Buulira Awatali Kuddirira
1 Ebiseera ebimu tuyinza okulowooza nti ekitundu kyaffe kibuuliddwamu nnyo naye nga tewali bibala bivaamu. Kyokka, waliwo ensonga ennungi ezandituleetedde okweyongera okubuulira mu kitundu ekyo.—Mat. 28:19, 20.
2 Olw’Okuwa Obujulirwa: Yesu yalagula nti okubuulira Obwakabaka kyandibadde kitundu kikulu nnyo eky’akabonero akandiraze nti tuli mu “mafundikira g’enteekateeka ey’ebintu eno” era nti omulimu guno gwandikoleddwa “okuba obujulirwa eri amawanga gonna.” (Mat. 24:3, 14, NW) Abantu bwe batulaba nga tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, kiwa obujulirwa obw’amaanyi. Nga tumaze okubuulira mu kitundu, abantu bayinza okutwogerako okumala essaawa nnyingi oba ennaku eziwerako, ne bwe kiba nti tebaawuliriza bubaka bwaffe. Bwe tutegeera ensonga lwaki twenyigira mu buweereza, kituyamba okweyongera okubuulira n’obunyiikivu. Tusanyusa nnyo Yakuwa bwe twenyigira mu kutuukiriza obunnabbi bwa Baibuli nga tuwa obujulirwa era nga tutuusa ku bantu obubaka obubalabula.—2 Bas. 1:6-9.
3 Kitwetaagisa Okweyongera Okuwa Obujulirwa: Olw’okuba abantu balina ebintu bingi ebibawugula era n’ebyo ebibamalako ebiseera byabwe, twetaaga okweyongera okufuba ennyo okubayigiriza amazima. Omukyala omu yakkiriza okukubaganya ebirowoozo ku Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa oluvannyuma lw’okukyalirwa buli wiiki okumala omwaka mulamba. Yayagala nnyo ebyo bye baamubuulira era n’akkiriza okuyiga Baibuli. Yatandika okujja mu nkuŋŋaana era nga wayiseewo ekiseera kitono yalaga nti ayagala okubatizibwa.
4 Embeera z’ensi zikyukakyuka buli kaseera, era n’abantu bakyuka. Bangi ku abo abaagaana okutuwuliriza mu biseera ebyayita, kati bayinza okuba nga baagala okuwuliriza obubaka bwaffe obuzzaamu amaanyi. Ne bwe tufunayo omuntu omu yekka akkiriza okuwuliriza obubaka bwaffe obw’Obwakabaka, okufuba kwaffe kuba tekugudde butaka.
5 Okwetooloola ensi yonna, abantu beeyongedde ‘okussa ebikkowe era n’okukaabira emizizo gyonna egikolebwa.’ (Eze. 9:4) Ebyo ebiva mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira biwa obukakafu nti abo abaagala obutuukirivu bakkiriza obubaka bw’Obwakabaka. (Is. 2:2, 3) N’olwekyo, ka tweyongere okubuulira awatali kuddirira nga ‘tutwala amawulire amalungi ag’ebintu ebirungi.’—Is. 52:7; Bik. 5:42.