ab’omu kiseera kino aboolekaganye n’ebizibu era ne basobola okubivvuunuka.—1 Peet. 5:9.
3 Bwe ‘twambala ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda,’ tusobola okufuna amaanyi aganaatuyamba okweyongera okwenyigira mu buweereza bwaffe. (Bef. 6:10-13, 15) Era kitwetaagisa okusaba Yakuwa atuyambe okugumiikiriza. Katonda atuwa omwoyo gwe omutukuvu ne tusobola okugumira ebigezo. (2 Kol. 6:4-7) Okusobola okutuuka ku buwanguzi mu lutalo lwaffe olw’eby’omwoyo, tulina okukolera ku kubuulirira kwa Katonda okukwata ku kwezza obuggya mu by’omwoyo. (Zab. 119:24, 85-88) Ng’omwana bw’ayinza okusoma enfunda n’enfunda ebbaluwa kitaawe amwagala gy’amuwandiikidde, naffe bwe tusoma Baibuli buli lunaku, enkolagana yaffe ne Yakuwa yeeyongera okunywera. Bwe twesomesa obutayosa, tusobola okufuna amagezi agatuyamba okwaŋŋanga ebizibu, era kino kitusobozesa okusalawo nga tusinziira ku ndowooza ya Katonda era ne tukuuma obugolokofu bwaffe.—Nge. 2:10, 11.
4 Okugumiikiriza Kuvaamu Emiganyulo: Nga bwe kyali eri Pawulo, bwe tuba abagumiikiriza nga tutuukiriza obuweereza bwaffe, tusobola okusanyusa omutima gwa Yakuwa era kino kitusobozesa okufuna mikisa mingi. (Nge. 27:11) Ka tubeere bamalirivu okweyongera okubuulira, tusobole okukyoleka nti tulina okukkiriza okunywevu era ‘okw’omuwendo okusinga zaabu aggwaawo wadde ng’agezesebwa mu muliro.’—1 Peet. 1:6, 7.