LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/06 lup. 1
  • Faayo ku Bantu—Ng’Obuulira Awatali Kusosola

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Faayo ku Bantu—Ng’Obuulira Awatali Kusosola
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Laba Ebirala
  • Abantu ‘ab’Ennimi Zonna’ Bawuliriza Amawulire Amalungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Engeri ez’Enjawulo ez’Okubuuliramu Amawulire Amalungi
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Nnyinimu Bw’Aba Ayogera Lulimi Lulala
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Okukolera Awamu Okusobola Okubuulira mu Kitundu Omuli Abantu Aboogera Ennimi Endala
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 8/06 lup. 1

Faayo ku Bantu​—Ng’Obuulira Awatali Kusosola

1 Mu kwolesebwa, omutume Yokaana yalaba malayika ng’abuuka mu bbanga ery’omu ggulu ng’alina enjiri ey’emirembe n’emirembe okubuulira abantu aba “buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu.” (Kub. 14:6) Tugoberera ekyokulabirako kya malayika ono nga tubuulira awatali kusosola muntu? Tuyinza okuba n’endowooza ezooleka obusosoze nga tetumanyi. Endowooza gye tuba nayo ku bantu be tusanga erina ky’ekola ku ngeri gye tubabuuliramu amawulire amalungi. N’olwekyo, tulina okulaga omukwano ogwa nnamaddala nga tubuulira abantu ab’enjawulo.

2 Lowooza ku Kitundu ky’Obuuliramu: Mu kitundu kyo mulimu abantu ab’amawanga ag’enjawulo oba abanoonyi b’obubudamo? Kyangu obutafaayo ku bantu ng’abo. Bw’obasanga tobabuusa maaso, era gezaako okumanya ebibakwatako. Biki bye beetaaga ne bye beeraliikirira, biki bye baagala ne bye batayagala, era balina ndowooza ki ku mawanga amalala? Fuba okulaba nti bw’oba obabuulira obubaka bw’Obwakabaka obutuukanya n’embeera yaabwe. (1 Kol. 9:19-23) Okufaananako omutume Pawulo, tulina okukimanya nti buvunaanyizibwa bwaffe okubuulira amawulire amalungi buli muntu ali mu kitundu kyaffe, nga mw’otwalidde n’abo abava mu nsi endala, aboogera olulimu lwe tutamanyi era n’abagagga ennyo.​—Bar. 1:14.

3 Kati olwo oyinza otya okubuulira omuntu ayogera olulimi olulala? Kozesa akatabo Good News for People of All Nations. Oyinza n’okuyita ne butulakiti oba bu brocuwa obuli mu nnimi ezitera okwogerwa mu kitundu kyo. (Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjulaayi 2003, lup. 4, kat. 2-3.) Okugatta ku ekyo, ababuulizi abamu bafubye okuyiga okubuulira nga bakozesa ennyanjula ennyangu n’engeri gye balamusa mu nnimi endala. Abantu batera okuwuliriza omuntu bw’agezaako okwogera nabo mu lulimi lwabwe ne bw’aba nga talumanyi bulungi, era kino kiyinza okubaleetera okukkiriza amawulire amalungi.

4 Koppa Yakuwa: Bwe tufaayo okubuulira abantu ab’enjawulo, tuba tukoppa Katonda waffe Yakuwa atasosola, ‘ayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima.’​—1 Tim. 2:3, 4.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza