Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Jjuuni: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? era tufube nnyo okufuna be tuyigiriza Baibuli. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino wammanga ez’empapula-32 eyinza okugabibwa: A Book for All People, A Satisfying Life—How to Attain It, Beera Bulindaala!, Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, “Look! I Am Making All Things New,” Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Omwagalwa Wo bw’Afa, Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, ne Will There Ever Be a World Without War?, era ne brocuwa endala zonna eziri mu nnimi ezoogerwa mu kitundu kyammwe. Ssebutemba: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Essira lijja kuteekebwa ku kutandika okuyigiriza abantu Baibuli ku mulundi gwe tuba tusoose okubakyalira. Bwe kiba nti akatabo ako abantu bakalina, bannyonnyole engeri gye kayinza okubaganyulamu ng’obalaga mu bufunze ngeri gye tukakozesaamu okuyigiriza abantu Baibuli.
◼ Okuva bwe kiri nti omwezi gwa Agusito gulimu wiikendi ttaano, gwandibadde mwezi mulungi okukoleramu nga payoniya omuwagizi.
◼ Oyo aba alondeddwa omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde, asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina eby’omwezi gwa Maaki, Apuli, ne Maayi. Nga kino kimaze okukolebwa, mutegeeze ekibiina ebyo ebinaaba bivuddemu oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’eby’embalirira eddako.—Laba obulagirizi obuli mu foomu eyitibwa Instructions for Congregation Accounting (S-27).
◼ Kyandibadde kirungi okuwaayo ku ofiisi y’ettabi okusaba kw’abo abaagala okuweereza nga ba payoniya aba bulijjo ng’ebulayo ennaku ezitakka wansi wa 30 ng’olunaku lwe baagala okutandikirako terunnatuuka. Omuwandiisi w’ekibiina asaanidde okwetegereza foomu okukakasa nti zijjuziddwamu bulungi. Bwe kiba nti oyo aba asaba okukola nga payoniya owa bulijjo tasobola kujjukira lunaku lwe yabatirizibwako, asobola okuluteebereza era n’abaako w’aluwandiika. Omuwandiisi alina okuwandiika olunaku luno ku kaadi eyitibwa Congregation’s Publisher Record (S-21) card.
◼ Okuva mu Jjanwali 2008, Watchtower ne Awake! ez’okuwuliriza obuwuliriza eziri mu Lungereza zaatekebwa ku mukutu gwa Internet www.jw.org. Bangi baagala okufuna magazini ezo ez’okuwuliriza obuwuliriza okuva ku mukutu ogwo, kubanga zo zisobola okufunibwa nga CD ne MP3 tezinnaweerezebwa mu bibiina. Buli lw’oggya magazini ezo ku mukutu ogwo, wabaawo omutemwa gw’essente sosayate gw’eggibwako. Wadde kiri kityo, okuteeka magazini zino ku mukutu gwa Internet, kikekkereza ssente okusinga okukola CD n’okuziweereza mu bibiina. N’olwekyo ababuulizi abafuna magazini ez’okuwuliriza obuwuliriza okuva ku mukutu gwa Internet, bakubirizibwa okutuukirira omuweereza akola ku magazini asazeemu okusaba kwabwe okwa CD oba MP3. Magazini ez’okuwuliriza obuwuliriza eziri mu nnimi endala nazo zijja kuteekebwa ku mukutu gwa Internet www.jw.org. oluvannyuma lw’ekiseera.