Engeri y’Okutandika Okuyigiriza Baibuli Abo Be Tuwa Magazini
1. Tulina kiruubirirwa ki mu Apuli ne Maayi?
1 Mu Apuli ne Maayi, tujja kugaba Watchtower ne Awake! nga tulina ekiruubirirwa eky’okutandika okuyigiriza abantu Baibuli mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Ebirowoozo bino wammanga biyinza okutuyamba. Kijjukire nti ebirowoozo bino osaanidde okubituukaganya n’ekitundu kyammwe. Tolonzalonza kukozesa nnyanjula ndala yonna bw’eba nga y’enaasinga okukola obulungi.
2. Tuyinza tutya okukozesa ebyo ebiri ku lupapula 4-6 olw’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza okutandika okuyigiriza abantu Baibuli?
2 Kozesa Ebyo Ebiri ku Lupapula 4-6: Bw’oba ng’ozzeeyo, oyinza okwogera ebigambo ebifaananako bwe biti: “Magazini ze nnakulekera zoogera ku Baibuli. Weetegereze ensonga lwaki kikulu nnyo okusoma Baibuli.” Soma Isaaya 48:17, 18; Yokaana 17:3; oba ekyawandiikibwa ekirala ekituukirawo. Oluvannyuma lw’okwanjulira nnyinimu akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era n’okumuwa kopi ye, oyinza okumugamba bw’oti:
◼ “Baibuli etuwa essuubi eryannamaddala ery’ebiseera eby’omu maaso.” Laga nnyinimu ebyo ebiri ku mpapula 4-5 era omubuuze nti: “Kisuubizo ki ku bino kye wandyagadde kituukirizibwe?” Mubikkulire essuula eyogera ku kisuubizo ekyo ky’ayagala kituukirizibwe, era mukubaganye ebirowoozo mu bufunze ku katundu kamu oba bubiri nnyinimu bw’aba ng’akkirizza.
◼ Oba oyinza okugamba nti: “Baibuli eddamu ebibuuzo ebisingayo okuba ebikulu mu bulamu.” Laga nnyinimu ebyo ebiri ku lupapula 6, era omubuuze obanga yali yeebuuzizzaako ekimu ku bibuuzo ebiri wansi w’olupapula olwo. Mubikkulire essuula eddamu ekibuuzo ekyo era mukubaganye ebirowoozo mu bufunze ku katundu kamu oba bubiri.
◼ Oba oyinza okumulaga egimu ku mitwe egiri ku lupapula 2 era n’omusaba akubuulire ogusinga okumunyumira. Bikkula essuula eyo, era omulage mu bufunze engeri gye tuyigirizaamu abantu Baibuli.
3. Tuyinza tutya okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli oluvannyuma lw’okumuwa magazini eyogera (a) ku mbeera z’ensi ezigenda zeeyongera okwonooneka? (b) ku maka? (c) ku nsonga lwaki tusobola okwesiga Baibuli?
3 Lekawo Ekibuuzo ku Lukyala Olusooka: Ekirala ky’oyinza okukola, kwe kuteekawo omusingi ku lukyala olusooka kw’onoosinziira okuddamu okukyalira omuntu oyo. Nnyinimu bw’akkiriza magazini, buuza ekibuuzo era omusuubize okukiddamu ng’ozzeeyo okumukyalira. Mutegeeze olunaku lwennyini lw’onoddayo, era okakase nti otuukiriza ekisuubizo kyo. (Mat. 5:37) Bw’oddayo, jjukiza nnyinimu ekibuuzo kye wamulekera era obikkule akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, musome era mukubaganye ebirowoozo mu bufunze ku katundu kamu oba bubiri obuddamu ekibuuzo ekyo. Muwe akatabo ako asobole okugoberera bye musoma. Bino wammanga bye bimu ku byokulabirako.
◼ Magazini gye walekera omuntu bw’eba eyogera ku mbeera z’ensi ezigenda zeeyongera okwonooneka, oyinza okugamba, “Omulundi ogunaddako tujja kulaba engeri Baibuli gy’eddamu ekibuuzo kino, Nkyukakyuka ki Katonda z’anaaleeta ku nsi?” Bw’oddayo, kozesa ebiri ku lupapula 4-5. Oba oyinza okubuuza ekibuuzo kino, “Obutyabaga bubaawo lwa kwagala kwa Katonda?” Ng’ozzeeyo, laga nnyinimu ebiri mu ssuula 1, akatundu 7-8.
◼ Magazini gye walekera omuntu bw’eba eyogera ku maka, nga tonnamusiibula oyinza okumubuuza, “Kiki buli omu mu maka ky’asobola okukola okufuula amaka okuba ag’essanyu?” Bw’oddayo, yogera ku katundu 4 mu ssuula 14.
◼ Magazini gye walekera omuntu bw’eba eyogera ku nsonga lwaki tusobola okwesiga Baibuli, oyinza okubuuza ekibuuzo kino kye munaakubaganyaako ebirowoozo ng’ozzeeyo, “Ddala Baibuli ntuufu ne bw’eba ng’eyogera ku bya sayansi?” Ng’ozzeeyo, mukubaganye ebirowoozo ku katundu 8 mu ssuula 2.
4. Kiki kye twandikoze singa nnyinimu takkiriza kutwala katabo Baibuli Ky’Eyigiriza?
4 Buli lw’omala okukubaganya ebirowoozo n’omuntu, buuza ekibuuzo ekirala ekinaddibwamu olulala. Bw’akkiriza okuyigirizibwa Baibuli, musome akatabo nga mutandikira ku ssuula esooka. Ate kiri kitya singa nnyinimu takkiriza katabo Baibuli Ky’Eyigiriza? Osobola okweyongera okumutwalira magazini n’okukubaganya naye ebirowoozo ku Byawandiikibwa. Bw’ogenda mu maaso n’okumuyamba okusiima amazima, oluvannyuma lw’ekiseera ayinza okukkiriza okuyiga Baibuli.
5. Lwaki tetwandikomye ku kulekera obulekezi abantu magazini?
5 Yesu yatukubiriza ‘okufuula abantu abayigirizwa, nga tubayigiriza.’ (Mat. 28:19, 20) N’olwekyo, ekiruubirirwa kyaffe ekikulu eky’okulekera abantu magazini kwe kubayigiriza amazima. Mu Apuli ne Maayi, mufube nnyo okulaba nga mutandika okuyigiriza abantu Baibuli oluvannyuma lw’okubawa Watchtower ne Awake!