LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/07 lup. 3
  • Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 4/07 lup. 3

Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi

NGA tugoberera ekyokulabirako kya Yesu, tusaba mu bwesimbu nti: “Erinnya lyo litukuzibwe.” Engeri gye tweyisaamu ng’Abajulirwa ba Yakuwa eraga nti twagala nnyo erinnya lye litukuzibwe nga bwe tusaba mu ssaala eyo. Kya lwatu, waliwo bingi nnyo Katonda by’atwetaagisa ng’ogyeko okumanya obumanya erinnya lye. Tuteekwa okukozesa buli kakisa ke tufuna okugulumiza erinnya eryo. Mazima ddala, enkizo esingayo okuba ey’amaanyi buli omu ku ffe gy’ayinza okufuna kwe kuyitibwa omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.​—Mat. 6:9; Is. 43:10.

Nga kituukagana bulungi ne Zabbuli 110:3, abantu ba Yakuwa kyeyagalire benyigira mu mulimu gwe gw’alagidde gukolebwe. Lwaki abantu ab’emyaka gyonna era abaakulira mu mbeera ez’enjawulo beemalidde ku mulimu gw’okubuulira? Ensonga esingira ddala obukulu ebaleetera okukola kino, kwe kuba nti baagala Katonda era nga beewaddeyo kinnoomu okumuweereza. Mu kitabo Ekyamateeka Olw’okubiri 6:5, 6, tulagirwa okwagala Yakuwa ‘n’omutima gwaffe gwonna, n’emmeeme yaffe yonna, n’amaanyi gaffe gonna.’ Okwagala kuno okuviira ddala ku mutima kutukubiriza okukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu bye tulina okuwagira Obwakabaka bwa Katonda, era nga kino kizingiramu n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira ng’embeera yaffe bw’eba etusobozesezza.

Okwagala Yakuwa kw’alina eri abantu kwe kwamuleetera okuwa ekiragiro eky’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwe mu nsi yonna. Tayagala muntu yenna kuzikirizibwa naye ayagala bonna beenenye era badde eri Omutonzi waabwe basobole okuba abalamu. (2 Peet. 3:9) Yakuwa agamba bw’ati: “Sirina ssanyu lye nsanyukira okufa kw’omubi: wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu.” (Ez. 33:11) Bwe twenyigira mu buweereza, tuba tulaga abo be tubuulira nti Yakuwa abaagala. Awatali kubuusabuusa, eno y’emu ku nsonga lwaki tufuna obumativu n’essanyu lingi bwe twenyigira mu mulimu guno omukulu ennyo.

Okwagala okungi kwe tulina eri Yakuwa era kweyolekera mu ngeri gye tutwalamu Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, kwe kugamba, Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Singa tetwalina Baibuli, tetwanditegedde Katonda wadde okumusemberera nga bwe tukubirizibwa mu Yakobo 4:8. Era tetwanditegedde nsonga lwaki twatondebwa na biki ebigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Tetwanditegedde nti Adamu, fenna mwe twava, y’ensibuko y’ebizibu bye tulina leero. (Bar. 5:12) Era tetwanditegedde okwagala okungi Katonda kwe yatulaga bwe yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka ng’ekinunulo ku lwaffe. Ate era ne mu ngeri endala nnyingi, Yakuwa atusobozesa okufuna ku kumanya kwe, amagezi ge, n’okutegeera kwe. Nga tusiima nnyo ekirabo ky’atuwadde, Ekigambo kye ekyaluŋŋamizibwa! Okusiima kwe tulina eri ekirabo kino eky’ekitalo kutuleetera ‘okweguliranga ebbanga’ okwesomesa n’okufumiitiriza ku ebyo by’agamba. (Bef. 5:15, 16; Zab. 1:1-3) Tetusaanidde kuwulira nti ebiseera bye tumala buli lunaku nga tusoma Ekigambo kya Katonda bya bwereere. Mu kifo ky’ekyo, okwagala kwe tulina eri Katonda kusaanidde okutuleetera okwagala ennyo Ekigambo kye, kitusobozese okweyongera okumutegeera n’okumwagala.

Tukitegedde okuva mu Baibuli nti Adamu bwe yayonoona mu maaso ga Yakuwa, yaleetera bazzukulu be bonna, nga mw’otwalidde na buli omu ku ffe, okubeera mu mbeera embi ennyo. Wadde kiri bwe kityo, Katonda yakola enteekateeka okuyamba olulyo lw’omuntu okuva mu mbeera eyo embi, era alina kye yakolawo okulaba nti ekigendererwa kye eri ensi kituukirizibwa.​—Lub. 3:15.

Awatali kubuusabuusa, buli omu ku ffe ayagala nnyo okutukuza erinnya lya Katonda waffe ery’ettendo. Bwe tweyongera okutegeera nti Yakuwa Katonda waffe mulungi, kijja kutukubiriza okukolera awamu naye era n’okukolagana n’ekibiina kye nga tumanyisa erinnya lye ekkulu awamu n’ebigendererwa bye. Era kijja kutuleetera okuba abakakafu nti tusiimibwa mu maaso ge era nti tujja kufuna emikisa gye kati, ne mu biseera eby’omu maaso tufune obulamu obutaggwaawo mu nsi empya.

Baganda baffe ne bannyinaffe abaagalwa, ffe abali ku Kakiiko Akafuzi twagala okubakakasa nti tubaagala nnyo. Era tubasiima nnyo olw’okunyiikira okukozesa ebiseera ebisigaddeyo okubuulira amawulire amalungi eri abantu bangi nga bwe kisoboka ‘ng’ekibonyoobonyo ekinene’ tekinnatuuka. (Kub. 7:14) Mu kukola kino, muba mubasobozesa okufuna akakisa nga nammwe ke mwafuna, ak’okumanya Katonda ne Kristo okunaabasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.​—Yok. 17:3.

Ffe baganda bammwe,

Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza