Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Okitobba: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Abantu bwe baagala okumanya ebisingawo, bawe tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? era okubaganye nabo ebirowoozo ng’olina ekigendererwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli. Akatabo Okumanya nako kayinza okugabibwa. Noovemba: Tujja kugaba ekitabo Learn From the Great Teacher. Abantu bwe bagamba nti tebalina baana, bawe brocuwa Beera Bulindaala! Ddesemba: Tujja kugaba ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived. Oba tuyinza okugaba akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa oba Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka.
◼ Okuva bwe kiri nti omwezi gwa Ddesemba gulimu wiikendi ttaano, kyandibadde kirungi okuweereza nga payoniya omuwagizi.
◼ Tujja kukubaganya ebirowoozo ku vidiyo eyitibwa Transfusion-Alternative Health Care—Meeting Patient Needs and Rights mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olunaabaawo mu Jjanwali. Omuntu yenna ayagala okufuna vidiyo eyo, asaanidde okugiragiriza amangu ddala nga bwe kisoboka okuyitira mu kibiina.
◼ “Enteekateeka y’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda mu 2008” esangibwa ku lupapula olw’omunda olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ak’omwezi guno, tusaanidde okugitereka obulungi kubanga ejja kukozesebwa mu mwaka gwonna ogwa 2008.
◼ Musabibwa okwetegereza nti ow’oluganda akubiriza ekitundu ekisembayo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza y’asaanidde okwanjula oluyimba olufundikira. Oluvannyuma lw’okuyimba, ye kennyini oba ow’oluganda omulala alina ebisaanyizo eyategeezeddwa nga bukyali, ajja kufundikira n’okusaba.