Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Tusaanidde okusaba nga tuyigiririza omuntu Baibuli ku mulyango?
Okuva embeera bwe zitafaanagana, oyo ayigiriza yeetaaga okukozesa amagezi ng’asalawo ddi lwe yanditandise okusaba n’oyo gw’ayigiriza. Tuyinza okulowooza ku mbeera yennyini ey’omuyizi. Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maaki 2005 olupapula 4, kaagamba: “Bwe tuba n’omuntu gwe tuyigiriza Baibuli, kyetaagisa okutandika era n’okufundikira n’okusaba. Tuyinza okusaba n’abantu abafaayo ku by’eddiini wadde nga twakatandika butandisi okubayigiriza Baibuli. Naye ate bwe tutandika okuyigiriza abo abatafaayo nnyo ku bya ddiini, tuyinza okukozesa amagezi ne tulaba ddi lwe kisaanira okutandika okusaba nabo.”
Ekintu ekirala kye tulina okulowoozaako ye mbeera eri mu kifo kye tusomeramu. Bwe waba tewali bantu, muyinza okutandika okuyiga okwo era ne mukufundikira n’okusaba okumpimpi. Kyokka, bwe kiba nti abantu baja kubatunuulira nga musaba oba ng’oyo gw’oyigiriza kinaamukwasa ensonyi, kiyinza obutabeetaagisa kusaba okutuusa nga mutandise okusomera mu kifo ekitaliimu bantu.
◼ Mwannyinaffe yandisibye akatambaala ku mutwe singa aba alina gw’ayigiriza Baibuli ku mulyango ng’awerekeddwako omubuulizi omusajja?
Yee. Mwannyinaffe bw’aba ng’alina omuyizi wa Baibuli ow’enkalakkalira gw’agenda okuyigiriza ng’awerekeddwako omubuulizi omusajja, asaanidde okusiba akatambaala ku mutwe. (1 Kol. 11:3-10) Bw’atyo bw’asaanidde okukola, ka kibe nti bagenda kuyigira mu nnyumba, ku mulyango, oba mu kifo ekirala. Watchtower aka Jjulaayi 15, 2002, olupapula 27, kannyonnyola: “Enteekateeka eno ey’okuyigiriza omuntu eba yakolebwa dda era ng’oyo akubiriza okuyiga okwo y’abeera ayigiriza. Okuyigiriza okw’engeri eno kuba kufaananyeko n’okwo okubaawo mu kibiina. Singa Omujulirwa omukyala nga mubatize abaako gw’ayigiriza ng’ali n’Omujulirwa omusajja, alina okusiba akatambaala ku mutwe.” Era yandikoze kye kimu singa aba awerekeddwako omubuulizi omusajja atali mubatize.
Ku luuyi olulala, bw’aba azzeeyo eri omuntu atannafuuka muyizi wa Baibuli, kiba tekimwetaagisa kusiba katambaala ku mutwe ng’ali n’omubuulizi omusajja. Kino kiba bwe kityo ka kibe nti ekigendererwa eky’okuddayo eri omuntu oyo kya kumulaga ngeri gye tuyigamu Baibuli oba okumulaga ebiri mu kamu ku butabo bwe tuyigiririzaamu. Okuva bwe kiri nti abantu be tukubaganya nabo ebirowoozo ku mulyango kitwetaagisa okubaddira emirundi egiwerako ne balyoka bafuuka abayizi ba Baibuli, ababuulizi beetaaga okukozesa amagezi okusobola okumanya ddi lwe bayinza okutandika okusiba akatambaala ku mutwe.