Bamalayika Batuyamba
1 “Laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.” Ebigambo ebyo nga bizaamu nnyo amaanyi abo bonna abagondera ekiragiro kya Yesu ‘eky’okufuula abalala abayigirizwa’! (Mat. 28:18-20) Okusingira ddala Yesu akozesa bamalayika be okuyamba Abakristaayo ab’amazima. (Mat. 13:36-43) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okubuulirira awamu “enjiri ey’emirembe n’emirembe” n’ebitonde bino eby’omwoyo ebyesigwa!—Kub. 14:6, 7.
2 Nga Tuli mu Buweereza: Baibuli eraga nti bamalayika batumibwa ‘okuyamba abo abagenda okusikira obulokozi.’ (Beb. 1:14) Mu kyasa ekyasooka, bamalayika baawa abagoberezi ba Yesu obulagirizi ne basobola okutuuka ku abo abagwanidde. (Bik. 8:26) Ne leero abaweereza ba Katonda bafuna obulagirizi bwa bamalayika. Emirundi mingi, abantu bagambye nti Omujulirwa yabakyalira mu kiseera kyennyini mwe baali basabira okufuna obuyambi. Nga tusanyukira wamu ne bamalayika, abalinga abo bwe bakkirizza amawulire g’Obwakabaka!—Luk. 15:10.
3 Bwe Tuziyizibwa: Danyeri, mikwano gye Abaebbulaniya abasatu, omutume Peetero, n’abalala bangi abafunye okugezesebwa okw’amaanyi, Yakuwa abawadde obukuumi okuyitira mu bamalayika, ‘abazira era ab’amaanyi.’ (Zab. 103:20; Dan. 3:28; 6:21, 22; Bik. 12:11) Wadde ng’oluusi tuyinza okuwulira ng’abatalina buyambi nga tuziyizibwa, tusobola okuddamu amaanyi ng’omuddu wa Erisa bwe yaddamu amaanyi bwe yategeera nti ‘bangi abaali nabo okusinga abaali n’abalabe baabwe.’ (2 Bassek. 6:15-17) Ne bwe kiba nti batwawudde ku baganda baffe Abakristaayo, tetusaanidde maanyi. Ekigambo kya Katonda kitukakasa: “Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya.”—Zab. 34:7.
4 Mu kiseera ekitali wala, eggye lya bamalayika lijja kujjawo abo bonna abaziyiza obufuzi bwa Yesu. (Kub. 19:11, 14, 15) Nga bwe tulindirira ekyo, ka tweyongere okutendereza Yakuwa n’obuvumu, nga twesigira ddala obuyambi obw’amaanyi okuva eri eggye ery’omu ggulu eriri wansi w’obulagirizi bwa Kristo.—1 Peet. 3:22.