Enzikiriza Zo Ozeesigamya ku Ki?
Okukkiriza kunnyonnyoddwa nga “okutwala ekintu okuba ekituufu, ekikakafu, oba ekya nnamaddala.” Ekiwandiiko Universal Declaration of Human Rights eky’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte, kiwagira buli muntu “okuba n’eddembe okulowooza, okugoberera omuntu ow’omunda, era n’eddiini.” Eddembe lino litwaliramu “okukyusa eddiini oba enzikiriza ye” bw’aba ng’ayagadde.
NAYE, lwaki omuntu yandyagadde okukyusa eddiini ye oba enzikiriza? Bangi batera okugamba, “Nnina enzikiriza yange, era ndi mumativu nayo.” Bangi bagamba nti n’enzikiriza ezitali ntuufu, tezirina kabi k’amaanyi ke ziyinza kukola ku muntu. Ng’ekyokulabirako, omuntu akkiriza nti ensi ya museetwe, enzikiriza eyo eyinza obutabaako kabi k’emukolako wadde okukakola abalala. N’olwekyo, abamu bagamba: “Tukkirize nti tulina endowooza ezaawukana era tuleme kuzikubirako mpaka.” Naye ekyo kyandibadde ky’amagezi? Omusawo omu yandimaze gakkiriza nti ye ne basawo banne balina bubeezi ndowooza ezaawukana singa omu ku banne yeeyongera okulowooza nti si kikyamu okukebera butereevu abalwadde mu wooda oluvannyuma lw’okukwata ku mirambo mu ggwanika?
Bwe kituuka ku madiini, enzikiriza ezitali ntuufu zireeseewo akabi ak’amaanyi mu byafaayo. Lowooza ku by’entiisa ebyavaamu abakulu b’amadiini bwe “baakubiriza Abakristaayo bannalukalala okwenyigira mu ttemu” ery’entalo z’eddiini mu Kiseera eky’Omu Massekati (500-1500 A.D). Oba lowooza ku beeyita Abakristaayo mu kiseera kyaffe abeenyigira mu lutalo olumu gye buvuddeko awo. “Okufaananako bannalukalala ab’omu Kiseera eky’Omu Massekati abaalina obubonero bw’eddiini ku bitala byabwe, nabo baateeka obufaananyi bwa Malyamu ku bigala by’emmundu zaabwe.” Bannalukalala abo bonna baalowooza nti baali batuufu. Kyokka, awatali kubuusabuusa mu ntalo zino era n’endala ez’eddiini, waaliwo ekisobu eky’amaanyi.
Lwaki waliwo okubuzaabuzibwa kungi nnyo? Baibuli eddamu nti Setaani Omulyolyomi ‘alimbalimba ensi yonna.’ (Okubikkulirwa 12:9; 2 Abakkolinso 4:4; 11:3) Eky’ennaku, omutume Pawulo yalabula nti bannaddiini bangi ‘bandizikiridde’ olw’okulimbibwalimbibwa Setaani ‘eyandikoze ebyamagero n’eby’ekyewuunyo ebirina ekigendererwa eky’okulimba.’ Abalinga abo, omutume Pawulo yagamba nti, ‘baggala ebirowoozo byabwe obutakkiriza mazima agandibawonyezza.’ Mu ngeri eyo, ‘batwalirizibwa okukkiriza eby’obulimba.’ (2 Abasessaloniika 2:9-12) Oyinza otya okwewala okulimbibwa? Mazima ddala, ky’okkiriza okyesigamya ku ki?
Okuziddwa ng’Olina Enzikiriza Eyo?
Oboolyawo okuziddwa mu nzikiriza z’ab’omu maka go. Ekyo kirungi kuba Katonda yeetaaza abazadde okuyigiriza abaana baabwe. (Ekyamateeka 6:4-9; 11:18-21) Ng’ekyokulabirako, omuvubuka Timoseewo yaganyulwa nnyo mu kuwuliriza maama we ne jjajja we. (2 Timoseewo 1:5; 3:14, 15) Ebyawandiikibwa bitukubiriza okussa ekitiibwa mu nzikiriza z’abazadde baffe. (Engero 1:8; Abaefeso 6:1) Naye omutonzi wo yalina ekigendererwa okkirize buli kintu olw’okuba bazadde bo bakikkiriza? Okumala gagoberera enzikiriza z’abantu ab’omu mirembe egy’edda awatali kusooka kuzirowoozaako, kiyinza okuba eky’akabi.—Zabbuli 78:8; Amosi 2:4.
Omukazi Omusamaliya eyasisinkana Yesu Kristo, yali akuziddwa ng’akkiririza mu ddiini y’Abasamaliya. (Yokaana 4:20) Yesu yassa ekitiibwa mu ddembe ly’omukazi oyo ery’okwesalirawo okukkiriza ky’aba ayagadde. Naye era yamugamba: “Mmwe musinza kye mutamanyi.” Mu butuufu, enzikiriza z’omukyala ono ezisinga obungi tezaali ntuufu. Era Yesu yamugamba nti yali yeetaaga okukyusa enzikiriza ze bwe kiba nti yali wa kusinza Katonda nga bw’ayagala, “mu mwoyo n’amazima.” Mu kifo ky’omukyala ono okukalambirira ku nzikiriza ze, ye era n’abalala abalinga ye, oluvannyuma lw’ebbanga ‘bandigondedde okukkiriza’ okwabikkulwa okuyitira mu Yesu Kristo.—Yokaana 4:21-24, 39-41; Ebikolwa 6:7.
Wayigirizibwa Okukkiriza Enzikiriza z’Abakugu?
Abasomesa bangi n’abakugu mu bintu ebitali bimu baggwaana okussibwamu ekitiibwa. Kyokka, ebyafaayo birimu ebyokulabirako eby’abayigiriza abatutumufu abaali abakyamu. Ng’ekyokulabirako, ku bikwata ku bitabo bibiri ebyogera ku sayansi ebyawandiikibwa omufirosoofo Omuyonaani Aristotle, munnabyafaayo Bertrand Russell yagamba: “Kizibu nnyo okukkiriza wadde olunyiriri olumu bwe luti mu bitabo ebyo ng’obigeraageranyizza ne sayansi wa kakyo kano.” N’abakugu mu kiseera kyaffe batera okutuuka ku kusalawo okukyamu. N’olwekyo, omuntu omugezi tamala gakkiriza nti ekintu ekimu kituufu olw’okuba omuyigiriza omukugu agambye nti kituufu.—Zabbuli 146:3.
Okwegendereza ng’okwo kwetaagisa bwe kituuka ku njigiriza z’eddiini. Omutume Pawulo yayigirizibwa bulungi abayigiriza ab’eddiini era ‘yanyiikirira nnyo obulombolombo bwa bajjajjaabe.’ Kyokka, okunyiikirira obulombolombo bajjajjaabe bwe baali bakkiririzaamu kyamuleetera emitawaana. Kyamuviirako ‘okuyigganya abantu ba Katonda n’okubazikiriza.’ (Abaggalatiya 1:13, 14, NW; Yokaana 16:2, 3) N’ekirala eky’akabi, okumala ebbanga ggwanvu, Pawulo ‘yasambanga ku miwunda,’ ng’aziyiza kyonna ekyandimuleetedde okukkiririza mu Yesu Kristo. N’olwekyo, kyetaagisa Yesu kennyini okuyingira mu nsonga mu ngeri ey’ekyewuunyo Pawulo asobole okukyusa enzikiriza ze.—Ebikolwa 9:1-6; 26:14.
By’Okkiriza Wabimanyira ku Mikutu gya Mpuliziganya?
Oboolyawo eby’empuliziganya birina kinene nnyo kye bikoze ku nzikiriza zo. Abantu bangi basanyufu olw’okuba waliwo eddembe ly’okwogera ku mikutu gy’eby’empuliziganya, ekibasobozesa okufuna obubaka obuyinza okuba obw’omuganyulo. Kyokka, waliwo ab’obuyinza abakozesa emikutu gy’eby’empuliziganya okutuukiriza bye baagala. Ebyo ebitera okufulumizibwa ku mikutu gino emirundi mingi bibaamu kyekubiira ayinza okuba ow’akabi eri endowooza yo.
Okwongerezaako, okusobola okusikiriza abantu bangi, emikutu gy’eby’empuliziganya gifulumya ebintu ebicamuukiriza era n’ebiwuniikiriza. Ebintu ebyali bitayinza kwogerwa oba okukubibwa mu kyapa abantu okubisoma emyaka mitono egiyise, kati bifuuse ebya bulijjo. Mpolampola emisingi gy’enneeyisa gisekeetererwa era gigenda giggwaawo. Endowooza y’abantu egenda eyonoonebwa. Batandika okukkiriza nti ‘ekibi kirungi n’ekirungi kibi.’—Isaaya 5:20; 1 Abakkolinso 6:9, 10.
Okufuna Ekisinziirwako Ekinywevu Okuba n’Okukkiriza
Okukkiririza mu ndowooza n’obufirosoofo bw’abantu kiringa okuzimba ku musenyu. (Matayo 7:26; 1 Abakkolinso 1:19, 20) N’olwekyo, enzikiriza zo wandizeesigamizza ku ki? Okuva Katonda bw’akuwadde obusobozi obw’okunoonyereza ku bikwetoolodde era n’okubuuza ebibuuzo ebikwata ku by’omwoyo, tekyandibadde kya magezi n’okuba nti ateekawo enteekateeka ez’okufuna eby’okuddamu ebituufu mu bibuuzo ebyo? (1 Yokaana 5:20) Kya lwatu nti bw’atyo bwe yandikoze! Kati olwo, oyinza otya okutegeera ekituufu, ekikakafu, era ekya nnamaddala ku bikwata ku kusinza? Tetulonzalonza kugamba nti Ekigambo kya Katonda, Baibuli, kye kisinziirwako kyokka okukola ekyo.—Yokaana 17:17; 2 Timoseewo 3:16, 17.
Kyokka, omuntu ayinza okugamba: “Abo abakozesa Baibuli si be baleesewo obunyoolagano n’akavuyo mu nsonga z’ensi?” Kyo kituufu nti abakulu b’amadiini abeegamba nti bagoberera Baibuli baleesewo endowooza nyingi ezibuzaabuza n’ezikontana. Kino kibadde kityo olw’okuba tebeesigamizza nzikiriza zaabwe ku Baibuli. Omutume Peetero abayita “bannabbi b’obulimba” era “abayigiriza b’obulimba” abanditandiseewo ‘obubiina bw’eddiini obw’akabi.’ Olw’ebyo ebiva mu bikolwa byabwe, Peetero agamba, ‘balivumisa ekkubo ery’amazima.’ (2 Peetero 2:1, 2) Wadde kiri bwe kityo, Peetero awandiika, “tulina ekigambo kya bannabbi; mukola bulungi okukiraba ekyo, ng’ettabaaza eyakira mu kifo eky’ekizikiza, okutuusa obudde bwe bulikya emmunyeenye ekeesa obudde n’eyaka mu mitima gyammwe.”—2 Peetero 1:19; Zabbuli 119:105.
Baibuli etukubiriza okwekenneenya enzikiriza zaffe okulaba oba nga zikkiriziganya n’ekyo kyeyigiriza. (1 Yokaana 4:1) Obukadde n’obukadde bw’abantu abasoma magazini eno bakikakasizza nti okukola ekyo kyongedde ekigendererwa n’amakulu mu bulamu bwabwe. N’olwekyo, beera nga Ababeroya abagezi. ‘N’obwegendereza, weekenneenye Ebyawandiikibwa buli lunaku’ nga tonnasalawo kyakukkiriza. (Ebikolwa 17:11, NW) Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyamba okukola ekyo. Kya lwatu, ggwe weesalirawo ky’oyagala okukkiriza. Kyokka, kiba kya magezi okukakasa nti enzikiriza zo zeesigamiziddwa ku mazima agabikkuliddwa mu Kigambo kya Katonda, so si ku magezi n’okwegomba kw’abantu.—1 Abassesaloniika 2:13; 5:21.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6]
N’obwesige osobola okwesigamya enzikiriza zo ku Baibuli