Tubuulira Abalala Essuubi Lyaffe ery’Obwakabaka
1 Mu nnaku zino ez’oluvannyuma ez’okulaba ennaku, abantu bangi mu nsi tebalina ssuubi. (Bef. 2:12) Abalala beesiga bya bugagga, bafuzi b’ensi, sayansi, n’ebintu ebirala bingi. Nga tuli basanyufu nnyo okuba n’essuubi eryannamaddala ery’ebiseera eby’omu maaso, essuubi eriringa “essika ery’obulamu eritabuusibwabuusibwa era erinywevu”!—Beb. 6:19.
2 Wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda, ensi ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda. Abaagalwa baffe abaafa bajja kuzuukizibwa. (Bik. 24:15) Obwavu, obutali bwenkanya, obulwadde, obukadde, n’okufa bijja kuba biweddewo. (Zab. 9:18; Mat. 12:20, 21; Kub. 21:3, 4) Bino bye bimu ku bisuubizo bya Yakuwa ebinaatera okutuukirizibwa. Ku ebyo byonna Katonda by’asuubizza, kiki ky’osinga okwesunga?
3 Langirira Amawulire Amalungi: Tetusaanidde kusirikira ssuubi lyaffe ery’Obwakabaka. Okwagala kwe tulina eri Yakuwa ne muliraanwa waffe kutukubiriza okukoppa Yesu era ‘n’okubuulira abaavu ebigambo ebirungi, okutendera abanyage okuteebwa n’okuzibula abazibe b’amaaso, okubata ababetentebwa.’ (Luk. 4:18) Omutume Pawulo yabuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi mu butale era ne mu bifo byonna gye yasanganga abantu. (Bik. 18:5) Bwe tukoppa ekyokulabirako kye eky’okubuulira n’obunyiikivu, “emitawaana gy’ensi n’obulimba bw’obugagga” tebijja kunafuya ssuubi lyaffe.—Mak. 4:19.
4 Essuubi lyaffe ery’Obwakabaka terijja kuddirira singa tusanga abantu abateefiirayo, abatasiima bubaka bw’Obwakabaka, oba abo abatuziyiza. ‘Tunyweza okwatulanga essuubi lyaffe obutasagasagana.’ (Beb. 10:23) ‘Amawulire amalungi tegatukwasa nsonyi.’ (Bar. 1:16) Oboolyawo okukkiriza okw’amaanyi kwe twoleka awamu n’obugumiikiriza bwaffe bijja kuviirako abamu okuwuliriza.
5 Wadde nga kisaanira okwogera ku mbeera y’ensi eno eyeeyongera okwonooneka era etuukiriza obunnabbi bwa Baibuli, tetuli babuulizi ba katyabaga. Mu kifo ky’ekyo, tubuulira abalala essuubi lyaffe ery’Obwakabaka—amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Ka tubuulire amawulire gano amalungi n’obugumu era n’obunyiikivu ‘tusobole okukakasiza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero.’—Beb. 6:11.