Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Noovemba 10
Oluyimba 74
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Yogera n’ebyo ebikuweereddwa omulabirizi w’obuweereza ebikwata ku ngeri ekibiina kyammwe gye kyakolamu mu kaweefube ow’okugaba tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? Okuva bwe kiri nti ababuulizi bangi baatandika dda okugaba Watchtower eya Okitobba 1 ne Awake! eya Okitobba, saba abawuliriza boogere ku birungi bye bafunye nga bagaba magazini zino.
Ddak. 15: Kulaakulanya Okwagala n’Omwoyo Omugabi. Kwogera kw’omukadde nga kwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi aka Noovemba 15, 2008, olupapula 6-7. Bwe muba temukalina, oyinza okukozesa Watchtower eya Noovemba 1, 2007, olupapula 17-21.
Ddak. 20: “Tulina eby’Obugagga eby’Omuwendo Bye Tusobola Okugabirako Abalala.”a Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 2, saba abawuliriza boogere ebimu ku ebyo bye baayiga okuva mu Baibuli ebyabasikiriza okujja mu kibiina kya Yakuwa oba ebyo bye beeyongedde okutegeera okuva lwe baabatizibwa.
Oluyimba 53
Wiiki Etandika Noovemba 17
Oluyimba 79
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.
Ddak. 15: Akasanduuko k’Ebibuuzo.b
Ddak. 20: “Osobola Okubeera Omuyigiriza!”c Buuza ebibuuzo omubuulizi oba payoniya eyali alowooza nti talina busobozi bwa kuyigiriza muntu Baibuli. Yakuwa yamuyamba atya? Ekibiina kimuyambye kitya okufuuka omuyigiriza omulungi? Mikisa ki gy’afunye mu kuyigiriza abantu Baibuli?
Oluyimba 60
Wiiki Etandika Noovemba 24
Oluyimba 97
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Tegeeza abawuliriza ebitabo eby’okugaba mu Ddesemba, era olageyo ekyokulabirako kimu oba bibiri.
Ddak. 20: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 15: Weeteekereteekere Okugaba Watchtower eya Noovemba 1 ne Awake! eya Noovemba. Ng’omaze okwogera mu bufunze ku ebyo ebiri mu magazini ezo, saba abawuliriza banokoleyo ebimu ku bitundu ebizirimu ebiyinza okusikiriza abantu b’omu kitundu kyammwe. Bibuuzo ki na byawandiikibwa ki bye bayinza okukozesa nga banjula ebitundu ebyo? Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu emu ku magazini zino ng’okozesa ennyanjula eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Saba omu ku bakadde alageyo ekyokulabirako mu bufunze ku ngeri gy’ayinza okugabamu magazini ng’akozesa ekitundu ekituukagana n’abantu b’omu kitundu kyammwe.
Oluyimba 83
Wiiki Etandika Ddesemba 1
Oluyimba 49
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Noovemba.
Ddak. 15: Ebyokulabirako eby’omu kitundu. Tegeeza abawuliriza obunene bw’ekitundu kye mwabulira nga mugaba tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? Saba abawuliriza boogere ku birungi bye baafuna nga bagaba tulakiti eno oba nga bagikozesa okutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Era basabe boogere ku birungi bye bafunye nga bagaba akatabo Baibuli ky’Eyigiriza mu Noovemba. Ekyokulabirako kimu oba bibiri ebirungi biyinza okulagibwa ddala nga bwe byali.
Ddak. 20: “Yamba Abapya Okugumira Okuziyizibwa.”d Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 2, yogera mu bufunze ku ngeri ebyo ebiri mu katabo Reasoning wansi w’omutwe “Abajulirwa ba Yakuwa” gye biyinza okuyambamu omuyizi wa Baibuli okuddamu ebibuuzo ebimubuuzibwa ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye.
Oluyimba 44
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
d By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.