Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Noovemba 12
Oluyimba 31
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 4 oba ebirala ebituukana n’ekitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Okitobba 15 ne Awake! eya Okitobba. Mu buli kyakulabirako, magazini zombi zisaanidde okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako.
Ddak. 15: “Effeeza Yange ne Zaabu Yange.” Kwogera kw’omukadde nga kwesigamiziddwa ku Watchtower eya Noovemba 1, 2007, olupapula 17. Bw’eba nga teriiwo, kozesa ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Okukolera Awamu Omulimu gw’Okuzimba Tusobole Okutendereza Katonda,” ekiri mu Watchtower, eya Noovemba 1, 2006, olupapula 17-21.
Ddak. 20:“Mutambule ng’Abalina Amagezi.”a Ebiseera bwe bibaawo, saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiweereddwa.
Oluyimba 45.
Wiiki Etandika Noovemba 19
Oluyimba 29
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase. Bategeeze ebitabo eby’okugabibwa mu Ddesemba, era olageyo n’ekyokulabirako kimu.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: “Tolonzalonza!”b Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 5, Saba ababuulizi abalina be baayigiriza Baibuli era ne bajja mu mazima, babeeko bye boogera. Okuyigiriza omuyizi wa Baibuli akulaakulana kireeta kitya essanyu? Eky’okuddamu kimu oba bibiri biyinza okutegekebwa nga bukyali.
Oluyimba 15.
Wiiki Etandika Noovemba 26
Oluyimba 76
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe eza Noovemba. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 4 oba ebirala ebituukana n’ekitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Noovemba 1 ne Awake! eya Noovemba.
Ddak. 15: Osobola Okugaziwa mu Kwagala Kwo? Kwogera kw’omukadde nga kwesigamiziddwa ku Watchtower, eya Janwali 1, 2007, olupapula 9-11.
Ddak. 20: Abavubuka—Muyinza Mutya Okutendereza Yakuwa? Kukubaganya birowoozo okwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 2005, olupapula 20-21, akatundu 15-19, nga mukozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 18, saba abavubuka boogere ku ngeri gye baasobola okuwa obujjulilrwa ku ssomero eri bayizi bannaabwe oba abasomesa baabwe.
Oluyimba 68.
Wiiki Etandika Ddesemba 3
Oluyimba 34
Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Mukubaganye Ebirowoozo ku Kasanduuko k’Ebibuuzo.
Ddak. 15: Essomero Eritendeka Abo Abaganyula Abantu mu Nsi Yonna. Kwogera okwesigamiziddwa ku Watchtower eya Noovemba 15, 2006, olupapula 10-13. Mu bufunze, buuza ebibuuzo abakadde oba abaweereza abali mu kibiina kyammwe, abaafuna okutendekebwa mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza. Essomero lino lyabayamba litya okuba ababuulizi, abasumba, n’abayigiriza abalungi? Kubiriza ab’oluganda abalina ebisaanyizo okweteerewo ekiruubirwa eky’okugenda mu ssomero eryo.
Ddak. 15: “Tubuulira Abalala Essuubi Lyaffe ery’Obwakabaka.”* Ebiseera bwe bibaawo, saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiweereddwa.
Oluyimba 59.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.