LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 12/04 lup. 4-6
  • Enteekateeka ey’Okutuyamba Okwewala Omusaayi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka ey’Okutuyamba Okwewala Omusaayi
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Ganyulwa mu Vidiyo No Blood​—Medicine Meets the Challenge
  • Ebituweereddwa Okutuyamba Okwewala Omusaayi
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Weeteekereteekere Kati Embeera Eyinza Okukwetaagisa Okufuna Obujjanjabi obw’Amangu
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Tonnagijjuzaamu?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Omaze Okusalawo Bujjanjabi ki bw’Oyagala?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 12/04 lup. 4-6

Enteekateeka ey’Okutuyamba Okwewala Omusaayi

Akakiiko akafuzi kaasemba okukozesa Ekiwandiiko ky’Enzijanjaba Ekiwa Obulagirizi era Ekiggyako Obuvunaanyizibwa. Ababuulizi bonna ababatize bateekwa okubeera n’ekiwandiiko kino buli kiseera.

Olina okukakasa nti ekiwandiiko kyo kijjuziddwamu bulungi. Ekiwandiiko kino kikola ebbanga lyonna, mu buli kitundu kyonna mu nsi yo, era kiraga bulungi by’oyagala ne bw’oba ng’ogenze mu nsi endala. Oteekwa okujjuza ekiwandiiko ekippya singa (1) kiba nga kyetaagisa okukyusa essimu oba endagiriro ezikiriko oba (2) bwe kiba kibuze oba nga kyonoonese.

Kiba kirungi okusaba Yakuwa akuwe obulagirizi ng’ogenda okujjuzaamu ekiwandiiko ekyo. Ate era, kiba kirungi okugoberera enkola egobererwa nga kijjuzibwamu. Ng’ekyokulabirako, singa kyetaagisa abajulirwa babiri okubaawo ng’okissaako omukono, kakasa nti babaawo. Buli luvannyuma lwa kiseera, Abakubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina balina okuyamba abo ba abatannajjuzaamu kiwandiiko kippya. Olina okuba n’Ekiwandiiko kyennyini ekiteekeddwako omukono so si ekyo ekiba kyokeddwamu.

Abazadde balina okujjuliza abaana baabwe abatali babatize kaadi eyakubikwa nga 3/99. Abazadde balina okukakasa nti kaadi z’abaana baabwe abato zijjuzibwa bulungi, ziteekebwako omukono, era n’okulaba nti abaana baabwe babeera nazo.

Ababuulizi abatali babatize, bayinza okweyambisa ebigambo ebiri ku Ekiwandiiko ky’Enzijanjaba Ekiwa Obulagirizi era Ekiggyako Obuvunaanyizibwa ne beekolera ekiwandiiko ekyabwe ekiraga enzijjanjaba bo n’abaana baabwe gye baagala. Omuwandiisi w’ekibiina asaanidde okuwa ababuulizi bonna abakabatizibwa ekiwandiiko kino.

Ganyulwa mu Vidiyo No Blood​—Medicine Meets the Challenge

Olina ky’omanyi ku nzijanjaba ezikozesebwa mu kifo ky’omusaayi? Omanyiyo ezimu ku zo era n’engeri gye zikolamu? Laba vidiyo eno era olabe oba ng’osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga.​—Weetegereze: Olw’okuba vidiyo eno erimu ebitundu ebiraga abantu nga balongoosebwa, abazadde bandikozesezza amagezi nga basalawo oba nga kisaanira okugirabira awamu n’abaana baabwe abato.

(1) Nsonga ki enkulu eviirako Abajulirwa ba Yakuwa okugaana omusaayi, era omusingi ogwo gusangibwa wa mu Baibuli? (2) Bujjanjabi bwa ngeri ki bwe twagala? (3) Ddembe ki ery’okwesalirawo omulwadde ly’alina? (4) Lwaki kya magezi omulwadde okugaana okuteekebwamu omusaayi? (5) Singa omuntu aba avaamu omusaayi mungi, bintu ki ebibiri abasawo bye bandikoze mu bwangu? (6) Bizibu ki omuntu by’ayinza okufuna singa ateekebwamu omusaayi? (7) Bintu ki abasawo bye bayinza okukola okutangira omuntu gwe balongoosa okuggwamu omusaayi? (8) Biki bye wandyagadde okumanya ku bikwata ku nzijanjaba ezikozesebwa mu kifo ky’omusaayi? (9) Okulongoosebwa okw’amaanyi kuyinza okukolebwa ng’omuntu tateekeddwamu musaayi? (10) Abasawo beetegefu kukola ki nga bajjanjaba Abajulirwa ba Yakuwa, era nzijanjaba ki gye bayinza okutandika okukozesa ku balwadde bonna?

Kiri eri buli muntu okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda oba ng’aneeyambisa emu ku nzijanjaba eziragibwa mu vidiyo eno.​—Laba Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 2004, emp. 16-18, 29-31, ne Watchtower, aka Okitobba 15, 2000, emp. 30-1.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza