Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Apuli 24, 2006. Omulabirizi akubiriza essomero ajja kukubiriza essomero mu ddakiika 30, nga lyesigamiziddwa ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Maaki 6 okutuuka nga Apuli 24, 2006. [Weetegereze: Bwe watabaawo kitabo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okunoonyereza osobola okufuna eky’okuddamu.—Laba ekitabo Ssomero ly’Omulimu, emp. 36-7.]
ENGERI ENNUNGI EZ’OKWOGERAMU
1. Bwe tuba tuyigiriza, lwaki tulina okusiriikiriramu buli lwe tuba tugenda ku nsonga endala, naye kiki ekiyinza okutulemesa okukola ekyo? [be-LU lup. 98 but. 2-3]
2. Lwaki kikulu okusiriikiriramu bwe tuba tubuulira? [be-LU lup. 99 kat. 5–lup. 100 kat. 3]
3. Lwaki kikulu okuggumiza ebigambo ebiggyayo amakulu nga tuwa emboozi, era ekyo tuyinza tutya okukikola mu ngeri ennungi? [be-LU lup. 101 but. 1-5, n’akasanduuko]
4. Bwe tuba nga tusoma mu ddoboozi eriwulikika, tusobola tutya okukakasa nti tuggumiza ensonga enkulu? [be-LU lup. 105 but. 1-6]
5. Lwaki tusaanidde okukozesa eddoboozi erisaanira nga tuyigiriza, era tusobola tutya okumanya eddoboozi lye tusaanidde okukozesa? [be-LU emp. 107-8]
EMBOOZI 1
6. Embeera Abakristaayo gye balimu leero efaanagana etya n’eyo Eseza ne Moluddekaayi gye baalimu, era tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kyabwe? [bsi06-LU lup. 11 kat. 17]
7. Sulemaani bwe yagamba nti “byonna butaliimu na kugoberera mpewo,” kiki kye yali ayogerako? (Mub. 2:11) [w04 10/15 lup. 4 but. 3-4]
8. Biki ebiyinza okutuyamba okweyongera okwagala Katonda? (Mak. 12:30) [5, w04 3/1 lup. 19-21]
9. Njawulo ki eriwo wakati w’okuluubirira eby’obugagga eby’omwoyo n’okuluubirira eby’obugagga eby’omubiri? [w04 10/15 lup. 5-7]
10. Biki ebiyinza okutuyamba okuwuliriza obulungi nga tuli mu nkuŋŋaana ennene? [be-LU lup. 15-16]
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Lwaki Kamani baamubikka ku maaso? (Es. 7:8)
12. Kitonde kya ngeri ki eky’omwoyo ekyaleetera Erifaazi okuba n’endowooza eyo gye yalina? (Yobu 4:15, 16) [2, w05 9/15 lup. 26 kat. 2]
13. Ebigambo Yobu bye yayogera ebiri mu Yobu 7:9, 10 ne Yobu 10:21 biraga nti yali takkiririza mu kuzuukira?
14. Yobu ayinza okuba nga yali ategeeza ki bwe yagamba nti “mponye n’eddiba ly’okumannyo gange”? (Yobu 19:20)
15. Kiki Yobu kye yali ategeeza bwe yagamba nti, “ssiryeggyako obugolokofu bwange,” era kiki kye tuyinza okuyigira mu ekyo? (Yobu 27:5)