LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/08 lup. 1
  • Tusiguukulula Ebintu Ebyasimba Amakanda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Tusiguukulula Ebintu Ebyasimba Amakanda
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Laba Ebirala
  • Enzikiriza Zo Ozeesigamya ku Ki?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Kozesa Bulungi “Ekitala eky’Omwoyo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Eddembe ly’Olina Okukkiriza ky’Oyagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Abajulirwa ba Yakuwa Bakristaayo ab’Amazima?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 7/08 lup. 1

Tusiguukulula Ebintu Ebyasimba Amakanda

1 Okumala ebyasa n’ebyasa, Setaani abuzaabuzizza abantu bangi ng’akozesa enjigiriza ez’obulimba gamba nga eya Tiriniti, ey’omuliro ogutazikira, awamu n’eyo egamba nti omuntu bw’afa waliwo ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu. Aleetera abantu okubuusabuusa obanga ddala Katonda gy’ali era n’obutakkiriza nti Baibuli kigambo kya Katonda. Omwoyo gwa ggwanga n’obusosoze mu langi bye bimu ku bintu ebirala ebiremesezza abantu okukkiriza amazima. (2 Kol. 4:4) Tuyinza tutya okusiguukulula enjigiriza ng’ezo ezaasimba amakanda?​—2 Kol. 10:4, 5.

2 Enneewulira z’Abantu Zizingirwamu: Ebyo abantu bye baba bayigiriziddwa okumala emyaka mingi bitera okukwata ku nneewulira zaabwe. Abantu abamu babadde bagoberera enjigiriza enkyamu okuviira ddala nga bakyali bato. Okusobola okuyamba abalinga abo, tulina okwogera nabo mu ngeri eraga nti tussa ekitiibwa mu ndowooza zaabwe.​—1 Peet. 3:15.

3 Tusobola okulaga nti tubassaamu ekitiibwa nga tubaleka okunnyonnyola ebyo bye bakkiriza era n’okuwa ensonga lwaki babikkiririzaamu. (Yak. 1:19) Oboolyawo ekibaleetera okunywerera ku njigiriza egamba nti omuntu bw’afa waliwo ekimuvaamu ne kisigala nga kiramu kwe kuba nti waliwo abaagalwa baabwe abaafa era nga bandyagadde okuddamu okubalabako. Oba bayinza okuba nga bakuza ennaku enkulu olw’okuba zibawa akakisa okubeerako awamu n’ab’omu maka gaabwe. Bwe tuwuliriza obulungi nga boogera, kijja kutuyamba okutegeera enneewulira zaabwe era kitusobozese okubaddamu mu ngeri ennungi.​—Nge. 16:23.

4 Koppa Yesu: Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu ngeri gye yaddamu ekibuuzo ekyamubuuzibwa omusajja eyali amanyi obulungi Amateeka. Yesu teyamuddamu butereevu kubanga kino kyandireetedde omusajja oyo okugaana by’amugamba okuva bwe kiri nti ebyo bye yali akkiririzaamu byali byasimba dda amakanda mu mutima gwe. Mu kifo ky’ekyo, Yesu yajuliza Ebyawandiikibwa, n’amusaba okuwa endowooza ye, era n’amuyamba okutegeera ekituufu ng’amugerera olugero.​—Luk. 10:25-37.

5 Ekigambo kya Katonda kisobola okuyamba abantu okulekera awo okugoberera enjigiriza enkyamu. (Beb. 4:12) Bwe tufuba okutuuka ku mitima gy’abantu, tusobola okubayamba okulekayo enjigiriza ez’obulimba era ne bakkiriza amazima agasobola okubafuula ab’eddembe.​—Yok. 8:32.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza