Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Ddesemba 27, 2004. Omulabirizi akubiriza essomero ajja kukubiriza essomero mu ddakiika 30, nga lyesigamiziddwa ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Noovemba 1 okutuuka nga Ddesemba 27, 2004. [Weetegereze: Bwe watabaawo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okukola okunoonyereza okukwo okusobola okufuna eky’okuddamu.—Laba ekitabo Ministry School, emp. 36-7.]
ENGERI ENNUNGI EZ’OKWOGERAMU
1. Emu ku ngeri ezisingayo obulungi gy’oyinza okusikirizaamu abakuwuliriza okussaayo omwoyo ku nsonga gy’oba oyogerako y’eruwa? [be lup. 218 kat. 3]
2. Menya ebintu bitaano ebireetera okufundikira okuba okulungi. [be lup. 220 kat. 4–lup. 221 kat. 4]
3. Tuyinza tutya okukakasa nti bye twogera bituufu? [be lup. 224 akasanduuko]
4. Tuyinza tutya okukakasa nti emboozi ze tuwa mu nkuŋŋaana zooleka nti ekibiina tukitwala okuba nga ye ‘mpagi n’omusingi gw’amazima’? (1 Tim. 3:15) [be lup. 224 but. 1-4]
5. Tuyinza tutya okugoberera amagezi agali mu Engero 14:15, bwe tuba twogera ku bintu ebigenda mu maaso, abalala bye boogera, era n’ebyo abantu bye bayiseemu? [be lup. 225 kat. 1]
EMBOOZI 1
6. Tuyinza tutya okubala emyaka nga tudda emabega, okuva ku Mataba okutuuka ku kutondebwa kwa Adamu? [bsi04-LU lup. 4 kat. 12]
7. Tuyinza tutya okumanya ekiseera Yesu we yatandikira obuweereza bwe, era bujulizi ki obulaga nti bwatwala emyaka esatu n’ekitundu gyokka? [bsi04-LU lup. 5 kat. 16]
8. (a) Ekiragiro ‘eky’okuzzaawo n’okuzimba Yerusaalemi’ kyaweebwa ddi? (b) Myaka emeka egyandiyiseewo okuva ku kiseera ekyo okutuusa Yesu lwe yandifuuse Masiya? (Dan. 9:24-27) [bsi04-LU lup. 5 but. 18-19]
9. Okwetonda mu bwesimbu okuviirako omuntu okuddamu ‘okutabagana ne muganda we’ kuzingiramu ki? (Mat. 5:23, 24) [w02-LU 11/1 lup. 6 kat. 1, 5]
10. Kiki kye tuyiga okuva mu 2 Bassekabaka 13:18, 19 ku bikwata ku kutuukiriza emirimu Katonda gy’aba atuwadde? [w02 12/1 lup. 31 but. 1-2]
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Lwaki Abaisiraeri baali basobola okuwa oba okuguza munnaggwanga ensolo efudde nga teggiddwamu musaayi ng’ate bo baali tebakkirizibwa kugirya? (Ma. 14:21)
12. Kiki kye tuyiga okuva mu Ekyamateeka 20:5-7?
13. Lwaki okusingirwa ‘olubengo n’enso’ kyageraageranyizibwa ku kusingirwa ‘obulamu bw’omuntu’? (Ma. 24:6)
14. Okuva Abaisiraeri bwe baali batakkirizibwa kulya masavu, kitegeeza ki bwe boogerwako nti baalya ‘amasavu g’endiga’? (Ma. 32:13, 14)
15. Mu kiseera kino, baani abakutte ekkubo lya Akani ery’ekibi? (Yos. 7:1-26) [w86 12/15 lup. 20 kat. 20]