Ebirango
◼ Noovemba: Tujja kugaba ekitabo Learn From the Great Teacher. Abo abagamba nti tebalina baana, tujja kubawa akatabo Okumanya oba tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? Ddesemba: Tujja kugaba ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived. Oba tuyinza okugaba ebitabo ebirala, nga Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli, Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi, ne The Bible—God’s Word or Man’s bwe biba nga weebiri mu kibiina. Era tusobola n’okugaba New World Translation of the Christian Greek Scriptures mu Luswayiri. Jjanwali 2006: Tujja kugaba obutabo obw’empapula 192 obulina empapula ezimyukiridde oba akatabo konna akaakubibwa ng’omwaka 1991 tegunnatuuka. Ebibiina ebitalina bitabo bino biyinza okugaba akatabo Mankind’s Search for God bwe kaba nga weekali mu kibiina. Era tusobola n’okugaba New World Translation of the Christian Greek Scriptures mu Luswayiri. Febwali: Tujja kugaba akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Katonda. Ebibiina ebitalina katabo kano biyinza okukozesa ebitabo ebirala ebikadde ebiri mu kibiina. Era tusobola n’okugaba New World Translation of the Christian Greek Scriptures mu Luswayiri.
◼ Omukadde akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu omulala gw’aba alonze asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina nga Ddesemba 1 oba amangu ddala nga bwe kisoboka. Bwe kiba nti waliwo ensawo endala gamba ng’ekwata ku kulabirira ekizimbe oba okuzimba, enteekateeka zirina okukolebwa okwekenneenya ebiwandiiko ebikwata ku nsawo eyo. Nga kino kimaze okukolebwa, mutegeeze ekibiina bwe muba musoma lipoota y’eby’embalirira eddako.
◼ Bwe kiba kituukirawo, omuwandiisi wa buli kibiina ekirina Ekizimbe eky’Obwakabaka, alina okukakasa oba nga baggibwako obuvunaanyizibwa obw’okukisasulira busuulu.
◼ Mu wiiki etandika nga Apuli 17, 2006, tujja kutandika okusoma akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? mu Kusoma Ekitabo okw’Ekibiina. Ebibiina birina okukakasa nti birina obutabo buno nga buli mu nnukuta entono n’ennene.
◼ Vidiyo eyitibwa Transfusion-Alternative Health Care—Meeting Patient Needs and Rights ejja kukubaganyizibwako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu Jjanwali. Muyinza okusaba vidiyo zino amangu ddala nga bwe kisoboka okuyitira mu kibiina bwe muba muzeetaaga.