Oyinza Okukyusa mu Nteekateeka Yo?
1. Lwaki twandikyusizzakyusizza mu nteekateeka yaffe ey’okubuulira?
1 Ng’Abakristaayo ab’amazima, twakkiriza okubeera “abavubi b’abantu.” (Mat. 4:19) Okufaananako abavubi b’ebyennyanja, tusobola okufuna ebibala ebisingako obulungi mu mulimu gw’okuvuba abantu singa tufuba okubuulira mu biseera abantu we babeerera awaka. Abantu abasinga obungi batera okubeera awaka mu biseera eby’akawungeezi. Mu biseera ebyo baba tebalina bya kukola bingi era nga tebakaluubirirwa nnyo ng’omuntu abakyalidde. Oyinza okukyusa mu nteekateeka yo n’obuulira mu biseera ebyo?—1 Kol. 9:23.
2. Biki bye tuyinza okukola okusobola okutuusa amawulire amalungi ku bantu?
2 Okubuulira Akawungeezi: Singa tukola enteekateeka okubuulira mu biseera eby’akawungeezi, kiyinza okutuyamba okubuulira abantu abawerako amawulire amalungi. (Nge. 21:5) Abavubuka bayinza okubuulira nga bavudde ku ssomero. Abalala bayinza okubuulira nga bavudde ku mulimu. Ababuulizi abamu bakola enteekateeka okubuulirayo essaawa ng’emu ne bannaabwe mu bitundu gye basomera ekitabo ng’olukuŋŋaana olwo terunnatandika.
3. Ebiseera eby’akawungeezi oyinza kubikozesa otya okubuulira?
3 Okubuulira nnyumba ku nnyumba mu biseera eby’akawungeezi, kiyinza okutuyamba okubuulira abo be tutatera kusanga waka. Mu bitundu bingi, kisoboka okubuulira ku nguudo ne mu bifo ebirala ebya lukale mu biseera eby’akawungeezi. Ate era bangi bakizudde nti ebiseera eby’akawungeezi bye bisingayo obulungi okuddayo eri abo be baabuulirako era n’okufuna abayizi ba Baibuli.
4. Lwaki kikulu okukozesa amagezi n’okweyisa mu ngeri eraga nti tufaayo ku balala nga tubuulira akawungeezi?
4 Kozesa Amagezi: Kyetaagisa okukozesa amagezi ng’obuulira mu biseera eby’akawungeezi. Emirundi egisinga kiba kirungi okubuulira ng’obudde tebunnawungeera nnyo, mu kifo ky’okugenda mu mayumba g’abantu nga beeteekateeka kwebaka. (Baf. 4:5) Bw’okonkona ku luggi, yimirira we banaakulabira obulungi era weeyanjule bulungi. Yogera mangu ekikututte. Bw’oba ng’otuukidde mu kiseera kikyamu, ka tugambe nga balya, bategeeze nti ojja kudda olulala. Bulijjo weeyise mu ngeri eraga nti ofaayo ku balala.—Mat. 7:12.
5. Tuyinza tutya okuba abeegendereza nga tubuulira?
5 Ate era tulina okwegendereza. Bwe muba mubuulira akawungeezi oba ng’obudde bukutte, kiba kya magezi okutambula babiri babiri oba n’okusingawo. Mutambulire ku nguudo eziriko amataala bwe kiba kisoboka era nga zirimu abantu. Mubuulire mu bifo ebyo byokka bye mulaba nti si bya kabi. Mwewale ebifo ebiyinza okuba eby’omutawaana ng’obudde buzibye.—Nge. 22:3.
6. Muganyulo ki omulala oguli mu kubuulira akawungeezi?
6 Bwe tubuulira akawungeezi kiyinza okutusobozesa okubuulira awamu ne bapayoniya abawagizi oba abo aba bulijjo. (Bar. 1:12) Oyinza okukyusa mu nteekateeka yo osobole okwenyigira mu kubuulira okw’akawungeezi?