LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 11/05 lup. 3-6
  • Weeyise mu Ngeri Eweesa Yakuwa Ekitiibwa Ekitundu 1​—Mu Maka

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Weeyise mu Ngeri Eweesa Yakuwa Ekitiibwa Ekitundu 1​—Mu Maka
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Emitwe emitono
  • Obufumbo Tubutwala Tutya?
  • Ow’Okufumbiriganwa Naye
  • Obuvunaanyizibwa bw’Omusajja
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 11/05 lup. 3-6

Lutereke

Weeyise mu Ngeri Eweesa Yakuwa Ekitiibwa Ekitundu 1​—Mu Maka

1, 2. Okujjukizibwa kulina kifo ki mu bulamu bwaffe?

1“Ng’oyo eyabayita bw’ali omutukuvu era nammwe mubeerenga batukuvu mu mpisa zonna; kubanga kyawandiikibwa nti Munaabanga batukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu.”​—1 Peet. 1:15, 16.

2 Okumala emyaka mingi Yakuwa akozesezza ekibiina kye okutuyamba okukyusa endowooza zaffe. Leero, abasinga obungi ku ffe tumanyi bulungi engeri y’okutambuzaamu obulamu bwaffe nga tugoberera emisingi gy’omu Byawandiikibwa. Kyokka, tuganyulwa nnyo bwe tujjukizibwa egimu ku misingi gino. Ate eri abo abaakatandika okuweereza Yakuwa baganyulwa nnyo n’okusingawo.​—Bar. 12:2; 2 Peet. 1:12; 3:1.

Obufumbo Tubutwala Tutya?

3. Menyayo abaweereza ba Yakuwa abataali bafumbo.

3 Katonda ye yatandikawo obufumbo, naye ddala bwe bwokka obuleeta essanyu? (Mub. 12:13; Mak. 12:30) Baibuli eyogera ku bantu bangi abaaweereza Yakuwa nga basanyufu wadde nga tebaali bafumbo. Muwala wa Yefusa yatuukiriza obweyamo bwa kitaawe n’asigala nga si mufumbo mu bantu abaali batwala obufumbo n’okuzaala abaana ng’ekintu ekikulu nnyo. (Balam. 11:34-40) Bawala ba Firipo abana abataali bafumbo, “baalagulanga,” era awatali kubuusabuusa baafuna essanyu mu kuweereza Yakuwa. Yesu, akiikirira ‘Katonda omusanyufu,’ teyawasa. (Bik. 21:8, 9; 1 Tim. 1:11) N’olwekyo, tekiba kituufu okunnyooma Abakristaayo abaweereza Yakuwa nga si bafumbo.

4. Ndowooza ki enkyamu ekwata ku bufumbo?

4 Okusinza bajjajja abaafa kireetawo endowooza enkyamu ku bufumbo. Endowooza egamba nti omuntu alina “okwaza” ekika kye, eyinza okuleetera abamu okulowooza nti bateekeddwa okuyingira obufumbo n’okuzaala abaana. Abamu bakkiriza nti obutayingira bufumbo oba obutazaala kijja kunyiiza bajjajja abaafa. Kyokka, ffe ng’Abakristaayo tukimanyi nti abafu “tebaliiko kye bamanyi.” Beebase, era tulina essuubi nti bajja kuzuukira. (Mub. 9:5; Bik. 24:15) Abakristaayo bonna basaanidde okwewala endowooza enkyamu, era tewali n’omu ateekeddwa kunyooma abo abatali bafumbo.

5. (a) Ebyawandiikibwa byogera ki ku bufumbo? (b) Abamu abatali bafumbo bakulembeza batya Obwakabaka?

5 Endowooza etagudde lubege ekwata ku bufumbo esangibwa mu 1 Abakkolinso 7:8, 9, 28, 32-34, ne 38. Abakristaayo tebagaanibwa kuyingira bufumbo. Mu butuufu, abo abatalina ssanyu olw’okuba si bafumbo oba abo abayinza okutwalirizibwa ebikolwa eby’obugwenyufu, kiba kirungi ne bayingirira obufumbo. Obufumbo bujja kugonjoola ebizibu ebimu, naye ate buleetewo ebirala. Omutume Pawulo yagamba nti, abatali bafumbo ‘bakola bulungi’ mu ngeri ey’eby’omwoyo, singa basigala nga si bafumbo. Baganda baffe ne bannyinnaffe bangi basazeewo okusigala nga si bafumbo​—abamu okumala akaseera, ate abalala obulamu bwabwe bwonna. Baganda baffe ne bannyinnaffe bangi abatali bafumbo baweereza nga bapayoniya aba bulijjo oba ab’enjawulo. Abalala baweereza nga bannakyewa mu maka ga Beseri. Yakuwa teyeerabira bwesigwa bwabwe. (Beb. 6:10) Abazadde, temwandisanyuse nnyo singa abaana bammwe benyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna okumala akaseera nga tebannayingira bufumbo?

Ow’Okufumbiriganwa Naye

6, 7. (a) Lwaki kikulu okuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe”? (b) Biki by’olina okunoonya mu oyo gw’oteekateeka okufumbiriganwa naye?

6 Ebyawandiikibwa bigamba nti tetulina kwegatta na batakkiriza. (2 Kol. 6:14, 15) Omukristaayo asuula omuguluka okubuulirira okwo aba takozesezza magezi. Omuntu atali mukkiriza ayinza okulabika ng’omukkakkamu era ayagala amazima nga tannafumbiriganwa na Mukristaayo. Ayinza n’okuba ng’ajja mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Kyokka, enneeyisa ye eyinza okukyuka oluvannyuma lw’okufumbiriganwa. Ng’ogyeko ekyo, tetusaanidde kulowooza nti Yakuwa ajja kuwa omukisa abo abayingira obufumbo nga bamaze kumenya mateeka ge mu bugenderevu.​—Yobu 9:4b.

7 Ne bwe kuba kuwasa oba kufumbirwa “mu Mukama waffe,” kyetaagisa okukozesa amagezi. (1 Kol. 7:39) Weetegereze bulungi gw’oyagala okufumbiriganwa naye nga tonneyama kumufumbirwa oba kumuwasa. Noonya oyo asiima ebintu eby’omwoyo, ey’esomesa Baibuli, omuwombeefu, ow’ekisa era omuwulize eri Yakuwa. Yogerako n’Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo era abamanyi obulungi oyo gw’oyagala okufumbiriganwa naye. Kiri kitya singa oluvannyuma lw’ebyo ofuna enkenyera? Akatabo Ekyama ky’Okufuna Essanyu mu Maka kagamba: “Ka kibe ng’owulira okwagala kwenkana wa oba wadde ng’oyagala nnyo okuyingirira obufumbo, tobuusa maaso bikyamu bya maanyi. (Engero 22:3; Omubuulizi 2:14) Bw’oba obadde n’enkolagana n’omuntu gw’olinamu enkenyera ey’amaanyi, kiba kya magezi okukomya enkolagana eyo n’obuteeyama kufumbiriganwa naye.” Okuva obufumbo bwe buli obw’olubeerera, tetwandibuyingiddemu nga tetwekakasa.​—Mat. 19:5, 6.

Obuvunaanyizibwa bw’Omusajja

8. Engeri omwami gy’atwalamu obukulembeze ekwata etya ku kusinza kwe?

8 Omusajja bw’awasa aba alina okwerekereza ebintu ebimu, era kino abasajja abamu bakisanga nga kizibu. Omusajja Omukristaayo akimanyi nti obufumbo butukuvu. Singa alemererwa okulabirira obulungi mukyala we, enkolagana ye ne Yakuwa eyonooneka. (1 Tim. 5:8) Mu kifo ky’okufuga mukazi we, amukwata n’ekisa ng’afaayo ku nneewulira ze. (1 Peet. 3:7) Ajja kumuyambako ku mirimu gy’awaka bwe kiba kyetaagisa. Emyaka egiyise, magazini eya Awake! yagamba: “Wadde nga abasajja bangi mu mawanga agamu tebakyagala, wandibaddewo enteekateeka ey’okukolera awamu emirimu gy’awaka naddala omukyala bwaba nga naye agenda n’akola.” Naddala omusajja alina okufaayo ku mbeera ya mukazi we ey’eby’omwoyo, ng’atwala obukulembeze mu kuyiga kw’amaka, mu buweereza bw’ennimiro, ne mu mirimu emirala egy’Ekikristaayo.

9. Omusajja ayinza atya okufaayo ku nneewulira ya mukazi we n’okukola ku byetaago bye eby’omubiri?

9 Omusajja Omukristaayo bw’akoppa ekyokulabirako kya Yesu era n’agoberera okubuulirira kwe, ajja kuba ayagala mukyala we nga bwe yeeyagala yekka. (Mat. 19:19; Bef. 5:28) Kino kirina okweyolekera mu ngeri gy’ayisaamu mukyala we. Ng’ekyokulabirako, omwami teyandisoose kulya ye naamulekerawo ebifisse. Mukyala we tamuwaako kimu kya kubiri eky’omusaala gwe okulabirira amaka ate ekitundu ekirala nakyesigaliza. Omusajja ajja kukolera wamu ebintu ne mukazi we era amuwulirize.

10. Nsonga ki ekwata ku bukulembeze omusajja Omukristaayo gy’alina okunnyonnyola obulungi ab’eŋŋanda ze?

10 Mu bitundu ebimu, omukazi omufumbo atwalibwa ng’eky’obugagga ekiri mu maka so si ng’omuyambi wa bba. Ab’eŋŋanda z’omusajja bayinza okwagala okubeera n’obuyinza ku mukyala w’omusajja Omukristaayo. Naye Baibuli egamba nti abakazi balina kuwulira ‘babbaabwe.’ (Bef. 5:24) Omukyala ajja kussa ekitiibwa mu b’eŋŋanda za bba, naye alina kugondera bbaawe. Kyandibadde kirungi omusajja Omukristaayo okunnyonnyola obulungi eb’eŋŋanda ze ensonga ekwata ku bukulembeze mukyala we aleme kukaluubirizibwa.

Obuvunaanyizibwa bw’Omukyala

11. Omukazi yandibadde na ndowooza ki ku bbaawe, era endowooza eyo Yakuwa agitwala atya?

11 Okufaananako omwami, n’omukyala Omukristaayo naye aba takyalina ddembe ng’eryo lye yalina nga tannafumbirwa. Kati bali omubiri gumu ne musajja we era ‘mubeezi’ we. (Lub. 2:18) Ajja kukulaakulanya ‘obuwombeefu n’obuteefu, eby’omuwendo omungi mu maaso ga Katonda.’ (1 Peet. 3:1-6) Omwami we bw’amulaga ekisa, tamutwala ng’omunafu era n’agezaako okweddiza obukulembeze. Mu kifo kyekyo, ajja kufuba okugoberera obukulembeze bw’omwami we. Yakuwa ajja kuba musanyufu olw’obuwulize bwe.

12. Wandinnyonnyodde otya omukyala atya Katonda ayogerwako mu Engero 31:10-31?

12 Abakazi abatya Katonda basaanidde okusiimibwa ennyo olw’engeri zaabwe ennungi. Tusaanidde okwekenneenya ebyo ebyogerwa ku mukazi omwegendereza ayogerwako mu Engero 31:10-31. Omukazi oyo yali takoma ku kulabirira bulabirizi ba mu nnyumba ye, naye era yeenyigiranga mu by’obusuubuzi era ng’alina n’ennimiro. Mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku,’ abakazi bangi bakola emirimu gye bafunamu ssente. (2 Tim. 3:1) Kyokka, omukyala ne bwaba ng’akola emirimu ng’egyo, aba alina ‘okulabirira ab’omu nnyumba ye.’ (Nge. 31:27) Buno buvunaanyizibwa bwe, so si bwa mukozi ali awaka oba ab’eŋŋanda. Embeera bwe ziba zibasobozesa, amaka Amakristaayo gajja kuganyulwa nnyo singa omukyala asalako ku ssaawa zaamala ku mulimu.

Okwetaba mu Bufumbo

13. Lwaki omusajja alina okufaayo ku mukyala we ku bikwata ku by’okwetaba?

13 Endowooza y’ensi ku kwetaba ya njawulo nnyo ku ya Yakuwa. Kyokka, omusajja Omukristaayo agoberera okubuulirira kwa Yakuwa n’alaga mukyala we okwagala ne mu nsonga z’okwetaba. Afaayo ku mbeera ze era tamukaka kukola kintu kyonna ky’atayagala. Nga koogera ku nsonga eno Watchtower aka Jjuuni 1, 1989, kaagamba: “Mu Isiraeri, amateeka gassaawo ekkomo ku by’okwetaba wadde ne mu bufumbo. Omusajja teyalinanga kwetaba na mukazi we bwe yabanga mu nsonga z’ekikyala oba nga si mulongoofu. (Leev. 15:24; 18:19; 20:18) Kino kyali kyetaagisa okufaayo n’okwefuga ku ludda lw’abasajja Abaisiraeri. Kati olwo abasajja Abakristaayo tebandifuddeyo ku bakazi baabwe mu ngeri yemu? Omutume Peetero yagamba nti abasajja Abakristaayo balina okubeera ne bakazi baabwe ‘n’amagezi’ kwe kugamba, nga babakwata ‘ng’ekibya ekisinga obunafu.’​—1 Peetero 3:7.”

14. Omwami n’omukyala bayinza batya okwewala ‘okummaŋŋananga’ bwe kituuka ku by’okwetaba?

14 Ku luuyi olulala, Baibuli ebuulirira bw’eti abafumbo: “Temummaŋŋananga [mu by’okwetaba].” (1 Kol. 7:3, 5) Abafumbo tebandikozesezza bya kwetaba olw’okwefunira bye baagala. Ate era, tekyandibadde ky’amagezi abafumbo okwawukana okumala ekiseera ekiwanvu olw’emirimu. Kya bulijjo omusajja okukolera mu kibuga, mukyala we n’asigala mu kyalo. Ekintu ng’ekyo ekitali kya magezi kiwa Setaani ebbanga okukema omwami n’omukyala.

Okuzaala Abaana n’Okubatendeka

15. Abo abasalawo okulindako okuzaala abaana olw’Obwakabaka bafuna mikisa ki?

15 Abaana kya busika okuva eri Yakuwa, era baleetera bazadde baabwe essanyu. (Zab. 36:9; 127:3) Oluvannyuma lw’okwetegereza embeera gye balimu, abafumbo balina eddembe okusalawo oba bazaala abaana oba nedda. Yakuwa awadde omukisa abo abasalawo okulindako okuzaala abaana basobole okukulembeza eby’Obwakabaka. Bangi ku bo baweereza nga bapayoniya aba bulijjo, oba ab’enjawulo, abamu balabirizi abatambula, ate abalala bannakyewa mu maka ga Beseri.a Kyokka, abafumbo bangi basalawo okuzaala abaana. Kati olwo kiki kye bandikoze?

16. (a) Lwaki ky’amagezi obutaba na baana bangi? (b) Abafumbo balina kwegendereza ki bwe baba balondawo engeri y’okweziyizaamu okuzaala?

16 Abakristaayo bavunaanyizibwa eri Yakuwa okukuza obulungi abaana baabwe, naye abamu kibazibuwalira okulabirira abaana abangi. N’olwekyo, kikulu abazadde okukkiriziganya ku baana bameka be banaazaala. Abakristaayo bandikozesezza engeri eziziyiza okuzaala basobole okwewala okuba n’abaana abangi? Abafumbo be balina okwesalirawo. Kyokka, Awake! aka Febwali 22, 1993 kaagamba nti: “Engeri ey’okuziyiza okuzaala abafumbo Abakristaayo gye balondawo okukozesa erina okuba ng’ebasobozesa okussa ekitiibwa mu bulamu. Okuva Baibuli bw’eraga nti obulamu bw’omuntu butandika ng’eggi ly’omukazi lyegasse n’ery’omusajja, Abakristaayo balina okwewala engeri ezitta obulamu obwo obwakatondebwa. . . . Abasawo n’abo abakola ku by’okuziyiza okuzaala, basobola okubawa amagezi ku ngeri eziziyiza okuzaala n’okubayamba okulondawo engeri esinga obulungi.”

17, 18. (a) Okusoma kw’amaka kuyamba kutya mu kugunjula abaana? (b) Waayo ekyokulabirako ku ngeri abazadde gye bayinza okutendekamu abaana okukozesa obusobozi bwabwe obw’okulowooza nga basinziira ku Byawandiikibwa.

17 Waliwo ekintu ekikulu n’okusinga okulabirira amaka mu by’omubiri. Baibuli ekubiriza bataata ‘okukangavvula n’okubuulirira’ abaana baabwe ‘mu kuyigiriza kwa Yakuwa.’ (Bef. 6:4) Ekyo kizingiramu ki? Kizingiramu okubayamba okufuuka abaweereza ba Yakuwa abeesigwa. Okusobola okutuukiriza kino, abazadde balina okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi. (Yok. 5:19) Taata alina okukyusa mu nteekateeka ze asobole okutwala obukulembeze mu kusinza Yakuwa. Kijjukire nti kyetaagisa ebiseera bingi, okwagala, era n’okufaayo okusobola okutendeka buli mwana. Singa abazadde buli kiseera baba bakyalidde mikwano gyabwe mu kifo ky’okubeera n’abaana baabwe, abaana be bajja okufiirwa.

