Yamba Abapya Okugumira Okuziyizibwa
1 Abantu bwe batandika okuyiga Baibuli era nga baagala “okubeera mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda,” Setaani afuba nnyo okubaziyiza. (2 Tim. 3:12, NW) Okuziyizibwa kusobola okuva eri bakozi bannaabwe, bayizi bannaabwe, oba baliraanwa baabwe. Okuziyizibwa kuno kusobola okugezesa ennyo abapya naddala singa kuba kuvudde eri ab’eŋŋanda zaabwe.—Mat. 10:21; Mak. 3:21.
2 Okuziyizibwa Kwalagulwako: Abapya balina okukitegeera nti basobola okuyigganyizibwa era nga kino kiba kiraga nti batandise okubeera abagoberezi ba Kristo aba nnamaddala. (Yok. 15:20) Ebiseera ebimu, abantu bayinza okutuyigganya olw’okuba tebategeera bulungi Bajulirwa ba Yakuwa. Kijjukire nti tufuna essanyu lingi nnyo bwe tuyigganyizibwa olw’okuba tuli bagoberezi ba Yesu era olw’okuba tugondera Katonda. (Bik. 5:27-29, 40, 41) Kakasa abapya nti Yakuwa abaagala nnyo era nti ajja kubayamba. (Zab. 27:10; Mak. 10:29, 30) Bwe banywerera ku kituufu balaga nti bawagira obufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna.—Nge. 27:11.
3 Obukulu bw’Okufuna Okumanya Okutuufu: Yamba abayizi bo aba Baibuli okukitegeera nti kikulu okweyongera okufuna okumanya okutuufu ka babe nga boolekagana na bizibu ki. Setaani akozesa okuziyizibwa okusobola okulemesa amazima okusimba amakanda mu mitima gy’abayizi ba Baibuli. (Nge. 4:23; Luk. 8:13) Bateekwa okweyongera okufuna okumanya okutuufu okuli mu Kigambo kya Katonda basobole okuba abanywevu mu kukkiriza.—Zab. 1:2, 3; Bak. 2:6, 7.
4 Obukulu bw’Okuba Abagumiikiriza: Mu mbeera yonna enzibu, kiba kikulu nnyo okuba abagumiikiriza era kino kisobola okuvaamu ebirungi. (Luk. 21:16-19) Abapya bwe bagumira okuziyizibwa, baganyulwa era ne baganyula n’abalala. Bakitegeera nti Yakuwa awa emikisa abo abagumiikiriza.—Yak. 1:12.
5 Omutume Pawulo yasanyuka nnyo era ne yeebaza Katonda olwa baganda be ab’e Ssessaloniika abaali bakulaakulana mu by’omwoyo. Bangi ku bo ye yali abayambye okutegeera amazima. (2 Bas. 1:3-5) Naffe tusobola okufuna essanyu lye limu singa tuyamba abayizi baffe okugumira okuyigganyizibwa n’okuba abagumiikiriza.