Ekiseera eky’Okuliisibwa mu by’Omwoyo n’Okusanyuka
1. Yakuwa afaayo atya ku byetaago by’abaweereza be eby’eby’omwoyo?
1 Yakuwa afaayo nnyo ku byetaago by’abaweereza be eby’eby’omwoyo. Wadde ng’ensi yonna okutwalira awamu erumwa enjala ey’eby’omwoyo, ffe tuliisibwa bulungi nnyo. (Is. 65:13) Enkuŋŋaana za disitulikiti ezibaawo buli mwaka, y’emu ku ngeri Yakuwa mw’ayitira okutuliisa mu by’omwoyo. Otandise okukola enteekateeka ezinaakusobozesa okubaawo ennaku zonna essatu ez’Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olulina omutwe “Abakulemberwa Omwoyo gwa Katonda”? Ekijjulo ekiwoomu ennyo eky’eby’omwoyo kitegekeddwa.
2. Kiki ekizingirwa mu kweteekerateekera olukuŋŋaana lwa disitulikiti nga bukyali?
2 Teekateeka nga Bukyali: “Ebirowoozo eby’omunyiikivu bireeta bulungi bwereere.” (Nge. 21:5) N’olwekyo, bw’oba okola enteekateeka ezinaakusobozesa okubaawo ennaku zonna essatu ez’olukuŋŋaana lwa disitulikiti, tolonzalonza kusaba mukama wo akukkirize obutaba ku mulimu mu nnaku z’olukuŋŋaana. Bw’oba oneetaaga aw’okusula, omaze okukola enteekateeka? Era kyandibadde kirungi n’ojja n’eky’emisana kyo osobole okuliira awamu ne baganda bo mu kifo awanaabeera olukuŋŋaana. Kola enteekateeka ezinaakusobozesa okutuuka nga bukyali osobole okufuna aw’okutuula era n’okwenyigira mu kuyimba oluyimba olusooka ne mu kusaba okuggulawo.
3. Ngoye za ngeri ki ze tusaanidde okwambala?
3 Tusaanidde okukakasa nti engoye ze tunaayambala zisaanira. (1 Tim. 2:9, 10) Enkuŋŋaana za disitulikiti zituwa akakisa okuwa obujulirwa eri abantu b’omu kitundu. Bwe twambala mu ngeri esaanira era ne tuteekako bbaagi zaffe ez’olukuŋŋaana lwa disitulikiti, tuba ba njawulo ku bantu b’ensi era tuwa ekifaananyi ekirungi eri abo abatulaba.
4. Kiki ekinaatuyamba ffe n’ab’omu maka gaffe okuganyulwa mu bujjuvu mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti?
4 Wuliriza Bulungi: Tetwagala kusubwa mmere yonna ejja okugabulwa ku kijjulo kino eky’eby’omwoyo! (Nge. 22:17, 18) Bwe tugoberera mu Baibuli zaffe ng’ebyawandiikibwa bisomebwa era ne tubaako bye tuwandiika, kijja kutuyamba okussaayo omwoyo ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso. Mu biseera by’akawungeezi, tusobola okukozesa ebyo bye twawandiise okukubaganya ebirowoozo n’abalala ku ebyo ebyabadde mu lukuŋŋaana. Mu nkuŋŋaana za disitulikiti ezaakaggwa, kyetegerezeddwa nti abavubuka batuula wamu ne batandika okunyumya ng’olukuŋŋaana lugenda mu maaso oba ne baweereza abalala obubaka ku ssimu. Bwe tuba n’abaana, nga mw’otwalidde n’abatiini, kiba kirungi ne tutuula wamu nabo ng’amaka mu kifo ky’okubaleka okutuula bokka n’abaana abalala.
5. Tuyinza tutya okunyumirwa olukuŋŋaana lwa disitulikiti mu ngeri esingawo?
5 Nyumirwa Okubeera Awamu n’Ab’Oluganda: Tuwoomerwa nnyo ekijjulo ekirungi bwe tukiriira awamu ne mikwano gyaffe. (Nge. 15:17) Mu ngeri y’emu, tunyumirwa nnyo olukuŋŋaana lwa disitulikiti bwe tubeera awamu ne baganda baffe ne bannyinaffe. N’olwekyo, programu bw’eba nga tennatandika oba nga muli mu kiseera eky’okuwummulamu, nga kyandibadde kirungi nnyo n’onyumyako n’abalala! (Zab. 133:1) Ssentebe bw’atusaba okutuula mu bifo byaffe ng’obuyimba tebunnatandika, tusaanidde okulekera awo okunyumya era ne tutuula mu bifo byaffe.
6. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri gye tuyinza okuwaamu obujulirwa eri abantu b’omu kitundu ekirimu olukuŋŋaana lwa disitulikiti.
6 Kozesa Buli Kakisa Okuwa Obujulirwa: Enkuŋŋaana ennene zitera okutuwa akakisa okuwa obujulirwa. Bangi ku abo ababaawo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti bwe bagenda mu bifo ebiriirwamu emmere oluvannyuma lwa programu, abo abakola mu bifo ebyo awamu n’abantu abalala batera okubabuuza ebikwata ku mutwe oguba ku kabbaagi k’olukuŋŋaana lwa disitulikiti. Kino kiviiriddeko ab’oluganda abo okuwa obujulirwa ku mazima. Abamu ku abo abaaweebwa obujulirwa baayitibwa ku lukuŋŋaana era ne bajja.
7. Lwaki tusaanidde okubaawo mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti olujja?
7 Ab’oluganda bamaze ebiseera bingi nnyo nga bategeka olukuŋŋaana luno, ekifo we lunaabeera, ebitongole eby’enjawulo ebinaakozesebwa, awamu n’emboozi ezinaaweebwa. Byonna ebikoleddwa okusobola okutegeka ekijjulo kino eky’eby’omwoyo biraga nti Yakuwa afaayo nnyo ku bantu be. Ka ffenna tubeewo mu lukuŋŋaana luno era tuluganyulwemu mu bujjuvu! Bwe tunaakola bwe tutyo, okwawukana ku nsi, tujja ‘kuyimba ng’omutima gwaffe gusanyuse.’—Is. 65:14.
[Akabokusi aha rupapura 4]
Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti
◼ Essaawa za Programu: Buli lunaku, programu ejja kutandikanga ku ssaawa 3:20 ez’oku makya. Abantu bayinza okutandika okutuuka awanaaba olukuŋŋaana okuva ku ssaawa 2:00 ez’oku makya. Obuyimba obuggulawo bwe butandika, ffenna tusaanidde okutuula mu bifo byaffe kisobozese olukuŋŋaana okutandika mu ngeri entegeke obulungi. Ku Lwokutaano ne ku Lwomukaaga, programu ejja kufundikirwa ku ssaawa 10:55 ez’olweggulo ate ku Ssande efundikirwe ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo.
◼ Aw’Okusimba Ebidduka: Buli awanaabeera olukuŋŋaana wajja kubaawo ekifo ekirungi aw’okusimba ebidduka ku bwereere, era anaasooka okutuuka y’ajja okusooka okufiibwako. Bbaagi z’olukuŋŋaana lwa disitulikiti ze zijja okusinziirwako okukuwa ekifo w’onoosimba ekidduka kyo. Abo abalina obulemu ku mubiri era nga bandyagadde okusimba ebidduka byabwe okumpi n’awayingirirwa, bayinza okusaba abo abaaniriza abagenyi ne babayamba.
◼ Okukwata Ebifo eby’Okutuulamu: Abo bokka be watambudde nabo oba ab’omu maka go b’oyinza okukwatira ebifo.
◼ Eky’Emisana: Osabibwa okujja n’eby’okulya mu kifo ky’okugenda okubigula mu biseera eby’okuwummulamu. Oyinza okubissa mu kantu akatonotono akagya wansi w’entebbe yo. Eby’okuteekamu emmere ebinene ennyo, ebyatika, awamu n’ebitamiiza tebikkirizibwa mu lukuŋŋaana.
◼ Okuwaayo: Tusobola okulaga okusiima kwaffe nga tuwaayo kyeyagalire okuwagira omulimu gw’ensi yonna ogw’okubuulira nga tuli mu Kizimbe ky’Obwakabaka oba mu nkuŋŋaana ennene. Ceeke eziweebwayo okuwagira omulimu gw’ensi yonna ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, zirina kuweebwayo mu linnya lya The Registered Trustees of Christian Congregation of Jehovah’s Witnesses.
◼ Obubenje n’Ebizibu Ebigwawo Obugwi: Singa wabaawo omuntu afuna obulwadde obw’amangu ng’ali mu lukuŋŋaana, musabibwa okutuukirira omu ku abo abaaniriza abagenyi. Ow’oluganda oyo ajja kutegeeza Ekitongole Ekiwa Obujjanjabi Obusookerwako kisobozese omulwadde okufuna obuyambi. Ekitongole ekyo kijja kusalawo eky’okukola mu mbeera ng’eyo.
◼ Abatawulira Bulungi: Saba ab’oluganda bakuyambe okutuula okumpi n’omuzindaalo.
◼ Obuwoowo: Enkuŋŋaana ezimu zibeera munda mu bizimbe ebirimu ebyuma ebiyingiza empeewo. N’olwekyo, kyandibadde kirungi ne tuteekuba buwoowo buwunya nnyo obuyinza okuyisa obubi abalala.—1 Kol. 10:24.
◼ Foomu Ezikwata ku Baagala Okumanya Ebisingawo: Foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) esaanidde okujjuzibwamu bwe wabaawo omuntu yenna ayagala okumanya ebisingawo oluvannyuma lw’okubuulirwa embagirawo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti. Ababuulizi basaanidde okujja ne foomu emu oba bbiri ku lukuŋŋaana olwo. Foomu ezimaze okujjuzibwamu zisobola okuweebwayo mu Kitongole Ekikola ku Bitabo oba oyinza okuziwa omuwandiisi w’ekibiina kyo ng’ozzeeyo.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali 2005, lup. 6.
◼ Ebifo Awatundirwa Emmere: Weeyise mu ngeri eweesa Yakuwa ekitiibwa ng’oli mu bifo ng’ebyo. Mu bitundu bingi, kiba kya buntu bulamu okulekawo akasiimo, okusinziira ku ebyo ebiba bikukoleddwa.
◼ Wooteeri: (1) Saba ebisenge ebyo byokka bye munaakozesa, era abasulamu tebalina kusukka muwendo ogukkirizibwa. (2) Singa weesanga ng’ekisenge ky’osabye tojja kukikozesa, tegeerezaawo abo be kikwatako. (3) Akagaali akasitula emigugu kakozese lw’oba okeetaaga lwokka era okazzeeyo mangu n’abalala basobole okukakozesa. (4) Tofumbira mu bisenge bwe kiba nga tekkirizibwa. (5) Oyo alabirira ekisenge mw’osula mulekerewo akasiimo. (6) Fuba okwoleka ebibala eby’omwoyo ng’okolagana n’abo abakola mu wooteeri. (7) Singa ofuna ekizibu mu kisenge kya wooteeri ekiba kikuweereddwa, kakasa nti otegeeza Ekitongole Ekikola ku By’Ensula ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti.