Nnyinimu Bw’Aba Ayogera
Lulimi Lulala
1. Lwaki obwetaavu obw’okukolaganira awamu nga tubuulira mu kitundu bugenda bweyongera?
1 Emirundi mingi, ababuulizi b’Obwakabaka okwetooloola ensi yonna basanga abantu abaagala okumanya ebisingawo kyokka nga boogera olulimi olutali olwo olukozesebwa mu bibiina byabwe. Okusobola okuyamba abalinga abo mu by’omwoyo, amatabi mangi galabye nga kyetaagisa okutandikawo ebibiina ebikozesa olulimi olulala. Okuva bwe kiri nti ekitundu kiyinza okubaamu abantu aboogera ennimi ezitali zimu, ebibiina ebiwerako ebyogera ennimi ez’enjawulo biyinza okubuulira mu kitundu kye kimu. Ebibiina biyinza bitya okukolera awamu okusobola okukakasa nti omulimu gw’okubuulira gukolebwa mu ngeri entegeke obulungi?—1 Kol. 14:33.
2. Bwe tuba tubuulira nnyumba ku nnyumba, tuyinza tutya okukolagana obulungi n’ebibiina ebirala ebibuulira mu kitundu kyaffe?
2 Okukolagana Obulungi: Omubuulizi bw’aba abuulira ku nguudo oba embagirawo, asaanidde okutuukirira omuntu yenna, nga mw’otwalidde n’abo abayinza okuba nga boogera olulimi olulala, era asobola okumuwa ekitabo ekiri mu lulimi lw’aba ayagala okusoma. Wadde kiri kityo, omubuulizi bw’aba abuulira nnyumba ku nnyumba mu kitundu ekibuulirwamu n’ebibiina ebikozesa olulimi olulala, asaanidde okussa essira ku maka agoogera olulimi olukozesebwa mu kibiina kye. Ebibiina eby’enjawulo bwe biba bibuulira mu kitundu kye kimu, kiba kikulu nnyo okukuuma obulungi ebiwandiiko. Abalabirizi b’obuweereza basaanidde okukolera awamu era n’okukola enteekateeka ezinaaganyula bonna. (Nge. 11:14) Kyokka ate, singa omubuulizi aba abuulira nnyumba ku nnyumba n’asanga omuntu ayogera olulimi olulala, naye nga mu kitundu ekyo tewaliiwo bibiina byogera lulimi olwo, omubuulizi asaanidde okufuba okumuwa obujulirwa era n’okweyongera okumuyamba mu by’omwoyo.
3. Kiki kye tusaanidde okukola singa tusanga ababuulizi okuva mu bibiina ebyogera olulimi olulala nga babuulira mu kitundu ekyo kyennyini kye tubuuliramu?
3 Tukola Omulimu Gwe Gumu: Kiki ekiyinza okukolebwa singa ababuulizi okuva mu bibiina eby’enjawulo beesanga nga babuulira mu kitundu kye kimu, ku lunaku lwe lumu? Kya lwatu nti okwagala okw’Ekikristaayo kujja kubasobozesa okukolagana obulungi wadde nga boogera ennimi za njawulo, era bonna kye bajja okutwala ng’ekisinga obukulu kwe kuyamba abantu b’omu kitundu ekyo. (Yok. 13:34, 35) N’olwekyo, ab’oluganda ababa batwala obukulembeze, bajja kulaga okwagala n’okufaayo nga basalawo obanga ekibiina ekimu kiyinza okugira nga kibuulira mu kitundu ekirala.—Yak. 3:17, 18.
4. Bunnabbi ki obutuukirizibwa leero?
4 Baibuli yalagula nti abantu okuva mu nnimi ez’enjawulo bandiwulidde amawulire amalungi. (Kub. 14:6, 7) Ebibiina byonna ebikwatibwako bwe bikolaganira awamu, kituyamba okwewala okubuulira mu maka ge gamu mu kiseera kye kimu era kitusobozesa okutuusa amawulire amalungi eri abantu bangi, nga mw’otwalidde n’abo aboogera olulimi olulala.—Bef. 4:16.