LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 11/07 lup. 1
  • Mutambule ng’Abalina Amagezi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Mutambule ng’Abalina Amagezi
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Laba Ebirala
  • Ennimiro Zituuse Okukungula
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Weenyigire mu Bujjuvu mu Makungula ag’eby’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Tuli Basanyufu Okuweereza Yakuwa n’Obunyiikivu!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • “Mubeere nga Mutegeera Bulungi, Mubeere Bulindaala!”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 11/07 lup. 1

Mutambule ng’Abalina Amagezi

1 Yesu bwe yagamba abasajja abana abavubi okumugoberera, ‘amangu ago baamugoberera.’ (Mat. 4:18-22) Mu ngeri y’emu, Sawulo ow’e Taluso bwe yafuuka Omukristaayo era n’oluvannyuma n’addamu okulaba, ‘amangu ago yatandika okubuulira Yesu mu makuŋŋaaniro.’ (Bik. 9:20) Ebiseera byo bigenda; era kasita bigenda, biba tebikyadda nate. Eno y’ensonga lwaki kikulu nnyo ‘okutambula ng’abalina amagezi’ mu ngeri gye tukozesamu ebiseera byaffe.​—Bef. 5:15, 16.

2 Ebigwaawo Obugwi: Omukisa gwe tulina leero ogw’okuweereza Yakuwa tuyinza obutaba nagwo enkya. (Yak. 4:14) Tewali n’omu ku ffe atayinza kutuukibwako mitawaana ‘egigwawo obugwi.’ (Mub. 9:11) Okugatta ku ekyo, ffenna tukula, era “ennaku embi” ezibaawo mu bukadde ezitukugira okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu, tetusobola kuzeewala mu nteekateeka y’ebintu eno. (Mub. 12:1) N’olwekyo, si kya magezi okulonzalonza okwewaayo eri Katonda oba okulinda okutuusa ng’embeera ziteredde ne tulyoka tugaziya ku buweereza bwaffe. (Luk. 9:59-62) Olw’okuba Ibulayimu yakozesa ebiseera bye n’amagezi era ne yeemalira ku Yakuwa, yafuna emirembe mu biseera bye eby’obukadde, n’afa “nga mukadde emyaka gye nga gituukiridde.”​—Lub. 25:8.

3 Ebiseera Biyimpawadde: Naffe twagala okukozesa ebiseera byaffe n’amagezi kubanga “ebiro biyimpawadde.” (1 Kol. 7:29-31) Mu kiseera ekitali kya wala enteekateeka y’ebintu eno ejja kugwaawo. Enkizo gye tulina ey’okwenyigira mu mulimu guno omukulu ogw’okukuŋŋaanya abo abalinga endiga mu kiseera kino ‘eky’okukunguliramu eby’ensi’ ejja kukoma. (Kub. 14:15) Tusaanidde okwegendereza ennyo tuleme kukkiriza bintu ebyeraliikiriza mu bulamu okutumalako ebiseera bye twandikozesezza mu buweereza bwaffe. (Luk. 21:34, 35) Nga kiriba kya ssanyu nnyo okukijjukira nti omulimu gw’amakungula twagukola n’obunyiikivu!

4 Tuteekwa okuba obulindaala tuleme okusubwa enkizo ennungi ennyo ez’obuweereza eziyinza okutuweebwa. Ka tube bamalirivu okukola kyonna kye tusobola okuweereza Yakuwa “okutuusa ekiseera nga kikyaliwo ekiyitibwa ekya leero.” (Beb. 3:13) Bwe tukola bwe tutyo, tujja kulaga nti ddala tulina amagezi, kubanga “akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”​—1 Yok. 2:17.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza