LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/06 lup. 4
  • Obasaba Bakubuulire Abalala Abandyagadde Okuyiga?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Obasaba Bakubuulire Abalala Abandyagadde Okuyiga?
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Laba Ebirala
  • Okuyigiriza Omuntu Bayibuli n’Atuuka Okubatizibwa​—Ekitundu eky’Okubiri
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyamba Abo Abalina ‘Endowooza Ennuŋŋamu’ Okufuuka Abayigirizwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Amagezi Ga Mirundi Etaano Agayinza Okutuyamba Okufuna Omuyizi wa Bayibuli
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Yamba Abayizi Bo Aba Bayibuli Okubatizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 4/06 lup. 4

Obasaba Bakubuulire Abalala Abandyagadde Okuyiga?

Bw’oba olina omuntu gw’oyigiriza Baibuli, lwaki tomubuuza oba ng’alina mikwano gye, ab’eŋŋanda ze oba abantu abalala b’amanyi abandyagadde okuyiga Baibuli? Ayinza okukubuulira abantu abawerako. Bw’aba nga tafaayo, oyinza okubategeeza ng’obakyalidde nti omuyizi wo ye yakulagiridde. Oyinza okugamba nti, “[erinnya ly’omuyizi wo] anyumirwa nnyo okusoma Baibuli era alowooza nti naawe wandyagadde okuyigirizibwa Baibuli ku bwereere.” Oluvannyuma, mulage engeri gye tuyigamu Baibuli n’abantu, ng’okozesa akatabo Baibuli ky’Eyigiriza.

Bw’oba olina omuyizi wa Baibuli akulaakulana obulungi, oyinza okumukubiriza ategeeze mikwano gye n’ab’omu maka ge engeri gy’ayigamu Baibuli. Ayinza okubayita ne babeerawo ng’omuyigiriza. Ekyo bwe kiba tekisoboka, ayinza okukola enteekateeka obakyalire obalage engeri gye tuyigirizaamu abantu Baibuli. Ekyo kiyinza okukubiriza omuyizi oyo okutandika okubuulira abalala by’ayiga mu Baibuli.

Abo b’otera okukyalira okunyumyako nabo ku Baibuli, nabo bayinza okukubuulirayo abantu abalala abandyagadde okuyiga Baibuli, wadde nga bo bennyini tebannafuukira ddala bayizi ba Baibuli. Bw’oba obatwalidde akatabo Baibuli ky’Eyigiriza, oyinza okubabuuza, “Eriyo omuntu omulala gw’omanyi eyandyagadde akatabo kano?”

Olw’obukulu bw’ebiseera bye tulimu, twagala okukola kyonna ekisoboka okuyamba abantu okuwulira era n’okukkiriza amawulire amalungi. Obasaba bakubuulire abalala abandyagadde okuyiga?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza