LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 10/07 lup. 7
  • Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 10/07 lup. 7

Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda

Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Okitobba 29, 2007. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 30, ng’akwesigamya ku bye twayiga okuva nga Ssebutemba 3 okutuuka mu wiiki etandika nga Okitobba 29, 2007.

ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU

1. Lwaki okuddiŋŋana ensonga ngeri nkulu nnyo ey’okuyigiriza? [be lup. 206 kat. 1-2, akasanduuko]

2. Tuyinza tutya okuggumiza omutwe gw’emboozi? [be lup. 210, akasanduuko]

3. Ensonga enkulu mu mboozi ze ziruwa, era kiki ekituyamba okuzironda? [be lup. 212 kat. 1-3]

4. Lwaki tetusaanidde kuba na nsonga nkulu nnyingi nnyo mu mboozi yaffe? [be-LU lup. 213 kat. 3-5]

5. Lwaki kikulu nnyo ennyanjula yaffe okuba ng’esikiriza, era kino kiyinza kukolebwa kitya? [be-LU lup. 215 kat. 1, 5; lup. 216 kat. 1-2, akasanduuko]

EMBOOZI 1

6. Zabbuli 119:89, 90 zituyamba zitya okukitegeera nti tusobola okwesiga ekigambo kya Katonda? [w05-LU 5/1 lup. 8 kat. 3]

7. Ekitabo kya Ezeekyeri kiggumiza ki, era abo abatukuza erinnya lya Yakuwa banaafuna ki? [bsi07-LU lup. 8 kat. 33]

8. ‘Ekigambo kya Yakuwa’ kiyinza kitya okukuuma omutima gwaffe? (Zab. 18:30) [w05-E 9/1 lup. 30 kat. 2]

9. Essuubi ly’Obwakabaka likkaatirizibwa litya mu kitabo kya Danyeri kyonna? [bsi07-LU lup. 10 kat. 23]

10. Ekitabo kya Koseya kinyweza kitya okukkiriza kwaffe mu bunnabbi bwa Yakuwa obwaluŋŋamizibwa? [bsi07-LU lup. 12 kat. 14]

OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI

11. Okupimibwa kwa yeekaalu Ezeekyeri gye yalaba mu kwolesebwa kwalina makulu ki, era kino kituwa bukakafu ki leero? (Ez. 40:2-5) [w99-LU 3/1 lup. 18 kat. 6; lup. 23 kat. 7]

12. Mu kutuukirizibwa okusembayo okw’okwolesebwa kwa Ezeekyeri, ‘omulangira’ y’ani? (Ez. 48:21) [w99-LU 3/1 lup. 24-25 kat. 13-15; lup. 26 kat. 19-20]

13. Danyeri 2:21 lulina makulu ki? [w98-LU 10/1 lup. 8 kat. 9]

14. Kiki ekyaleetera Danyeri okuba ‘omusajja omwagalwa ennyo’ mu maaso ga Yakuwa? (Dan. 9:23) [dp-LU lup. 185 kat. 12; w04-LU 8/1 lup. 22 kat. 17]

15. Mu ngeri ki gye wataaliwo ‘kumanya Katonda mu nsi’ ya Isiraeri, era ebigambo ebyo byanditukutteko bitya kinnoomu? (Kos. 4:1, 2, 6) [w05-LU 12/1 lup. 11 kat. 21; jd lup. 57-8 kat. 5; lup. 61 kat. 10]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza