Okutuukiriza Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ng’Abajulirwa Ba Yakuwa
1 Ng’Abajulirwa ba Yakuwa tulina enkizo esingayo okuba ey’amaanyi mu nsi yonna. Tukiikirira Yakuwa mu kkooti ey’obutonde bwonna ewozesa abo bonna abasinzibwa nga bakatonda. (Is. 41:1, 23; 43:12) Yakuwa atuwadde ebitabo bingi ebisobola okutuyamba okukola ekyo. (1 Peet. 3:15) Ekitabo ekiyitibwa Watch Tower Publications Index kisobola okutuyamba okuzuula ebyo bye tuba twetaaga. Bwe tutegeera obulungi egimu ku mitwe emikulu egikirimu, kijja kutuyamba okweyongera okufuna obumanyirivu mu ngeri y’okukikozesaamu.
2 Fenna tusaanidde okuba nga tutegeera bulungi omutwe omukulu “Yakuwa.” Wansi w’omutwe ogwo oguli mu Index, waliwo ebitabo ebijuliziddwa ebinnyonnyola ensonga lwaki Yakuwa akyaleseewo obubi? Ate era, mu Index eya 1930-1985, eya 1986-2000 ne mu eyo eyaakafulumizibwa ojja kusangamu omutwe ogugamba nti “Erinnya.” Ebitabo byonna ebyogera ku linnya lya Yakuwa bisobola okusangibwa wansi w’omutwe ogwo.
3 Omutwe omulala omukulu ennyo gwegwo ogugamba nti “Abajulirwa ba Yakuwa.” Ebitabo byonna ebyogera ku Bajulirwa ba Yakuwa ng’ekibiina bisangibwa wansi w’omutwe ogwo. Omanyi endowooza gye tulina ku buyigirize obwa waggulu, ku nkola y’abasawo ey’okusala omubiri gw’oyo afudde basobole okuzuula ekimusse, ku kutta omuntu nga weetaasa, oba ku kufuna obuyambi gavumenti bw’ewa abo abateesobola? Ojja kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ng’ebyo wansi w’omutwe omutono ogugamba nti, “endowooza gye tulina ku--.” Ate era wansi w’omutwe omutono ogugamba nti “Ebyo ebyogerwa abalala” tusangawo ebyafaayo by’Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino abali mu nsi ezitali zimu, era n’olukalala olw’ebyo ebyogerwa ku Bajulirwa ba Yakuwa.
4 Tuddamu amaanyi era tufuna obulagirizi bwe twekenneenya ebyafaayo by’obulamu bw’abaweereza Yakuwa abeesigwa. Tusobola okukozesa ebyafaayo ebyo okuyamba abaana baffe n’abayizi baffe aba Baibuli okusobola okuba n’okukkiriza okunywevu mu biseera eby’omu maaso. Ebyafaayo by’obulamu bw’abaweereza ba Katonda ojja kubisanga wansi w’omutwe omukulu ogugamba nti “Ebyafaayo by’Obulamu bw’Abajulirwa ba Yakuwa.” Emitwe emitono egiweereddwa wamanga gijja kutulaga engeri Index gy’esobola okutuyamba mu kibiina, mu maka, n’emu buweereza bw’ennimiro.
5 Mu Kibiina. Yakuwa akwasizza “omuwanika omwesiga” oba omulabirizi w’ennyumba obuvunaanyizibwa ng’ayitira mu Yesu Kristo omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo. (Luk. 12:42, 43) Enteekateeka eno etusobozesezza okufuna obulagirizi obuli mu buwandiike obukwata ku ngeri gye tugwanidde ‘okweyisaamu nga tuli mu nnyumba ya Katonda.’ (1 Tim. 3:15) Eky’okukozesa ekisingayo obukulu ekiyinza okutuyamba okuzuula ebyo omuddu omwesigwa by’awandiise, kye kitabo ekiyitibwa Watch Tower Publications Index. Ekitabo kino kiyinza kukuyamba kitya?
6 Oli mukadde mu kibiina? Waliwo emitwe ebiri emikulu egikwata ku buvunaanyizibwa bwammwe. Emitwe egyo gye gino: “Abakadde” ne “Abalabirizi.” Ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Abakadde” kye kirimu ebitabo ebisinga obungi ebijuliziddwa ebyogera ku ngeri y’okuyambamu abantu abatali bamu mu kibiina, engeri y’okubuuliriramu, enkolagana esaanidde okubaawo mu kakiiko k’abakadde, obuvunaanyizibwa bw’abakadde, n’ebirala bingi. Ebyo ebikwata ku bisaanyizo ebirina okutuukirizibwa abo abaagala okuweereza ng’abakadde biri wansi w’omutwe ogugamba nti, “Abalabirizi,” okuva bwe kiri nti Baibuli ekozesa ekigambo ekyo kyennyini ng’eyogera ku bisaanyizo ebyo. Ate era wansi w’omutwe “Abalabirizi” waliwo obuvunaanyizibwa obuweebwa abakadde gamba nga “omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde,” “omulabirizi w’obuweereza” ne “omuwandiisi.” Omutwe omukulu ogugamba nti “Ebibiina” nagwo gulimu ebintu bingi eby’omuganyulo.
7 Mmwe abakola ng’abaweereza nammwe mulina omulimu gwa maanyi nnyo mu kibiina. Ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Abaweereza” kirimu bingi ebikwata ku bisaanyizo bye mulina okutuukiriza awamu n’obuvunaanyizibwa bwammwe. Ate era, wansi w’omutwe ogwo waliwo ebitabo bingi ebijuliziddwa ebyogera ku bukulu bw’enkizo ez’obuweereza z’osobola okufuna era n’ebyo by’osaanidde okukola okusobola okutuuka ku buvunaanyizibwa obulala.
8 Kiganyula Amaka. Baibuli ng’eyogera ku b’omu maka mu 1Timoseewo 5:4 egamba nti: “Basookenga okuyiga okwoleka ebikolwa eby’okutya Katonda eri ab’omu maka gaabwe,” (NW). Mu butuufu, okwoleka ebikolwa eby’okutya Katonda eri ab’omu maka gaffe kye kintu kye tulina okuyiga obuyizi. Okusobola okukola kino twetaaga obulagirizi bwa Katonda, okuva bwe kiri nti okulabirira ab’omu maka gaffe bwe bumu ku buvunaanyizibwa bwe tulina ng’Abakristaayo. Ekitabo ekiyitibwa Watch Tower Publications Index kisobola okutuyamba okufuna obulagirizi ku mbeera ezitali zimu eziyinza okubalukawo mu maka.
9 Amaka gatandikibwawo omwami n’omukyala bwe bafumbiriganwa. (Lub. 2:24) Olowooza ku ky’okuyingira obufumbo? Wansi w’omutwe omukulu ogugamba nti “Obufumbo,” ojja kusangawo omutwe omutono ogugamba nti “okulonda ow’okufumbiriganwa naye.” Ekitabo kino era kirimu emitwe emitono egikwata ku “buvunaanyizibwa bw’omwami” ne “obuvunaanyizibwa bw’omukyala,” nga buli gumu gujuliza ebitabo ebirimu ebyo ebiyinza okuganyula abo abaagala okufumbiriganwa n’abo abaamala edda okuyingira obufumbo. Okugatta ku ekyo, emitwe emitono gamba nga “empuliziganya,” “okuba n’enkolagana ey’okulusegere,” ne “okuba n’emirembe” gijuliza ebitabo ebirimu ebyo ebisobola okwongera okuyamba abafumbo. Bwe wabaawo obutakkaanya, omutwe omutono ogugamba nti “ebizibu mu maka” gusobola okukuyamba okumanya ky’oyinza okukola okusobola okubigonjoola.
10 Abaana busika okuva eri Yakuwa. (Zab. 127:3) Abazadde bayinza batya okukuza abaana baabwe nga ‘babakangavvula era nga babayamba okufuna endowooza ya Yakuwa’? (Bef. 6:4) Obulagirizi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu Kigambo kye ne mu kibiina ky’omuddu omwesigwa bwa muganyulo nnyo. Abazadde kibeetaagisa okutegeera obulungi enneewulira n’ebyetaago by’abaana baabwe. Okubuulirira n’ebirowoozo ebirungi oyinza okubisanga mu Index wansi w’emitwe “Abaana” ne “Abavubuka.” Ate kiri kitya bwe kituuka ku kuyamba abaana baabwe okutegeera amateeka ga Yakuwa? Wansi w’omutwe ogugamba nti “Okutendeka Omwana” waliwo ebitabo ebijuliziddwa ebyogera ku ngeri zonna ez’okukuzaamu abaana nga mw’otwalidde n’okubayamba okuba n’enkolagana ey’okulusegere ne Yakuwa era n’okubayamba okwagala ennyo amazima.--1 Peet. 2:2. Enteekateeka ennuŋŋamu ey’okusoma Baibuli ya muganyulo nnyo eri amaka. (Ma. 6:6-9; Is. 54:13; Bef. 5:25, 26) Amagezi aganaakuyamba mu kufuula okusoma kwammwe okw’amaka okuba okunyuvu, gayinza okusangibwa mu bitabo ebiragiddwa wansi omutwe “Amaka.” Mu Index eyaakafulumizibwa, mulimu omutwe omutono ogugamba nti “okwesomesa Baibuli” era nga wansi w’omutwe ogwo gwennyini mulimu emitwe emirala emitonotono gamba nga “engeri y’okufuulamu okwesomesa okuba okw’omuganyulo,” “engeri y’okukufuulamu okunyuvu,” ne “engeri y’okukufuulamu okusikiriza.”
11 Mu Buweereza bw’Ennimiro. Okwagala kwe tulina eri Yakuwa n’eri muliraanwa waffe kutukubiriza okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Bwe tubuulira abantu amazima mu ngeri ennungi, tusobola okumalirawo ddala ‘empaka na buli kintu ekyekulumbaza okuziyiza okumanya okukwata ku Katonda.’ (2 Kol. 10:5) Ekitabo Watch Tower Publications Index kitegekeddwa okutuyamba mu kino.
12 Omutwe omukulu ogugamba nti “Obuweereza bw’Ennimiro” gulaga ebitabo ebirimu ebyo ebikwata ku mulimu gw’okubuulira. Buli kintu ekirina akakwate n’omulimu gw’okubuulira kisangibwa wansi w’omutwe ogwo, nga mw’otwalidde n’endowooza gye tulina kinnoomu, ennyanjula, engeri y’okukwatamu abo abatuwakanya, bye tuyinza okwogera nga tugaba ebitabo, okuddiŋŋana, n’ebyo ebikwata ku bayizi ba Baibuli. Olina ensonga gye wandyagadde okunnyonnyola ng’okozesa ebyokulabirako ebirungi? Ebyo bye weetaaga oyinza okubisanga wansi w’omutwe ogugamba nti “Ebyokulabirako.”
13 Wandyagadde okufuna gw’oyigiriza Baibuli? Oba olina gw’oyigiriza naye ng’alabika takulaakulana? Wansi w’omutwe “Abayizi ba Baibuli” waliwo emitwe emitono gamba nga “okutandika,” “okuyamba,” ne “okuyigiriza,” nga buli gumu gulaga ebitabo ebirimu ebyo ebisobola okukuyamba okufuna abayizi ba Baibuli era n’okubayigiriza obulungi basobole okukulaakulana.
14 Bwe tutuukiriza obuweereza bwaffe obw’Obwakabaka kituviiramu okufuna obumativu. (Yok. 4:34) Ekitabo Watch Tower Publications Index kisobola okukuyamba ng’okola omulimu guno oguleeta essanyu era ne mu mbeera endala zonna ez’obulamu obw’Ekikristaayo.