Programu Y’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda Mu 2008
Endagiriro
Mu 2008, eno ye nteekateeka ejja okugobererwa mu kukubiriza essomero ly’Omulimu gwa Katonda.
EBITABO EBY’OKUKOZESA: New World Translation of the Holy Scriptures [bi12], Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda [be-LU], “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial” (Ekya 1990) [si], ne Reasoning From the Scriptures (aka 1989) [rs].
Essomero lirina okutandika KU SSAAWA ZENNYINI n’okuyimba, okusaba, okwaniriza abazze, n’oluvannyuma ne lyeyongera mu maaso nga bwe kiragibwa wammanga. Buli luvannyuma lwa kitundu, akubiriza essomero ajja kwanjula ekitundu ekiddako.
ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU: Ddakiika 5. Omulabirizi w’essomero, oyo amuyambako, oba omukadde omulala alina ebisaanyizo ajja kunnyonnyola engeri ennungi ey’okwogeramu okuva mu kitabo Essomero ly’Omulimu. (Mu bibiina omuli abakadde abatono, abaweereza mu kibiina abalina ebisaanyizo bayinza okukozesebwa.)
EMBOOZI 1: Ddakiika 10. Erina kuweebwa mukadde alina ebisaanyizo oba omuweereza, era ejja kuggibwa mu Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, oba “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial.” Ya kuweebwa mu ddakiika 10 nga temuli kubuuza bibuuzo. Ekigendererwa si kwe kwogera obwogezi ku ebyo ebiri mu kitundu omuggiddwa emboozi, wabula okussa essira ku muganyulo oguli mu ebyo ebyogerwako n’okuggumiza ebyo ebinaasinga okuyamba ekibiina. Omutwe oguweereddwa gwe gulina okukozesebwa. Kisuubirwa nti ab’oluganda abawa emboozi eno bajja kwegendereza baleme kusussa mu kiseera ekibaweereddwa. Bwe kiba kyetaagisa okubawabula, kiyinza okukolebwa mu kyama.
OKUNOKOLAYO EBIMU KU BIBADDE MU KUSOMA BAIBULI: Ddakiika 10. Mu ddakiika ettaano ezisooka, omukadde oba omuweereza alina ebisaanyizo asaanidde okukwataganya ebiri mu ssuula ezisomeddwa wiiki eyo n’ebyetaago by’ekibiina. Asobola okwogera ku lunyiriri lwonna lw’aba ayagadde ku ezo eziri mu ssuula ezisomeddwa wiiki eyo. Talina kuwumbawumbako buwumbi biri mu kitundu ekisomeddwa. Ekigendererwa ekikulu kwe kuyamba abawuliriza okulaba engeri ebisomeddwa gye bisobola okubaganyula. Mu kukola ekyo, omwogezi alina okukakasa nti tasussa ddakiika ttaano. Alina okukakasa nti alekayo eddakiika ttaano abawuliriza nabo babeeko bye boogera. Asaanidde okusaba abawuliriza boogere mu bufunze (obutasukka butikitiki 30) ku ebyo ebyabakutteko nga basoma Baibuli n’engeri gye byabaganyudde. Oluvannyuma akubiriza essomero ajja kusaba abayizi bagende gye banaaweera emboozi zaabwe.
EMBOOZI 2: Ddakiika 4 oba n’obutawera. Ekitundu kino kirina kuweebwa wa luganda. Omuyizi alina kusoma busomi ebyo ebimuweereddwa awatali nnyanjula oba kufundikira. Akubiriza essomero alina okufaayo ennyo okuyamba abayizi okusoma nga balaga nti bategeera bye basoma, nga tebasikattira, nga baggumiza we kisaanira, nga bakyusakyusa mu ddoboozi, nga basiriikiriramu we kyetaagisiza era nga boogera nga bwe boogera bulijjo.
EMBOOZI 3: Ddakiika 5. Ya kuweebwa mwannyinaffe. Abayizi abaweebwa emboozi eno bategeezebwa embeera gye basaanidde okwogereramu oba bo bennyini beerondera emu ku ezo eziri ku lupapula 82 mu kitabo Essomero ly’Omulimu. Omuyizi alina okukozesa omutwe ogumuweereddwa era n’okugutuukanya n’embeera yonna esobola okubaawo mu buweereza bw’ennimiro mu kitundu kyammwe. Omuyizi bw’atalagibwa kitabo mw’anaggya kya kwogerako, kijja kumwetaagisa okunoonyereza mu bitabo byaffe. Abayizi abapya balina okuweebwa emboozi eziriko aw’okuggya eby’okwogerako. Akubiriza essomero ajja kwetegereza nnyo engeri omuyizi gy’asengekamu by’ayogera n’engeri gy’ayambamu gw’ayogera naye okutegeera Ebyawandiikibwa n’ensonga enkulu. Akubiriza essomero ajja kumulondera omuyambi omu.
EMBOOZI 4: Ddakiika 5. Omuyizi asaanidde okukozesa omutwe ogumuweereddwa. Omuyizi bw’atalagibwa wa kuggya bya kwogerako, alina okunoonyereza mu bitabo byaffe. Emboozi eno bw’eweebwa ow’oluganda, alina kwogera butereevu eri abamuwuliriza. Bw’aba mwannyinaffe, aba alina kugoberera enkola eragiddwa ku Mboozi 3. Akubiriza essomero ayinza okuwa ow’oluganda Emboozi 4 buli lw’alaba nga kyetaagisa. Weetegereze nti emitwe egiriko akamunyeenye girina kuweebwa baluganda bokka. Bwe kiba nga mu kibiina kyammwe mulina abakadde n’abaweereza abawera, emitwe egiriko akamunyeenye gyandibadde giweebwa mukadde oba omuweereza bwe kiba kisoboka.
OKUWABULA: Ddakiika 1. Akubiriza essomero tajja kusooka kwogera ssomo agenda okuwa emboozi ly’akolako. Oluvannyuma lw’Emboozi 2, 3, ne 4, akubiriza essomero ajja kwogera ku birungi ebibadde mu mboozi eyo. Ekigendererwa kye si kwebaza bwebaza muyizi, wabula okulaga ensonga lwaki akoze bulungi. Okusinziira ku bwetaavu bwa buli muyizi, akubiriza essomero ayinza okwongera okuwabula omuyizi ng’olukuŋŋaana luwedde oba mu kiseera ekirala kyonna.
EBISEERA: Buli omu alina okukuuma ebiseera nga mw’otwalidde n’awabula. Abo abaweebwa Emboozi 2 okutuuka ku 4 balina okuyimirizibwa mu ngeri ey’amagezi ekiseera ekibaweereddwa bwe kiba nga kiweddeko. Singa ow’oluganda ayogera ku ngeri ennungi ey’okwogeramu, oba oyo awa Emboozi 1, n’oyo anokolayo ebimu ku ebyo ebibadde mu kusoma Baibuli asussa mu biseera, asaanidde okuwabulwa mu kyama. Bonna balina okufuba okukuuma obudde. Olukuŋŋaana lwonna lulina okutwala eddakiika 45, nga togasseeko budde bwa luyimba n’okusaba.
FOOMU OKUWABULIRWA: Eri mu kitabo.
AYAMBA KU OYO AKUBIRIZA ESSOMERO: Akakiiko k’abakadde kayinza okulondayo omukadde omulala alina obumanyirivu okuyamba ku oyo akubiriza essomero. Ekibiina bwe kiba n’abakadde abawerako, buli mwaka obuvunaanyizibwa buno buyinza okuweebwa omukadde omulala. Obuvunaanyizibwa bw’omuyambi ono kwe kuwabula mu kyama ab’oluganda abawa Emboozi 1 n’abo abanokolayo ebimu ku ebyo ebiba bisomeddwa mu Baibuli. Tekiri nti bakadde banne oba abaweereza buli lwe bawa emboozi alina okubawabula.
OKWEJJUKANYA: Ddakiika 30. Buli luvannyuma lwa myezi ebiri, omulabirizi w’essomero ajja kukubiriza okwejjukanya. Kubaawo oluvannyuma lw’ekitundu ekikwata ku ngeri ennungi ey’okwogeramu n’eky’okunokolayo ebimu ku bisomeddwa mu Baibuli nga bwe kiragiddwa waggulu. Eby’okwejjukanya bijja kwesigamizibwa ku by’okuyiga ebibadde mu ssomero mu myezi ebiri egiyise nga mulimu n’ebya wiiki eyo yennyini omuli okwejjukanya. Singa ekibiina kyammwe kiba n’olukuŋŋaana lw’ekitundu mu wiiki erimu okwejjukanya, okwejjukanya okwo (n’ebitundu ebiri ku programu eya wiiki eyo) kuba kulina kubaawo mu wiiki eddako, ate byo ebitundu ebyandibadde ku programu wiiki eddako ne biweebwa ku lukuŋŋaana lw’ekitundu. Omulabirizi w’ekitundu bw’aba anaakyalira ekibiina kyammwe mu wiiki erimu okwejjukanya, oluyimba, ekitundu ekikwata ku ngeri ennungi ey’okwogeramu, n’eky’okunokolayo ebimu ku bisomeddwa mu Baibuli biba nga bwe biragiddwa ku programu. Kyokka, emboozi 1 (ng’eno y’eddirira eyo ekwata ku ngeri ennungi ey’okwogeramu) erina kuggibwa ku programu ya wiiki eddako. Kati olwo programu y’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda eya wiiki eddako y’eba ejja okubeeramu okwejjukanya, oluvannyuma lw’ekitundu ekikwata ku ngeri ennungi ey’okwogeramu n’eky’okunokolayo ebimu ku bisomeddwa mu Baibuli.
Programu
Jan. 7 Okusoma Baibuli: Matayo 1-6 Oluyimba 29
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okunnyonnyola (be-LU lup. 228 kat. 2-3)
Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Matayo (si lup. 175-7 kat. 1-10)
Na. 2: Matayo 5:1-20
Na. 3: Lwaki Abantu Bafa? (rs lup. 98-9 kat. 6)
Na. 4: Engeri Omwoyo Omutukuvu Gye Gutuyambamu
Jan. 14 Okusoma Baibuli: Matayo 7-11 Oluyimba 10
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Engeri Omutima Gye Guzingirwamu (be-LU lup. 228 kat. 4–lup. 229 kat. 1)
Na. 1: Funa Essanyu mu Kusoma Ekigambo kya Katonda (be-LU lup. 9 kat. 1-5)
Na. 2: Matayo 10:1-23
Na. 3: Lwaki kya Muganyulo Okuba Omwesigwa?
Na. 4: Abafu Bali Ludda Wa, era Bali mu Mbeera Ki? (rs lup. 99 kat. 7–lup. 101 kat. 4)
Jan. 21 Okusoma Baibuli: Matayo 12-15 Oluyimba 55
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ebiganyula Abakuwuliriza (be-LU lup. 230 kat. 1-6)
Na. 1: Soma Baibuli Buli Lunaku (be-LU lup. 10 kat. 1–lup. 12 kat. 4)
Na. 2: Matayo 14:1-22
Na. 3: Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebenyigira mu Bulombolombo Obukolebwa ng’Omuntu Afudde? (rs lup. 102 kat. 1–lup. 103 kat. 2)
Na. 4: Omulabe wa Kristo y’Ani oba Kye Ki?
Jan. 28 Okusoma Baibuli: Matayo 16-21 Oluyimba 54
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Noonyereza Owe Emboozi Eganyula (be-LU lup. 231 ¶1-3)
Na. 1: “Ssaayo Omwoyo ku Ngeri gy’Owulirizaamu” (be-LU lup. 13 kat. 1–lup. 14 kat. 5)
Na. 2: Matayo 17:1-20
Na. 3: By’Oyinza Okuddamu Oyo Alina Endowooza Enkyamu ku Kufa (rs lup. 103 kat. 3–lup. 104 kat. 1)
Na. 4: Ebintu Abakristaayo bye Batwala Okuba Ebitukuvu
Feb. 4 Okusoma Baibuli: Matayo 22-25 Oluyimba 64
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okunnyonnyola Ebyawandiikibwa (be-LU lup. 231 kat. 4-5)
Na. 1: Okuwuliriza mu Nkuŋŋaana z’Ekibiina n’Enkuŋŋaana Ennene (be-LU lup. 14 kat. 5–lup. 16 kat. 5)
Na. 2: Matayo 23:1-24
Na. 3: Obulamu Obutaggwaawo Tebujja Kututama
Na. 4: Ebirooto Ebyava eri Katonda n’Ebyo Ebitava gy’Ali (rs lup. 104-6 kat. 3)
Feb. 11 Okusoma Baibuli: Matayo 26-28 Oluyimba 12
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okunnyonnyola Amakulu g’Ebigambo (be-LU lup. 232 kat. 1)
Na. 1: Ekitabo kya Matayo—Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 180-1 kat. 29-33)
Na. 2: Matayo 27:1-22
Na. 3: Lwaki Okuba n’Okukkiriza Tekitegeeza Kukkiriza Bukkiriza nti Katonda gy’Ali?
Na. 4: Lwaki Abakristaayo Beewala Ebiragalalagala? (rs lup. 106-8 kat. 1)
Feb. 18 Okusoma Baibuli: Makko 1-4 Oluyimba 65
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okunnyonnyola Obulungi Ebyawandiikibwa (be-LU lup. 232 kat. 2-4)
Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Makko (si lup. 181-3 kat. 1-11)
Na. 2: Makko 2:1-17
Na. 3: Ensonga Lwaki Abakristaayo Tebakozesa Njaga (rs lup. 108 kat. 2–lup. 109 kat. 2)
Na. 4: Engeri Okwagala gye Kutusobozesa Okuba Abavumu
Feb. 25 Okusoma Baibuli: Makko 5-8 Oluyimba 33
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okulonda Ebinaaganyula Abakuwuliriza (be-LU lup. 232 kat. 5-lup. 233 kat. 4)
Okwejjukanya
Mak. 3 Okusoma Baibuli: Makko 9-12 Oluyimba 87
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Ebikuweereddwa (be-LU lup. 234 kat. 1–lup. 235 kat. 3)
Na. 1: Osobola Okwongera ku Busobozi Bwo obw’Okujjukira (be-LU lup. 17 kat. 1–lup. 19 kat. 1)
Na. 2: Makko 11:1-18
Na. 3: Ensonga Lwaki Katonda Tasobola Kulimba
Na. 4: Lwaki Abakristaayo Tebanywa Sigala? (rs lup. 109 kat. 3–lup. 111 kat. 3)
Mak. 10 Okusoma Baibuli: Makko 13-16 Oluyimba 40
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Obulungi Ebibuuzo (be-LU lup. 236 kat. 1-5)
Na. 1: Ekitabo kya Makko—Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 186 kat. 31-3)
Na. 2: Makko 14:1-21
Na. 3: Oyinza Otya Okulekayo Emize Emibi? (rs lup. 111 kat. 4–lup. 112 kat. 3)
Na. 4: Ensonga Lwaki ‘Obusungu Tebuleetera Muntu Kukola bya Butuukirivu’ (Yak. 1:20)
Mak. 17 Okusoma Baibuli: Lukka 1-3 Oluyimba 6
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Ebibuuzo Okwanjula Ensonga Enkulu (be-LU lup. 237 kat. 1-2)
Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Lukka (si lup. 187-8 kat. 1-9)
Na. 2: Lukka 1:1-23
Na. 3: Lwaki ‘Okukkiriza Awatali Bikolwa Tekuliiko kye Kugasa’ (Yak. 2:20)
Na. 4: Amawanga Tegajja Kulemesa Kigendererwa kya Katonda eri Ensi (rs lup. 112-13 kat. 5)
Mak. 24 Okusoma Baibuli: Lukka 4-6 Oluyimba 67
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Ebibuuzo Okunnyonnyola Obulungi Ensonga (be-LU lup. 237 kat. 3–lup. 238 kat. 2)
Na. 1: Engeri Omwoyo Omutukuvu gye Gutuyamba Okujjukira (be-LU lup. 19 kat. 2–lup. 20 kat. 3)
Na. 2: Lukka 4:1-21
Na. 3: Yakuwa Alizikiriza Ensi ng’Akozesa Omuliro? (rs lup. 113 kat. 6–lup. 115 kat. 1)
Na. 4: Okutya Katonda Kusobola Okutuyamba Obutoonona
Mak. 31 Okusoma Baibuli: Lukka 7-9 Oluyimba 30
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Ebibuuzo Okumanya Ekiri ku Mutima gw’Omuntu (be-LU lup. 238 kat. 3-5)
Na. 1: Lwaki Wandinyiikiridde Okusoma? (be-LU lup. 21 kat. 1–lup. 23 kat. 3)
Na. 2: Lukka 7:1-17
Na. 3: Ebitukakasa nti Katonda Atwagala era Ayagala Tube Basanyufu
Na. 4: Ab’omu Yerusaalemi Ekiggya Tebajja Kukomawo ku Nsi Oluvannyuma lw’Ababi Okuzikirizibwa (rs lup. 115 kat. 2–lup. 116 kat. 1)
Apu. 7 Okusoma Baibuli: Lukka 10-12 Oluyimba 16
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Ebibuuzo Okuggumiza (be-LU lup. 239 kat. 1-2)
Na. 1: Engeri gy’Oyinza Okunyiikiriramu Okusoma (be-LU lup. 23 kat. 4–lup. 26 kat. 5)
Na. 2: Lukka 11:37-54
Na. 3: Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi Kyakyuka? (rs lup. 116 kat. 2–lup. 117 kat. 2)
Na. 4: Makulu Ki Agali mu Okubikkulirwa 17:17?
Apu. 14 Okusoma Baibuli: Lukka 13-17 Oluyimba 39
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Ebibuuzo Okwanika Endowooza Enkyamu (be-LU lup. 239 kat. 3-5)
Na. 1: Engeri y’Okweyigirizaamu (be-LU lup. 27 kat. 1–lup. 31 kat. 2)
Na. 2: Lukka 16:1-15
Na. 3: Etteeka lya Katonda ery’Okuleka mu Nnimiro ku Bikungulwa Lituyigiriza Ki? (Leev. 19:9, 10)
Na. 4: Tusobola Tutya Okuzzaamu Abalwadde Amaanyi? (rs lup. 117-18 kat. 1)
Apu. 21 Okusoma Baibuli: Lukka 18-21 Oluyimba 23
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okugeraageranya okw’Omugaso ng’Oyigiriza (be-LU lup. 240 kat. 1–lup. 241 kat. 2)
Na. 1: Ekitabo kya Lukka—Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 192-3 kat. 30-5)
Na. 2: Lukka 18:1-17
Na. 3: Tuyinza Tutya Okuzzaamu Amaanyi Abantu Abafiiriddwa? (rs lup. 118 kat. 2-6)
Na. 4: Kitegeeza Ki ‘Obuteemulugunya’? (Baf. 2:14)
Apu. 28 Okusoma Baibuli: Lukka 22-24 Oluyimba 100
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Ebyokulabirako (be-LU lup. 241 kat. 2-lup. 242 kat. 1)
Okwejjukanya
May. 5 Okusoma Baibuli: Yokaana 1-4 Oluyimba 70
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ebyokulabirako Ebiri mu Byawandiikibwa (be-LU lup. 242 kat. 2-3)
Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Yokaana (si lup. 193-5 kat. 1-9)
Na. 2: Yokaana 3:1-21
Na. 3: Kiki Kye Tuyigira ku Dawudi Obutakkiriza Kabaka Sawulo Kuttibwa?
Na. 4: Okuzzaamu Amaanyi Abo Abayigganyizibwa olw’Okukola Katonda by’Ayagala (rs lup. 118 kat. 7–lup. 119 kat. 4)
May. 12 Okusoma Baibuli: Yokaana 5-7 Oluyimba 17
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Kinaategeerekeka? (be-LU lup. 242 kat. 4–lup. 243 kat. 1)
Na. 1: Kya Muganyulo Okweyigiriza (be-LU lup. 31 kat. 3–lup. 32 kat. 4)
Na. 2: Yokaana 6:1-21
Na. 3: Baibuli By’Etubuulira ku Ananiya ne Safira Tubiyigirako Ki?
Na. 4: Oyinza Otya Okugumya Abaweddemu Amaanyi olw’Ebikolwa eby’Obutali Bwenkanya? (rs lup. 119 kat. 5–lup. 120 kat. 2)
May. 19 Okusoma Baibuli: Yokaana 8-11 Oluyimba 31
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ebyokulabirako Okuva mu Bintu Ebimanyiddwa (be-LU lup. 244 kat. 1-2)
Na. 1: Okunoonyereza nga Weeyambisa Baibuli (be-LU lup. 33 kat. 1–lup. 35 kat. 2)
Na. 2: Yokaana 11:38-57
Na. 3: Abanyigirizibwa Ennyo Embeera y’eby’Enfuna Bayinza Batya Okuzzibwamu Amaanyi? (rs lup. 120 kat. 3-7)
Na. 4: Lwaki Etteeka ery’Ekkumi Lyassibwawo ng’Ate Kyali Tekisoboka Kumanyika ng’Omuntu Alimenye?
May. 26 Okusoma Baibuli: Yokaana 12-16 Oluyimba 1
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ebyokulabirako Ebituukana n’Abakuwuliriza (be-LU lup. 244 kat. 3–lup. 245 kat. 4)
Na. 1: Okuyiga Okukozesa Ebintu Ebirala Ebyeyambisibwa mu Kunoonyereza (be-LU lup. 35 kat. 3–lup. 38 kat. 4)
Na. 2: Yokaana 12:1-19
Na. 3: Okugumya Abaweddemu Amaanyi olw’Ensobi ze Bakoze (rs lup. 120 kat. 8–lup. 121 kat. 3)
Na. 4: Engeri Gye Tutikkamu Yakuwa Emigugu Gyaffe (Zab. 55:22)
Jun. 2 Okusoma Baibuli: Yokaana 17-21 Oluyimba 78
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Obulungi Ebintu Ebirabwako (be-LU lup. 247 kat. 1-2)
Na. 1: Ekitabo kya Yokaana—Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 198-9 kat. 30-5)
Na. 2: Yokaana 21:1-14
Na. 3: Lwaki Tukkiririza mu Katonda ng’Ate Tetusobola Kumulaba?
Na. 4: Bannasayansi Bakkiriziganya ku Ndowooza Egamba nti Ebintu Tebyatondebwa? (rs lup. 121-3 kat. 1)
Jun. 9 Okusoma Baibuli: Ebikolwa 1-4 Oluyimba 42
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Engeri Yesu Gye Yakozesangamu Ebintu Ebirabwako (be-LU lup. 247 kat. 3)
Na. 1: Okwanjula Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume (si lup. 199-200 kat. 1-8)
Na. 2: Ebikolwa 1:1-14
Na. 3: Waliwo Obujulizi Bwonna Obukakasa nti Ebintu Tebyatondebwa? (rs lup. 123 kat. 2–lup. 126 kat. 2)
Na. 4: ‘Okwogera n’Obuvumu nga Tolina Kikukugira’ Kitegeeza Ki? (Beb. 3:6)
Jun. 16 Okusoma Baibuli: Ebikolwa 5-7 Oluyimba 10
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Engeri y’Okukozesaamu Ebintu Ebirabwako (be-LU lup. 248 kat. 1-3)
Na. 1: Okukola Ekiwandiiko Ekizimbirwako Emboozi (be-LU lup. 39-42)
Na. 2: Ebikolwa 5:1-16
Na. 3: By’Oyinza Okuddamu Abagamba nti Ebintu Tebyatondebwa (rs lup. 126 kat. 3–lup. 128 kat. 3)
Na. 4: Lwaki mu Kutya Yakuwa Amagezi mwe Gasookera? (Zab. 111:10)
Jun. 23 Okusoma Baibuli: Ebikolwa 8-10 Oluyimba 43
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Mmaapu, Programu z’Enkuŋŋaana Ennene, era ne Vidiyo (be-LU lup. 248 kat. 4–lup. 249 kat. 2)
Na. 1: Okutegeka Emboozi Ezikuweereddwa mu Ssomero (be-LU lup. 43 kat. 1–lup. 44 kat. 3)
Na. 2: Ebikolwa 8:1-17
Na. 3: Yesu ‘Alinunula Atya Omwavu’? (Zab. 72:12)
Na. 4: Ensonga Lwaki Abantu Bangi Tebalina Kukkiriza (rs lup. 129-30 kat. 2)
Jun. 30 Okusoma Baibuli: Ebikolwa 11-14 Oluyimba 35
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukozesa Ebintu Ebirabwako ng’Oyigiriza Abantu Abawerako (be-LU lup. 249 kat. 3–lup. 250 kat. 1)
Okwejjukanya
Jul. 7 Okusoma Baibuli: Ebikolwa 15-17 Oluyimba 5
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Lwaki Okuleeta Ensonga mu Ngeri ey’Amagezi Kikulu? (be-LU lup. 251 kat. 1-3)
Na. 1: Ng’Oweereddwa Omutwe gw’Emboozi n’Embeera mw’Onoogiweera (be-LU lup. 44 kat. 4–lup. 46 kat. 2)
Na. 2: Ebikolwa 16:1-15
Na. 3: Ensonga Ezituleetera Okuweereza Yakuwa n’Obuvumu
Na. 4: Omuntu Atuuka Atya Okuba n’Okukkiriza? (rs lup. 130 kat. 3–lup. 131 kat. 3)
Jul. 14 Okusoma Baibuli: Ebikolwa 18-21 Oluyimba 12
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Kye Tulina Okutandikirako (be-LU lup. 251 kat. 4–lup. 252 kat. 3)
Na. 1: Okutegeka Emboozi ez’Okuweebwa mu Kibiina (be-LU lup. 47 kat. 1–lup. 49 kat. 1)
Na. 2: Ebikolwa 20:1-16
Na. 3: Ebikolwa by’Omuntu Biraga nti Akkiririza mu Nteekateeka Empya ey’Obutuukirivu (rs lup. 131 kat. 5–lup. 132 kat. 2)
Na. 4: Ekiragiro Ekiri mu Okuva 23:19b Tukiyigirako Ki?
Jul. 21 Okusoma Baibuli: Ebikolwa 22-25 Oluyimba 88
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Lwe Kyetaagisa Obutakalambira ku Nsonga (be-LU lup. 252 kat. 4–lup. 253 kat. 2)
Na. 1: Okutegeka Ebitundu by’Omu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza n’Emboozi Endala (be-LU lup. 49 kat. 2–lup. 51 kat. 2)
Na. 2: Ebikolwa 22:1-16
Na. 3: Abajulirwa ba Yakuwa Batuukiriza Batya Yokaana 13:34, 35?
Na. 4: Bannabbi ab’Obulimba Obamanyira ku Ki? (rs lup. 132-4 ¶2)
Jul. 28 Okusoma Baibuli: Ebikolwa 26-28 Oluyimba 11
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okubuuza Ebibuuzo n’Okuwa Ensonga (be-LU lup. 253 kat. 3–lup. 254 kat. 2)
Na. 1: Ebikolwa Abatume—Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 204-5 kat. 32-40)
Na. 2: Ebikolwa 26:1-18
Na. 3: Bannabbi ab’Amazima Tebaamanyanga Ngeri Ki na Ddi Ebintu Bye Baalagula lwe Byandibaddewo (rs lup. 134 kat. 3-8)
Na. 4: Ensonga Lwaki Yakuwa Alaga Obugumiikiriza
Agu. 4 Okusoma Baibuli: Abaruumi 1-4 Oluyimba 21
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Obukakafu Obumatiza Obwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda (be-LU lup. 255 kat. 1–lup. 256 kat. 2)
Na. 1: Okwanjula Ekitabo ky’Abaruumi (si lup. 205-6 kat. 1-7)
Na. 2: Abaruumi 3:1-20
Na. 3: Engeri Bamalayika gye Bayambamu Abaweereza ba Katonda
Na. 4: Abajulirwa ba Yakuwa Batumbula Okusinza okw’Amazima (rs lup. 135 kat. 1-2)
Agu. 11 Okusoma Baibuli: Abaruumi 5-8 Oluyimba 91
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Wa Obukakafu Obulala Obutuukirawo (be-LU lup. 256 kat. 3-5)
Na. 1: Okutegeka Emboozi ya Bonna (be-LU lup. 52 kat. 1–lup. 54 kat. 1)
Na. 2: Abaruumi 6:1-20
Na. 3: Abajulirwa ba Yakuwa Bategeererwa ku Bibala Byabwe (rs lup. 135 kat. 3–lup. 137 kat. 1)
Na. 4: Engeri Obutuukirivu Gye Butukuumamu
Agu. 18 Okusoma Baibuli: Abaruumi 9-12 Oluyimba 65
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okuwa Obukakafu Obumala (be-LU lup. 257 kat. 1–4)
Na. 1: Ekitabo ky’Abaruumi—Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 208-9 kat. 20-5)
Na. 2: Abaruumi 9:1-18
Na. 3: Kabi Ki Akali mu Kugeya n’Okubunyisa Eŋŋambo?
Na. 4: Ky’Oyinza Okuddamu Abo Abatuyita Bannabbi ab’Obulimba (rs lup. 137 kat. 2-4)
Agu. 25 Okusoma Baibuli: Abaruumi 13-16 Oluyimba 7
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okufuba Okutuuka ku Mutima (be-LU lup. 258 kat. 1-5)
Okwejjukanya
Seb. 1 Okusoma Baibuli: 1 Abakkolinso 1-9 Oluyimba 4
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okumanya Ekiri mu Mutima gw’Omuntu (be-LU lup. 259 kat. 1-3)
Na. 1: Okwanjula Abakkolinso Ekisooka (si lup. 210-11 kat. 1-7)
Na. 2: 1 Abakkolinso 4:1-17
Na. 3: Katonda Tategekera Bantu Kiseera kwe Balifiira (rs lup. 138 kat. 1-3)
Na. 4: Okuba n’Eby’Obugagga Kiraga nti Olina Emikisa gya Katonda?
Seb. 8 Okusoma Baibuli: 1 Abakkolinso 10-16 Oluyimba 15
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Basikirize (be-LU lup. 259 kat. 4–lup. 260 kat. 1)
Na. 1: Abakkolinso Ekisooka—Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 213-14 kat. 23-6)
Na. 2: 1 Abakkolinso 13:1–14:6
Na. 3: Ensonga Lwaki Abakolera ku Kigambo kya Katonda Baba Basanyufu
Na. 4: Buli Ekibaawo Katonda si y’Aba Akitegese (rs lup. 139 kat. 1–lup. 140 kat. 2)
Seb. 15 Okusoma Baibuli: 2 Abakkolinso 1-7 Oluyimba 28
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okuyamba Abalala Bayige Okutya Katonda (be-LU lup. 260 kat. 2-3)
Na. 1: Okwanjula Abakkolinso eky’Okubiri (si lup. 214 kat. 1-4)
Na. 2: 2 Abakkolinso 1:1-14
Na. 3: Buli Kimu Katonda Teyakiteekateeka Dda Wadde Okukimanyirawo (rs lup. 140 kat. 3-5)
Na. 4: Ensonga Lwaki Abakristaayo ab’Amazima Baba Basanyufu nga Bayigganyizibwa
Seb. 22 Okusoma Baibuli: 2 Abakkolinso 8-13 Oluyimba 14
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Katonda Afaayo ku Ngeri gye Tweyisaamu (be-LU lup. 260 kat. 4–lup. 261 kat. 1)
Na. 1: Abakkolinso eky’Okubiri—Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 216-17 kat. 18-20)
Na. 2: 2 Abakkolinso 9:1-15
Na. 3: Ensonga Lwaki Abakristaayo ab’Amazima si ba Nsi
Na. 4: Obusobozi bwa Katonda obw’Okumanya Ebitannabaawo (rs lup. 141 kat. 1-4)
Seb. 29 Okusoma Baibuli: Abaggalatiya 1-6 Oluyimba 71
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okuyamba Abalala Okwekebera (be-LU lup. 261 kat. 1-3)
Na. 1: Okwanjula Ekitabo ky’Abaggalatiya n’Ensonga Lwaki kya Muganyulo (si lup. 217-20 kat. 1-6, 14-18)
Na. 2: Abaggalatiya 1:1-17
Na. 3: Ku Bikwata ku Adamu, Lwaki Katonda Teyakozesa Busobozi Bwe obw’Okumanya Ebitannaabaawo? (rs lup. 142 kat. 1-3)
Na. 4: Okwagala Kutusobozesa Kutya Okuvvuunuka Okutya Abantu?
Okit. 6 Okusoma Baibuli: Abaefeso 1-6 Oluyimba 95
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Bakubirize Okugondera Katonda n’Omutima Gwabwe Gwonna (be-LU lup. 261 kat. 4-lup. 262 kat. 1-3)
Na. 1: Okwanjula Ekitabo ky’Abaefeso n’Ensonga Lwaki kya Muganyulo (si lup. 220-3 kat. 1-8, 16-19)
Na. 2: Abaefeso 3:1-19
Na. 3: Okwetonda Tekiraga nti Oli Mutiitiizi
Na. 4: Ebyo Ebyatuuka ku Yakobo, Esawu, ne Yuda Katonda si ye Yabibategekera (rs lup. 142 kat. 4–lup. 143 kat. 2)
Okit. 13 Okusoma Baibuli: Abafiripi 1–Abakkolosaayi 4 Oluyimba 50
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Tukolera Wamu ne Yakuwa Okusobola Okutuuka ku Mitima gy’Abantu (be-LU lup. 262 kat. 4)
Na. 1: Okwanjula Ekitabo ky’Abafiripi n’Ensonga Lwaki kya Muganyulo (si lup. 223-5 kat. 1-7, 12-14)
Na. 2: Abafiripi 3:1-16
Na. 3: Mu Ngeri Ki Ekibiina Ekikristaayo gye Kyali Kyawuliddwawo nga Tekinnabaawo? (rs lup. 143 kat. 3–lup. 144 kat. 1)
Na. 4: a Ekitabo ky’Abakkolosaayi—Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 228 kat. 12-14)
Okit. 20 Okusoma Baibuli: 1 Abasessaloniika 1–2 Abasessaloniika 3 Oluyimba 10
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Engeri y’Okukuumamu Obulungi Ebiseera (be-LU lup. 263 kat. 1–lup. 264 kat. 4)
Na. 1: Okwanjula Abasessaloniika Ekisooka n’eky’Okubiri n’Ensonga Lwaki bya Muganyulo? (si lup. 229-31 kat. 1-5, 13-15; lup. 232-3 kat. 1-4, 10-11)
Na. 2: 1 Abasessaloniika 1:1–2:8
Na. 3: Ebyawandiikibwa Byogera Ki ku ky’Okulaguzisa Emmunyeenye? (rs lup. 144 kat. 2–lup. 145 kat.¶2)
Na. 4: b Timoseewo Ekisooka n’eky’Okubiri—Lwaki bya Muganyulo? (si lup. 236-7 kat. 15-19; lup. 238-9 kat. 10-12)
Okit. 27 Okusoma Baibuli: 1 Timoseewo 1–2 Timoseewo 4 Oluyimba 70
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukubiriza Abalala Obulungi (be-LU lup. 265 kat. 1-lup. 266 kat. 1)
Okwejjukanya
Nov. 3 Okusoma Baibuli: Tito 1–Firemooni Oluyimba 41
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukubiriza mu Ngeri ey’Okwagala (be-LU lup. 266 kat. 2-5)
Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Tito n’Ensonga Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 239-41 kat. 1-4, 8-10)
Na. 2: Tito 1:1-16
Na. 3: Ezimu ku Nsonga Kwe Tusinziira Okukkiririza mu Katonda (rs lup. 145-6 kat. 5)
Na. 4: c Ekitabo kya Firemooni—Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 242-3 kat. 7-10)
Nov. 10 Okusoma Baibuli: Abaebbulaniya 1-8 Oluyimba 61
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okukubiriza ng’Osinziira ku Byawandiikibwa (be-LU lup. 267 kat. 1-2)
Na. 1: Okwanjula Ekitabo ky’Abaebbulaniya (si lup. 243-4 kat. 1-9)
Na. 2: Abaebbulaniya 3:1-19
Na. 3: Obubi n’Okubonaabona Tebiraga nti Katonda Taliiyo (rs lup. 146 kat. 6–lup. 147 kat. 1)
Na. 4: Njawulo Ki Eriwo Wakati w’Obwetoowaze Obwa Nnamaddala n’Obutali bwa Nnamaddala?
Nov. 17 Okusoma Baibuli: Abaebbulaniya 9-13 Oluyimba 34
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okwogera n’Obuvumu (be-LU lup. 267 kat. 3-4)
Na. 1: Ekitabo ky’Abaebbulaniya—Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 247 kat. 23-7)
Na. 2: Abaebbulaniya 10:1-17
Na. 3: Katonda wa Ddala era Alina Enneewulira (rs lup. 147 kat. 2–lup. 148 kat. 3)
Na. 4: Okusonyiwa Kuleetawo Obumu
Nov. 24 Okusoma Baibuli: Yakobo 1-5 Oluyimba 20
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Lwaki Kikulu Okuzzaamu Abalala Amaanyi? (be-LU lup. 268 kat. 1-3)
Na. 1: Okwanjula Ekitabo kya Yakobo n’Ensonga Lwaki kya Muganyulo (si lup. 248-50 kat. 1-7, 15-17)
Na. 2: Yakobo 1:1-21
Na. 3: Katonda Talina Ntandikwa (rs lup. 148 kat. 4-7)
Na. 4: Engeri Abooleka ‘Okusaasira gye Bajaguza ng’Omusango Gusalibwa’ (Yak. 2:13)
Des. 1 Okusoma Baibuli: 1 Peetero 1–2 Peetero 3 Oluyimba 79
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okujjukiza Abakuwuliriza Yakuwa by’Akoze (be-LU lup. 268 kat. 4–lup. 269 kat. 2)
Na. 1: Okwanjula Peetero Ekisooka n’Ensonga Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 251-3 kat. 1-5, 11-13)
Na. 2: 1 Peetero 2:1-17
Na. 3: Okufuna Obulokozi Tulina Okukozesa Erinnya lya Katonda (rs lup. 149 kat. 1-4)
Na. 4: d Peetero eky’Okubiri—Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 255 kat. 8-10)
Des. 8 Okusoma Baibuli: 1 Yokaana 1–Yuda Oluyimba 24
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Laga Engeri Yakuwa gy’Ayambyemu Abantu Be (be-LU lup. 269 kat. 3-5)
Na. 1: Okwanjula Yokaana 1, 2, ne 3 n’Ensonga Lwaki bya Muganyulo (si lup. 256-8 kat. 1-5, 11-13; lup. 259 kat. 1-3, 5; lup. 260-1 kat. 1-3, 5)
Na. 2: 1 Yokaana 4:1-16
Na. 3: Eddiini Zonna Nnungi? (rs lup. 149 kat. 5-8)
Na. 4: e Ekitabo kya Yuda—Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 262-3 kat. 8-10)
Des. 15 Okusoma Baibuli: Okubikkulirwa 1-6 Oluyimba 4
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okulaga nti Osiima Ebyo Yakuwa by’Akola Kati (be-LU lup. 270 kat. 1–lup. 271 kat. 1)
Na. 1: Okwanjula Ekitabo ky’Okubikkulirwa (si lup. 263-4 kat. 1-6)
Na. 2: Okubikkulirwa 3:1-13
Na. 3: Yesu “Katonda” mu Ngeri Ki? (rs lup. 150 kat. 1-2)
Na. 4: Ensonga Lwaki Obugumiikiriza n’Obusaasizi Biriko Ekkomo
Des. 22 Okusoma Baibuli: Okubikkulirwa 7-14 Oluyimba 8
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Ganyulwa mu Bujjuvu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda (be-LU lup. 5 kat. 1–lup. 8 kat. 1)
Na. 1: Ekitabo ky’Okubikkulirwa—Lwaki kya Muganyulo? (si lup. 268-9 kat. 28-34)
Na. 2: Okubikkulirwa 8:1-13
Na. 3: By’Oyinza Okuddamu Abatakkiririza mu Katonda (rs lup. 150 kat. 3–lup. 151 kat. 3)
Na. 4: Ebigambo nti “Katonda Asinga Obukulu Omutima Gwaffe” Birina Makulu Ki? (1 Yokaana 3:20)
Des. 29 Okusoma Baibuli: Okubikkulirwa 15-22 Oluyimba 1
Engeri Ennungi ey’Okwogeramu: Okusoma Obulungi (be-LU lup. 83 kat. 1–lup. 84 kat. 1)
Okwejjukanya
[Obugambo obuli wansi]
a Giwe baluganda bokka, bwe kiba kisoboka abakadde oba abaweereza.
b Giwe baluganda bokka, bwe kiba kisoboka abakadde oba abaweereza.
c Giwe baluganda bokka, bwe kiba kisoboka abakadde oba abaweereza.
d Giwe baluganda bokka, bwe kiba kisoboka abakadde oba abaweereza.
e Giwe baluganda bokka, bwe kiba kisoboka abakadde oba abaweereza.