Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Okitobba 30, 2006. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 30, nga akwesigamya ku bye twayiga okuva nga Ssebutemba 4 okutuuka mu wiiki etandika nga Okitobba 30, 2006. [Weetegereze: Bwe watabaawo kitabo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okunoonyereza okusobola okufuna eky’okuddamu.—Laba ekitabo Ssomero ly’Omulimu, lup. 36-7.]
ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU
1. Lwaki kikulu okwogera nga totya, era tuyinza kukola ki okukendeeza ku kizibu ky’okweraliikirira? [be-LU lup. 135 kat. 5–lup. 137 kat. 2, obusanduuko]
2. Bwe tubuuzibwa ebikwata ku nzikiriza yaffe, lwaki twandifubye okukozesa Baibuli nga tuddamu? [be-LU lup. 143 kat. 1-3]
3. Tuyinza tutya okweyongera okufuna obumanyirivu mu kukozesa Baibuli? [be-LU lup. 144, akasanduuko]
4. Lwaki kikulu okukozesa ennyo Baibuli nga tubuulira, era tuyinza tutya okukubiriza abalala okugikozesa nga tuli mu nkuŋŋaana? [be-LU lup. 145-6, obusanduuko]
5. Bintu ki ebibiri bye twandyagadde okutuukiriza nga twanjula ekyawandiikibwa? [be-LU lup. 147 kat. 2]
OKWOGERA 1
6. Bubaka ki obukulu obuli mu Zabbuli? [bsi06-LU lup. 17 kat. 23]
7. Ddi Engero lwe zaawandiikibwa era ne zikuŋŋaanyizibwa? [bs06i-LU lup. 20 kat. 5]
8. Olugero kye ki, era lwaki omutwe gw’ekitabo kino mu Lwebbulaniya gutuukirawo? [bsi06-LU lup. 20 kat. 6]
9. Ebigambo ebiri mu Engero 2:1-5, bitegeeza ki bwe bitukubiriza okweyongera okunoonya okumanya, okutegeera n’amagezi ‘nga feeza era ng’eby’obugagga ebyakwekebwa’? [be-LU lup. 38 kat. 5]
10. Ekitabo ky’Engero kiraga kitya ekigendererwa kyakyo ekikulu? [bsi06-LU lup. 21 kat. 19]
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Mu ngeri ki Dawudi gye ‘yagonza era n’asirisa emmeeme ye ng’omwana avudde ku mabeere awali nnyina’? (Zab. 131:1-3)
12. Kubudaabuda ki okuli mu bigambo ebiri mu Zabbuli 139:7-12?
13. Byakulabirako ki ebiraga obukulu bwa Yakuwa bye tuyinza okusinziirako okumutendereza mu ssaala zaffe ne mu buweereza bw’ennimiro? (Zab. 145:3)
14. Mu ngeri ki gye kiri nti mu kutya Yakuwa “okumanya mwe kusookera” era “amagezi mwe gasookera”? (Nge. 1:7; 9:10)
15. Engero 7:1, 2 bwe woogera ku ‘bigambo byange’ ne “ebiragiro byange” biki ebiba bizingirwamu?