18 Abaana bwe bakulamu, bayigirize okukozesa obusobozi bwabwe obw’okulowooza. Mu kifo ky’okubagamba nti “kino kibi,” “ebyo tetubikola,” oba “ekyo tekikkirizibwa,” bannyonnyole okuva mu Byawandiikibwa lwaki ebintu ebimu bikyamu. Ng’ekyokulabirako, bw’oba obannyonnyola engeri Yakuwa gy’atunuuliramu obulamu bw’ensolo, oyinza okukozesa ekyawandiikibwa ekiri mu Yona 4:11, ekiraga nti Yakuwa teyalaga bantu be Nineeve bokka ekisa wabula “n’ensolo [zaabwe] ennyingi.” Era, balage ensonga lwaki kirungi okwebaza, okwogera amazima, n’okuba abayonjo. Ekitabo Learn From the Great Teacher kyakubibwa okukuyamba okuyigiriza abaana abato emisingi gya Katonda nga gino.

19. Biruubirirwa ki eby’eby’omwoyo abazadde bye bayinza okuteerawo abaana baabwe?

19 Abaana bo bateerewo ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo. Kubaganya nabo ebirowoozo ku miganyulo egiri mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Saba bapayoniya bakukyalire mu maka go. Bwe kiba kisoboka abaana bo batwale balambule ku Beseri. Mu kiseera eky’oluwummula, kubiriza abaana ababatize okuweereza nga bapayoniya abawagizi. Kyo kituufu nti, okutendeka abaana mu ngeri eno kiyinza okwawukana ku ndowooza y’abalala. Kyokka, okubatendeka mu ngeri eyo kisobozesa amaka okuba amanywevu era amasanyufu.

20. Abazadde bayinza batya okugoberera okubuulirira okuli mu Ekyamateeka 6:6, 7?

20 Mu bitundu ebisinga obungi mu Afirika, abaana batwalibwa ng’eky’okwekuumisa mu biseera eby’obukadde. Abazadde abalina endowooza ng’eno batera nnyo okusiima abaana olw’ebyo bye bakola ku ssomero kyokka ne batabasiima olw’ebyo bye bakola mu kibiina Ekikristaayo. Ate abalala beetegefu okutwala abaana baabwe mu masomero ag’ebisulo agamanyiddwa olw’okusomesa obulungi kyokka nga tegabasobozesa kuweereza Yakuwa. Abaana abamu banafuye mu by’omwoyo nga bali mu masomero ng’ago era ne batuuka n’okwenyigira mu mikolo gy’eddiini ez’obulimba. Abazadde ng’abo ddala baba balemereddwa okulabirira abaana baabwe mu by’omwoyo.​—Ma. 6:6, 7.

21. Obuyigirize twandibutunuulidde tutya?

21 Kyetaagisa okuba n’endowooza etagudde lubege ku buyigirize. Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Agusito 1999 kaagamba: “Okufuna obuyigirize obwetaagisa ng’okyali muto kisobola okukuyamba okusoma n’okuwandiika obulungi . . . Bw’ofuna obuyigirize, oyiga okulowooza obulungi, okwekenneenya ensonga, okugonjoola ebizibu, n’okuba n’ebirowoozo ebizimba.” Yee, obuyigirize obumala bwa mugaso nnyo eri abaana bonna. Kyokka, abaana bangi abagenze mu bisulo oba abo abaluubiridde obuyigirize obwa waggulu bavudde mu mazima. Abalala abaalina ekiruubirirwa eky’okuweereza nga bapayoniya baatandika okuluubirira eby’obugagga oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo mu matendekero aga waggulu. Obuyigirize ng’obwo bw’akabi nnyo eri embeera yaabwe ey’eby’omwoyo! Obuyigirize omwana bwasinga okwetaaga bwebwo obukwata ku misingi gya Baibuli. Omwana alina okuyiga okutendereza Yakuwa. Abazadde abakubiriza abaana baabwe okugenda mu buweereza obw’ekiseera kyonna baba n’obwesige nti Yakuwa tajja kubalekerera mu myaka gyabwe egy’obukadde.​—Zab. 37:25.

22. Mikisa ki egiri mu kuba n’amaka agatya Katonda?

22 Okuba n’amaka agatya Katonda kyetaagisa ebiseera n’okufuba. Ojja kufuna emikisa mingi singa obuvunaanyizibwa bwo ng’omuzadde obutwala nga bukulu. Bonna abali mu maka bajja kuba basanyufu era bajja ‘kulaba ebirungi ebiva mu kutegana kwabwe.’​—Mub. 2:24; 3:12, 13.

[Obugambo obuli wansi]

a Ng’ekyokulabirako, laba Watchtower eya Agusito 1, 2000, empapula 20-3.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza