Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Ssebutemba 10
Oluyimba 67
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 4 oba ebirala ebituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Agusito 15 ne Awake! eya Agusito. Mu buli kyakulabirako, magazini zombi zisaanidde okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako.
Ddak. 15: Akasanduuko k’Ebibuuzo. Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kukubirizibwa omukadde. Ebiseera bwe bibaawo, musome era mukubaganye ebirowoozo ku byawandiikibwa ebiweereddwa.
Ddak. 20: “Goberera Ekyokulabirako kya Yesu.”a Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye baganyuddwa mu byokulabirako by’abalala ebirungi.
Oluyimba 53 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ssebutemba 17
Oluyimba 50
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 15: Twakola Tutya Omwaka Oguwedde? Omulabirizi w’obuweereza ayogera ku ebyo ebyakolebwa ekibiina mu mwaka gw’obuweereza oguwedde, ng’essira aliteeka ku birungi ebyakolebwa mu mulimu gw’okubuulira. Beebaze olw’ebirungi bye baakola. Yogera ku kintu kimu oba bibiri ebyetaagisa okwongeramu amaanyi mu mwaka guno omupya ogw’obuweereza. Yogera ku ebyo bapayoniya bye baakola, era beebaze olw’omulimu gwabwe omulungi. Yogera ne ku birungi ebyava mu kufuba okuyamba abo abaali batakyabuulira.
Ddak. 20: Oluganda Oluli Obumu. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized to Do Jehovah’s Will essuula 16.
Oluyimba 56 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ssebutemba 24
Oluyimba 70
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: Kozesa Tulakiti Okumanya Baibuli Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli mu Okitobba. Mu Okitobba tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’osanga ayagala okumanya ebisingawo, oyinza okukozesa tulakiti Okumanya Baibuli okutandika okumuyigiriza Baibuli. Nga bonna abaliwo bamaze okuweebwa tulakiti eyo, mugikubaganyeeko ebirowoozo mu bufunze. Bannyonnyole nti tulakiti eyo yonna oba ebimu ku bitundu ebigirimu biyinza okukozesebwa okukubaganya ebirowoozo n’omuntu ku mulundi gw’oba osoose okumukyalira oba ng’ozzeeyo. Ng’okozesa ennyanjula eziri ku lupapula 4 oba endala ezituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu magazini ezaakafulumizibwa. Mu kimu ku byokulabirako, omubuulizi alekera omuntu tulakiti oluvannyuma lw’okugaana okutwala magazini. Mu kyokulabirako ekirala, ng’omuntu amaze okukkiriza magazini, omubuulizi omuwa tulakiti, akubaganya naye ebirowoozo ku ebyo ebiri ku lupapula 5, amulaga ebikwata ku katabo Baibuli ky’Eyigiriza ebiri ku lupapula 6, era amusuubiza okukamuleetera.
Oluyimba 100 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Okitobba 1
Oluyimba 71
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Jjukiza ababuulizi okuwaayo alipoota zaabwe ez’obuweereza eza Ssebutemba.
Ddak. 15: Ebbaluwa Okuva ku Ttabi. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku bbaluwa eri ku lupapula olusooka olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Saba abawuliriza boogere ku ebyo ebyava mu kaweefube ow’okuyita abantu okubaawo ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olwa “Goberera Kristo!”
Ddak. 20: “Okufuba Okukola Ekisingawo mu Buweereza Bwaffe.”b Saba ab’oluganda abafuba okugaziya ku buweereza bwabwe babeeko bye boogera ku ngeri gye bakozesaamu buli kakisa ke bafuna okukola ekisingawo mu buweereza. Omuntu omu oba babiri bayinza okutegeka nga bukyali bye banaayogera.
Oluyimba 86 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.