LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 6/04 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Jjuuni 14
  • Wiiki Etandika Jjuuni 21
  • Wiiki Etandika Jjuuni 28
  • Wiiki Etandika Jjulaayi 5
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
km 6/04 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Jjuuni 14

Oluyimba 74

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Kozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba nga bisobola okukola mu kitundu kyammwe) okulaga engeri y’okugabamu Watchtower aka Maayi 15 ne Awake! aka Maayi 22. Mu kimu ku byokulabirako laga ng’omubuulizi abuulira mu kifo awakolerwa bizineesi. Ebyokulabirako ebirala ebituukirawo bisobola okukozesebwa.

Ddak. 20: “Yakuwa Ayamba Abo Abamwesiga.”a Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, yogera ne ku ebyo ebiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ddesemba 1999, olupapula 4, obutundu 8-9, n’ebiri mu kitabo Ministry School, olupapula 67, akatundu 2.

Ddak. 15: “Tutendereze Erinnya Lye Ffenna.”b Kya kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina, ng’akozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Bategeeze olukuŋŋaana lwa disitulikiti ekibiina kyammwe gye kijja okugenda. Ebiseera bya programu biri mu lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ddesemba 2003. Ensonga endala eziri mu lupapula olwo olw’omunda ziyinza okwogerwako nga bwe kinaaba kyetaagisiza. Fundikira ng’obuuza ekibuuzo kimu oba bibiri okuva mu kitundu “Emmere Ey’Eby’Omwoyo Etuukira mu Kiseera Kyayo,” ekijja okukubaganyizibwako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki ejja.

Oluyimba 63 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjuuni 21

Oluyimba 11

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.

Ddak. 15: “Bamalayika Batuyamba.”c Saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiweereddwa ng’ebiseera bwe biba bikusobozesezza.

Ddak. 20: “Emmere Ey’Eby’Omwoyo Etuukira mu Kiseera Kyayo.”* Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 2, saba omuntu omu oba babiri okuva mu abo abawuliriza boogere ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti lwe baalimu era lwe batasobola kwerabira. Fundikira ng’obuuzaayo ekibuuzo kimu oba bibiri okuva mu kitundu “Beera Mutukuvu mu Mpisa zo Zonna,” ekijja okukubaganyizibwako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki ejja.

Oluyimba 25 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjuuni 28

Oluyimba 59

Ddak. 9: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Jjuuni. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba nga bisobola okukola mu kitundu kyammwe), laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Jjuuni 1 ne Awake! aka Jjuuni 8. Mu buli kyakulabirako, saba omubuulizi abeeko by’ayogera ku ntandikwa ebyoleka omukwano. Bategeeze nti okukola ekyo kiyinza okuteeka omuntu mu nteeko.

Ddak. 18: “Beera Mutukuvu mu Mpisa Zo Zonna.”d Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Saba abawuliriza boogere ku kye balabye ekiraga nti bwe tweyisa obulungi nga tuli mu lukuŋŋaana lwa disitulikiti kireetera Yakuwa ettendo. Fundikira ng’obuuza ekibuuzo kimu oba bibiri okuva mu kitundu “Endabika Ennungi Eweesa Ekitiibwa” ekijja okukubaganyizibwako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki ejja.

Ddak. 18: “Olukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina​—Ensonga Lwaki Lwetaagisa.”e Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Yogera ne ku ebyo ebiri mu kitundu “Yamba Omulabirizi Akubiriza Okusoma Ekitabo Okw’Ekibiina,” ekiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2002 ku lupapula 1.

Oluyimba 45 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjulaayi 5

Oluyimba 1

Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina.

Ddak. 20: “Endabika Ennungi Eweesa Ekitiibwa.”f Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Ebiseera bwe biba nga bikusobozesa, soma era mukubaganye ebirowoozo ku byawandiikibwa ebiragiddwa.

Ddak. 20: Abaana kye Beetaaga Okuva eri Abazadde. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Learn From the Great Teacher, empapula 6-7. Kikulu abaana okuyiga emisingi gya Baibuli egyesigamiziddwako okusinza okw’amazima era n’okumanya obuvunaanyizibwa obw’amaanyi abazadde bwe balina obw’okutendeka abaana. Yogera ku birowoozo ebyaweebwa ebikwata ku kusoma ekitabo kino. Saba abazadde boogere ku ngeri gye bakozesezzaamu ekitabo kino. Saba omwana omu oba babiri boogere ku nsonga lwaki basiima ekitabo kino.

Oluyimba 72 n’okusaba okufundikira.

[Obugambo obuli wansi]

a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

e By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

f By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza