LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/06 lup. 5
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 4/06 lup. 5

Ebirango

◼ Apuli ne Maayi: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’oddayo okukyalira abantu abaagala okumanya ebisingawo, nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo ku Kijjukizo oba mu lukuŋŋaana olulala lwonna naye nga tebatera kujja mu nkuŋŋaana, laba nti obawa akatabo akapya Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Twandibadde n’ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli awaka nga tukozesa akatabo ako. Jjuuni: Tujja kugaba ekitabo Learn From the Great Teacher. Abo abagamba nti tebalina baana, tusobola okubawa akatabo Okumanya. Fuba okufuna b’oyigiriza Baibuli. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino eziddirira ez’empapula-32 eyinza okugabibwa: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, “Look! I Am Making All Things New,” Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, The Government That Will Bring Paradise, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo​—Olizudde?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, What Is the Purpose of Life​—How Can You Find It?, Katonda Atwetaagisa Ki? ne When Someone You Love Dies. Mu bitundu ebimu, brocuwa zino wammanga ziyinza okugabibwa: A Book for All People, A Satisfying Life​—How to Attain It, Our Problems​—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo gy’Abafu​—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, ne Will There Ever Be a World Without War?

◼ Abawandiisi b’ebibiina basaanidde okubeera ne foomu ezimala Okusabirwa Okukola nga Payoniya Owa Bulijjo (S-205), n’ezo Okusabirwa Okukola nga Payoniya Omuwagizi (S-205b). Zino ziyinza okusabibwa ku Foomu Okusabirwa Ebitabo (S-14). Beera ne foomu ezinaamala omwaka gwonna. Nga tonaaweereza ku ttabi foomu okusabirwa okukola nga payoniya owa bulijjo, kakasa nti zijjuziddwamu bulungi.

◼ Kyetaagisa ofiisi y’ettabi okubeera n’ebiwandiiko ebituufu eby’endagiriro n’ennamba z’essimu ez’abawandiisi era n’ez’abakadde abakubiriza obukiiko bw’abakadde. Bwe wabaawo enkyukakyuka yonna mu ndagiriro, Akakiiko k’Obuweereza ak’Ekibiina kandijjuzizzaamu foomu eyitibwa Presiding Overseer/Secretary Change of Address (S-29), ne kagissaako emikono era n’eweerezebwa ku ofiisi y’ettabi amangu ddala.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza