LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/06 lup. 3
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 8/06 lup. 3

Ebirango

◼ Agusito: Akamu ku butabo buno wammanga ak’empapula 32 kayinza okukozesebwa: Nnyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, The Divine Name That Will Endure Forever, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, “Look! I Am Making All Things New,” Should You Believe in the Trinity?, Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?, What Is the Purpose of Life​—How Can You Find It?, When Someone You Love Dies. Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, Beera Bulindaala! Mu bitundu ebimu eby’ensi, brocuwa zino ziyinza okugabibwa: A Book for All People, Will There Ever Be a World Without War?, Our Problems​—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo gy’Abafu​—Giyinza Okutuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri? ne A Satisfying Life​—How to Attain It. Akatabo Okumanya nako kayinza okugabibwa. Ssebutemba: Akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza ke tujja okugaba. Tulina okufuba ennyo okutandika okuyigiriza abantu Baibuli ku mulundi ogusooka. Tusaanidde okuddira buli gwe twawa akatabo nga tulina ekigendererwa eky’okumuyigiriza Baibuli. Okitobba: Watchtower ne Awake! bujja kugabibwa. Ayagala okumanya ebisingawo, oyinza okumuwa ka brocuwa Beera Bulindaala! kamuyambe okwagala okumanya ebisingawo ku Baibuli. Noovemba: Tujja kugaba ekitabo Learn From the Great Teacher. Abo abatalina baana, bawe ka tulakiti, Wandyagadde Okumanya Ebisingawo ku Baibuli? oba ka tulakiti akalala konna akatuukirawo oba akatabo Okumanya.

◼ Oyo akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu yenna gw’aba alonze alina okwekenneenya ebiwandiiko ebikwata ku nsawo y’ekibiina nga Ssebutemba 1 oba amangu ddala nga bwe kisoboka. Bwe wabaawo ebiwandiiko ebirala gamba ng’ebikwata ku nsawo y’okulabirira ekizimbe oba okuzimba, enteekateeka zirina okukolebwa nabyo byekenneenyezebwe. Nga kino kimaze okukolebwa, ekibiina mukitegeeze bwe munaaba musoma alipoota eddako.

◼ Ebibiina lwe binaddako okutumya ebitabo bisobola n’okusaba akatabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku​—2007, 2007 Calendar of Jehovah’s Witnesses, ne 2007 Yearbook of Jehovah’s Witnesses. Olukalala lw’ennimi ebitabo ebyo mwe biri lujja kuweerezebwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza